Add parallel Print Page Options

Edomu Obutawa Isirayiri Lukusa Kuyitawo

14 (A)Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti,

“Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi. 15 (B)Omanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe; 16 (C)naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo.

17 (D)“Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.”

18 Naye Edomu n’addamu nti,

“Tojja kuyita wano, bw’onookikola tujja kwesowolayo tukulumbe n’ekitala.”

19 (E)Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti,

“Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.”

20 Naye Edomu n’addamu nti,

“Temuyitawo.”

Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi. 21 (F)Bw’atyo Edomu n’agaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri n’amuviira.

Read full chapter

17 (A)kubanga Abayedomu baali bazeemu okulumba Yuda, ne batwala abantu mu busibe.

Read full chapter

Obubaka obukwata ku Edomu

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Tewakyali magezi mu Temani?
    Abeegendereza babuliddwa okutegeera?
    Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?
(B)Mukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewala
    mmwe abatuuze b’e Dedani,
kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu,
    mu kiseera bwe ndimubonerereza.
Abanozi b’emizabbibu singa bazze gy’oli,
    tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi?
Singa ababbi bazze ekiro,
    tebandibbye byonna bye beetaaga?
10 (C)Naye ndyambula Esawu mwerule;
    ndizuula ebifo bye mwe yeekweka,
    aleme kwekweka.
Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira,
    era wa kuggwaawo.
11 (D)Bamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira.
    Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.”

12 (E)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa. 13 (F)Neerayirira,” bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”

14 Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda.
    Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti,
“Mwekuŋŋaanye mukirumbe!
    Mugolokoke mukole olutalo!”

15 “Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
    abanyoomebwa mu bantu.
16 (G)Entiisa gy’oleeta
    n’amalala g’omutima gwo bikulimbye,
mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja,
    mmwe ababeera waggulu mu nsozi.
Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu,
    ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
17 (H)“Edomu kirifuuka kyerolerwa,
    abo bonna abayitawo balyewuunya batye
    olw’ebiwundu bye byonna.
18 (I)Nga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa,
    wamu n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“tewaliba n’omu abibeeramu;
    tewali musajja alikituulamu.

19 (J)“Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaani
    okugenda mu muddo omugimu,
ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro.
    Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino?
Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza?
    Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”
20 (K)Noolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu,
    kyategekedde abo abatuula mu Temani.
Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa,
    alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.
21 (L)Bwe baligwa ensi erikankana,
    emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.
22 (M)Laba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira,
    n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomu
    giribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala.

Read full chapter

Obunnabbi ku Edomu

12 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Edomu yawoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, bw’etyo n’esingibwa omusango olw’ekikolwa ekyo, 13 (B)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne nzita abantu be n’ebisolo byabwe. Ndigisaanyaawo, n’abo abaliba mu Temani okutuuka e Dedani balifa ekitala. 14 (C)Ndiwoolera eggwanga ku Edomu nga nkozesa omukono gw’abantu bange Isirayiri, era balikola ku Edomu ng’obusungu bwange n’ekiruyi kyange bwe byenkana; balimanya okuwoolera eggwanga kwange bwe kwenkana, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Read full chapter