Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Amosi 1-5

(A)Bino bye bigambo Amosi eyali omu ku balunzi b’endiga mu bitundu by’e Tekowa bye yabikkulirwa, musisi amale ajje nga wakayitawo emyaka ebiri, mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, era nga gy’emirembe gya kabaka Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi nga y’afuga Isirayiri.

(B)Amosi yagamba nti,

Mukama awuluguma ng’asinziira mu Sayuuni,
    era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi;
omuddo mu malundiro gulikala
    n’entikko y’olusozi Kalumeeri erisigala njereere.”

Okulamulwa kwa Baliraanwa ba Isirayiri

(C)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Ddamasiko ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga baabonereza nnyo abantu b’e Gireyaadi
    nga babasalaasala n’ebyuma.
(D)Ndiweereza omuliro mu lubiri lwa kabaka Kazayeeri
    era njokye n’ebigo bya kabaka Benikadadi.
(E)Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasiko
    era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni,
oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni.
    Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,”
    bw’ayogera Mukama.

(F)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Gaza ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yatwala eggwanga ddamba mu busibe
    n’alitunda eri Edomu.
Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Gaza
    ogulyokya ebigo byakyo.
(G)Ndizikiriza atuula mu Asudodi,
    n’oyo akwata omuggo gw’obwakabaka ndimumalawo okuva mu Asukulooni.
Ndibonereza Ekuloni
    okutuusa lwe ndimalirawo ddala Abafirisuuti,”
    bw’ayogera Mukama.

(H)Mukama bw’ati bw’ayogera nti,

“Olw’ebyonoono bya Ttuulo ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busibe
    n’amenya endagaano ey’obwaseruganda eyali ekoleddwa,
10 (I)kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo,
    ogunaayokya ebigo byakyo.”

11 (J)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayigganya muganda we n’ekitala
    awatali kusaasira,
obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma
    era ne batabusalako.
12 (K)Ndiweereza omuliro ku Temani
    oguliyokya ebigo bya Bozula.”

13 (L)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Amoni ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Mu ntalo ez’okugaziya ensi ye,
    yabaaga abakazi abaali embuto ab’e Giriyaadi.
14 (M)Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba,
    era gulyokya ebigo byakyo.
Walibaawo n’oluyoogaano olunene ku lunaku olw’olutalo
    mu mpewo ey’amaanyi, kibuyaga ng’akunta.
15 Kabaka waakyo alitwalibwa mu buwaŋŋanguse,
    ye n’abakungu be bonna,”
    bw’ayogera Mukama.

Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu
    ne gafuuka evvu.
Ndiweereza omuliro ku Mowaabu
    era gulyokya ebigo bya Keriyoosi.
Abantu ba Mowaabu balifiira
    wakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana n’okufuuwa amakondeere.
(N)Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabu
    n’abakungu baamu bonna, ndibatta,”
    bw’ayogera Mukama.
(O)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama,
    ne batakuuma biragiro bye nabawa
ne bagondera bakatonda ab’obulimba
    bajjajjaabwe be baagobereranga.
(P)Ndiweereza omuliro ku Yuda
    ne njokya ebigo bya Yerusaalemi.”

(Q)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Batunda obutuukirivu bafune ffeeza,
    ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto.
(R)Balinnyiririra emitwe gy’abaavu
    mu nfuufu,
    n’abajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya.
Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu
    ne boonoona erinnya lyange.
(S)Bagalamira okumpi ne buli kyoto
    ku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo.
Mu nnyumba ya bakatonda baabwe
    mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.

(T)“Nazikiriza Abamoli ku lwabwe
    newaakubadde nga baali bawanvu ng’emivule
    era nga ba maanyi ng’emyera.
Nazikiriza ebibala ebyali waggulu
    okutuuka ku mirandira egyali wansi.
10 (U)Nakuggya mu nsi y’e Misiri,
    ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu,
    weetwalire ensi y’Abamoli.

