Chronological
Azaliya Kabaka wa Yuda
15 (A)Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Azaliya mutabani wa ssekabaka Amaziya n’alya obwakabaka bwa Yuda[a]. 2 Yalina emyaka kkumi na mukaaga bwe yatandika okufuga, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Yekoliya ow’e Yerusaalemi. 3 Yakola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yali akoze. 4 Wabula ebifo ebigulumivu gye baweeranga ssaddaaka tebyaggibwawo, era abantu beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka n’okwoterezangayo obubaane.
5 (B)Awo Mukama n’aleetera kabaka obulwadde n’agengewala[b], ennaku ze zonna okutuusa bwe yafa, era n’aggyibwako emirimu egy’obuvunaanyizibwa n’ateekebwa mu nnyumba ey’enjawulo. Azaliya n’asigira Yosamu[c] mutabani we okuvunaanyizibwanga ensonga zonna ez’omu lubiri, era n’afuganga n’abantu ab’omu nsi.
6 Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Azaliya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 7 (C)Awo Azaliya n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi, Yosamu mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
Zekkaliya Kabaka wa Isirayiri
8 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyezi mukaaga. 9 (D)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe bwe baakola, n’atakyuka okuva mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
10 (E)Awo Sallumu mutabani wa Yabesi, n’asala olukwe n’amuttira mu lujjudde lw’abantu, era n’alya obwakabaka. 11 (F)Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Zekkaliya, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 12 (G)Awo ekigambo Mukama kye yagamba Yeeku ne kituukirira, era kyali kigamba nti, “Bazzukulu bo balirya obwakabaka bwa Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owookuna.”
13 (H)Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n’atandika okufuga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, era n’afugira omwezi gumu mu Samaliya. 14 (I)Menakemu mutabani wa Gaadi n’ava e Tiruza n’agenda okulumba Sallumu mutabani wa Yabesi e Samaliya, era n’amutta. Ye n’afuuka kabaka mu kifo kye. 15 (J)Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Sallumu, n’olukwe lwe yasala, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 16 (K)Mu kiseera ekyo Menakemu n’alumba Tifusa n’azikiriza buli muntu eyalimu, na buli kintu ekyali kikirinaanye ng’atandikira ku nsalo yaakyo ne Tiruza, kubanga tebaamwaniriza. Abakyala abaali embuto nabo n’abatta ng’ababaaga.
Menakemu Kabaka wa Isirayiri
17 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, era n’afugira emyaka kkumi mu Samaliya. 18 Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, era ebbanga lyonna we yabeerera kabaka, n’atakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
19 (L)Awo Puli[d] kabaka w’e Bwasuli n’alumba Isirayiri, naye Menakemu n’amusuubiza okumuwa ttani amakumi asatu mu nnya eza ffeeza ng’amusaba okumuwanirira n’okumunyweza ku ntebe ey’obwakabaka. 20 (M)Menakemu n’asoloozanga ensimbi ku Bayisirayiri, buli musajja omugagga ng’awaayo gulaamu desimoolo mukaaga eza ffeeza, okuwa kabaka w’e Bwasuli. Awo kabaka w’e Bwasuli n’abaviira mu nsi yaabwe.
21 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Menakemu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 22 Menakemu n’afa, Pekakiya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
Pekakiya Kabaka wa Isirayiri
23 Mu mwaka ogw’amakumi ataano ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka ebiri. 24 Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri. 25 (N)Awo omu ku baserikale be abakulu nga mukulu wa kibinja erinnya lye Peka mutabani wa Lemaliya, ne yeekobaana n’abasajja abalala amakumi ataano Abagireyaadi ne battira Pekakiya wamu ne Alugobu, ne Aliye mu kigo eky’omu lubiri e Samaliya. Peka n’atta Pekakiya, n’alya obwakabaka.
26 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Pekakiya, ne bye yakola byonna, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
Peka Kabaka wa Isirayiri
27 (O)Mu mwaka ogw’amakumi ataano mu ebiri ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Peka mutabani wa Lemaliya n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi abiri. 28 Yakola ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
29 (P)Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga: by’e Iyoni, n’e Aberubesumaaka, n’e Yanoa, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Gireyaadi n’e Ggaliraaya, n’ensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo n’abatwala nga basibe e Bwasuli. 30 (Q)Awo Koseya mutabani wa Era n’asala olukwe okutta Peka mutabani wa Lemaliya, n’amulumba era n’amutta, n’alya obwakabaka mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obwakabaka bwa Yosamu mutabani wa Uzziya.