11 (V)“Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera bannabbi,
    ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama.
Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?”
    bw’ayogera Mukama.
12 (W)“Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa,
    ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.

13 “Laba, ndibasesebbula
    ng’eggaali eryettisse ebinywa by’emmere ey’empeke bwe lisesebbula ekiri mu kkubo lyalyo.
14 (X)Abanguwa tebaliwona,
    n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe
    era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
15 (Y)Omukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera,
    n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka.
    Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.
16 (Z)Ku lunaku olwo abalwanyi abazira nnamige
    balidduka bukunya!”
    bw’atyo bw’ayogera Mukama.

Okulabula Abantu ba Isirayiri

(AA)Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.

(AB)“Mu bantu bonna abali ku nsi,
    mmwe mwekka be nalonda.
Kyendiva mbabonereza
    olw’ebibi byammwe byonna.”
Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu
    wabula nga bakkiriziganyizza?
(AC)Empologoma ewulugumira mu kisaka
    nga terina muyiggo?
Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo
    nga teriiko ky’ekutte?
Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego
    nga tewali kikasikirizza?
Omutego gumasuka
    nga teguliiko kye gukwasizza?
(AD)Akagombe kavugira mu kibuga
    abantu ne batatya?
Akabenje kagwa mu kibuga
    nga Mukama si y’akaleese?

(AE)Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna
    nga tasoose kukibikkulira
    baweereza be, bannabbi.

(AF)Empologoma ewulugumye,
    ani ataatye?
Mukama Katonda ayogedde
    ani ataawe bubaka bwe?

(AG)Langirira eri ebigo by’e Asudodi
    n’eri ebigo by’e Misiri nti,
“Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya
    mulabe akajagalalo akanene akali eyo
    n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”

10 (AH)Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza
    ebigo byabwe n’ebintu ebinyage,
    tebamanyi kukola kituufu.”

11 (AI)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Omulabe alirumba ensi,
    n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi
    era n’abinyagulula.”

12 (AJ)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma
    n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu,
    bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa,
abo abatuula mu Samaliya
    ku nkomerero y’ebitanda byabwe
    ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.

13 (AK)“Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

14 (AL)“Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olw’ebibi bye,
    ndisaanyaawo ebyoto by’e Beseri,
n’amayembe g’ekyoto galisalibwako
    ne gagwa wansi.
15 (AM)Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti,
    awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu;
era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga,
    ne nsanyaawo n’embiri,”
    bw’ayogera Mukama.

Katonda yeerayirira okuzikiriza Abantu

(AN)Muwulire kino mmwe ente ez’omu Basani ezibeera ku Lusozi Samaliya,
    mmwe abakazi abajooga abaavu ne munyigiriza abanaku,
    era abagamba ba bbaabwe nti, “Mutuletereyo ekyokunywa.”
(AO)Mu butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti,
    “Ekiseera kijja
lwe balibasika n’amalobo,
    era abalisembayo ku mmwe ne basikibwa n’amalobo agavuba.
(AP)Mulisikibwa okuva mu mayumba gammwe
    ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bbugwe,
    musuulibwe ku Kalumooni,
    bw’ayogera Mukama.
(AQ)Kale mmwe mugende e Beseri mukoleyo ebitasaana;
    era mugende ne Girugaali mwongere okukola ebibi.
Mutwalengayo ssaddaaka zammwe buli nkya,
    n’ekimu eky’ekkumi buli myaka esatu.
(AR)Muweeyo ekiweebwayo eky’okwebaza eky’emigaati egizimbulukusibbwa,
    mulangirire n’ebiweebwayo eby’ekyeyagalire;
mwe mwenyumiririza, mmwe Abayisirayiri
    kubanga ekyo kye mwagala,”
    bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

(AS)“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga,
    ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga,
    naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

(AT)“Ne mbamma enkuba
    ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke.
Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu
    ne ngiziyiza mu kirala.
Yatonnyanga mu nnimiro emu,
    mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.
(AU)Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko,
    naye ne gababula;
    naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

(AV)“Emirundi mingi ebirime byammwe n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu na bigengewaza.
    Nabileetako obulwadde.
Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe n’emizeeyituuni gyammwe,
    naye era temwadda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

10 (AW)“Nabasindikira kawumpuli
    nga gwe nasindika mu Misiri.
Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala
    awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba.
Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo
    naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

11 (AX)“Nazikiriza abamu ku mmwe
    nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola,
ne muba ng’olumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka
    naye era ne mulema okudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

12 “Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri,
    era ndikwongerako ebibonoobono.
    Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”
13 (AY)Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi
    era ye yatonda n’embuyaga
    era abikkulira omuntu ebirowoozo bye.
Yafuula enkya okubeera ekiro,
    era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi.
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Okukuba Omulanga ogw’Okukungubaga n’Okwenenya mu Isirayiri

(AZ)Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako.

(BA)“Isirayiri embeerera agudde
    obutayimuka nate.
Bamwabulidde
    era tewali amuyimusa.”

(BB)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalo
    kirisigazaawo kikumi bokka,
n’ekyo ekiweereza ekikumi,
    kirizza kkumi bokka!”

(BC)Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti,

“Munnoonye kale munaabanga balamu.
    (BD)Temunnoonyeza Beseri
so temulaga Girugaali
    wadde okulaga e Beeruseba.
Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguse
    era ne Beseri kiriggwaawo.”
(BE)Munoonye Mukama munaabanga balamu
    aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu;
guligyokya
    nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.

(BF)Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwa
    mutulugunya obutuukirivu.

(BG)Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi
    era afuula ekisiikirize okubeera enkya
    era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro,
ayita amazzi g’omu nnyanja
    ne gafukirira ensi ng’enkuba,
    Mukama lye linnya lye.
(BH)Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyi
    era n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.

10 (BI)Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanya
    era munyooma n’abo aboogera amazima.

11 (BJ)Olinnyirira omwavu,
    n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke.
Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja,
    temuligabeeramu;
era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi,
    temulinywa ku wayini waamu.
12 (BK)Ebibi byammwe mbimanyi,
    nga bingi ate nga bisasamaza.

Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi,
    abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.
13 Noolwekyo oyo alina amagezi kyaliva asirika obusirisi mu biseera ng’ebyo
    kubanga ennaku mbi.

14 Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi
    munaabeeranga balamu!
Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe
    nga bulijjo bwe mumuyita.
15 (BL)Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi
    era embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya.
Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisa
    abantu abo abaasigalawo ku Yusufu.

16 (BM)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Walibeerawo okwaziirana mu nguudo
    n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga.
N’abalimi baliyitibwa, bakaabe,
    n’abakungubazi bakube ebiwoobe.
17 (BN)Walibaawo okukaaba mu buli nnimiro ya mizabbibu
    kubanga nzija okuyita wakati mu mmwe.”

18 (BO)Zibasanze mmwe abasuubira
    olunaku lwa Mukama.
Lwaki mwesunga olunaku lwa Mukama?
    Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala.
19 (BP)Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoma
    n’asisinkana eddubu,
bw’aba ng’ayingira mu nnyumba
    ne yeekwata ku kisenge,
    ate n’abojjebwa omusota.
20 (BQ)Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono,
    ng’ekizikiza ekikutte ennyo?

21 (BR)Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini
    so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.
22 (BS)Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,
    sijja kubikkiriza.
Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi,
    siribikkiriza.
23 (BT)Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza.
    Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe.
24 (BU)Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi,
    n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.

25 (BV)“Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu
    emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
26 Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe,
    amaanyi ga bakatonda bammwe,
    n’emmunyeenye ya katonda wammwe,
    bye mwekolera mmwe.
27 (BW)Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,”
    bw’ayogera Mukama, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.