31 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Peka, ne bye yakola byonna byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
Yosamu Kabaka wa Yuda
32 (R)Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Yosamu mutabani wa Uzziya n’alya obwakabaka bwa Yuda. 33 Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Yerusa muwala wa Zadooki. 34 (S)N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola. 35 (T)Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, era abantu ne beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka n’okwoterezangako obubaane. Yaddaabiriza n’Omulyango ogw’ekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama.
36 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 37 (U)Mu biro ebyo Mukama n’atandika okusindikira Yuda abalabe nga Lezini kabaka w’e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya. 38 Yosamu n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Akazi mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
Uzziya Kabaka wa Yuda
26 (A)Awo Uzziya bwe yali ng’aweza emyaka kkumi na mukaaga egy’obukulu, abantu bonna aba Yuda, ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe Amaziya. 2 N’addaabiriza Erosi, n’akiddiza Yuda nga Amaziya amaze okuziikibwa.
3 Uzziya yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekkiriya ow’e Yerusaalemi. 4 N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yasooka okukola. 5 (B)N’amalirira okunoonya Katonda mu biro bya Zekkaliya eyamubuuliriranga okutya Katonda. Era ebbanga lyonna lye yanoonya Mukama, Katonda n’amuwa omukisa.
6 (C)N’agenda n’alwana n’Abafirisuuti, n’amenyaamenya bbugwe wa Gaasi, ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi, n’oluvannyuma n’azimba ebibuga okumpi ne Asudodi ne mu bitundu ebirala wakati mu Bafirisuuti. 7 (D)Katonda n’amuyambanga ng’alwana n’Abafirisuuti, n’Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali, era n’Abamewunimu. 8 (E)Abamoni ne bawanga Uzziya busuulu, era n’erinnya lye ne lyatiikirira n’okutuusa ku nsalo ya Misiri, kubanga yali afuuse wa maanyi nnyo.
9 (F)Uzziya n’azimba eminaala mu Yerusaalemi ku wankaaki ow’oku Nsonda, ne ku wankaaki ow’omu Kiwonvu, ne mu kifo bbugwe w’akyukira, era n’agissaako bbugwe. 10 Era n’azimba n’eminaala mu ddungu, ate era n’asima n’ebidiba bingi mu biwonvu ne mu lusenyi, olw’amaggana amanene ge yalina. Yalina n’abantu abaakolanga mu nnimiro ze ez’emizabbibu mu nsozi n’abaalimanga ettaka eggimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima.
11 Uzziya yalina eggye ery’abasajja abalwanyi abaatendekebwa obulungi, abaatabaalanga mu bibinja ng’emiwendo gyabwe bwe gyali, Yeyeri omuwandiisi gye yabala ne Maaseya omukungu, eyali wansi wa Kananiya, omu ku baduumizi b’eggye lya kabaka. 12 Omuwendo gwonna awamu ogw’abakulu b’ennyumba ez’abasajja abalwanyi gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600). 13 Abo be baaduumiranga eggye ery’abasajja abatendeke mu kulwana, abaawera emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano (307,500), abaakuumanga kabaka. 14 (G)Uzziya n’awa eggye lyonna, engabo, n’amafumu, n’enkuufiira ez’ebyuma, n’ebizibaawo eby’ebyuma, n’emitego emigumu, n’envuumuulo. 15 N’akozesa ebyuma mu Yerusaalemi ebyayiyizibwa abasajja abamanyirivu, ebyakozesebwanga ku minaala ne ku nkomera okulasa obusaale n’okuvuumuula amayinja amanene. Yayambibwa nnyo, n’atutumuka era erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.
16 (H)Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, n’okugwa n’agwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, n’okuyingira n’ayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky’obubaane. 17 (I)Azaliya kabona ne bakabona ba Mukama abalala abazira kinaana ne bagenda gy’ali, 18 (J)ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.”
19 (K)Awo Uzziya n’asunguwala ng’akyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto eky’obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna. 20 Awo Azaliya kabona asinga obukulu ne bakabona abalala bwe bamutunuulira, ne balaba ng’akwatiddwa ebigenge mu kyenyi kye ne banguwa okumufulumya ebweru. Ate era naye yennyini n’ayagala okufuluma kubanga Mukama yali amukubye omuggo.
21 (L)Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa, ng’abeera mu nnyumba eyayawulibwa ku ndala zonna olw’obugenge bwe, nga n’obuvunaanyizibwa bwonna bumuggyibbwako, ate era nga takkirizibwa kuyingira mu yeekaalu ya Mukama. Yosamu mutabani we n’atwala obuvunaanyizibwa obw’olubiri n’afuga abantu ab’eggwanga. 22 (M)Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Uzziya, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi. 23 (N)Uzziya n’afa, n’aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu kiggya kya bakabaka, kubanga, yali mugenge. Yosamu mutabani we n’amusikira, bw’atyo n’afuga mu kifo kye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.