Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 23-27

Obunnabbi Obukwata ku Tuulo

23 (A)Obunnabbi obukwata ku Tuulo:

Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi,
    kubanga Tuulo kizikirizibbwa
    ne mutasigala nnyumba newaakubadde ebyombo we biyinza okugobera.
Ekigambo kyababikulirwa
    okuva mu nsi ya Kittimu.

Musirike mmwe ab’oku kizinga
    nammwe abasuubuzi b’e Sidoni
    abagaggawalidde ku nnyanja.
(B)Ku nnyanja ennene
    kwajjirako ensigo za Sikoli,
n’ebyamakungula bya Kiyira bye byali amagoba ga Tuulo,
    era yafuuka akatale k’amawanga.

(C)Okwatibwe ensonyi ggwe Sidoni naawe ggwe ekigo ky’ennyanja,
    kubanga ennyanja eyogedde nti:
“Sirumwangako kuzaala wadde okuzaalako.
    Sirabiriranga baana babulenzi newaakubadde okukuza abaana aboobuwala.”
Ekigambo bwe kirijja eri Misiri,
    balinakuwalira ebigambo ebiva e Tuulo.

Muwunguke mugende e Talusiisi,
    mukube ebiwoobe mmwe abantu ab’oku kizinga.
(D)Kino kye kibuga kyammwe eky’amasanyu,
    ekibuga ekikadde,
ekyagenda okusenga
    mu nsi eyeewala?
Ani eyateekateeka kino okutuuka ku Tuulo,
    Tuulo ekitikkira engule,
ekibuga ekirina abasuubuzi abalangira,
    ekirina abasuubuzi abamanyifu mu nsi?
(E)Mukama Katonda ow’Eggye yakiteekateeka,
    amuggyemu amalala n’ekitiibwa kyonna,
    akkakkanye n’abo bonna abamanyifu ku nsi.

10 Ne bw’otambula ku lukalu lwonna olw’omugga Kiyira,
    tokyalina kifo ebyombo we bituukira ggwe muwala wa Talusiisi.
11 (F)Mukama Katonda agolodde omukono gwe eri ennyanja,
    n’akankanya obwakabaka bwayo.
Awadde ekiragiro ekikwata ku Kanani
    nti ebigo byakyo birizikirizibwa.
12 (G)Yayogera nti, “Tokyaddayo kukola bya masanyu nate,
    ggwe muwala wa Sidoni embeerera obetenteddwa.
Yambuka osomoke ogende e Kittimu,
    naye nayo tolifunirayo kuwummula.”

13 (H)Laba ensi ey’Abakaludaaya
    abantu abo abatakyaliwo.
Omwasuli agifudde
    ekifo ekibeeramu ensolo ez’omu ddungu.
Baayimusa eminaala gyabwe,
    ne bamenya ebigo byabwe,
    era n’abazikiriza.

14 Mukube ebiwoobe mmwe ebyombo by’e Talusiisi,
    ekigo kyo kizikiriziddwa.

15 (I)Mu biro ebyo Tuulo kiryerabirwa okumala emyaka nsanvu, gy’emyaka kabaka gy’awangaala. Naye oluvannyuma lw’emyaka egyo ensanvu, ekirituuka ku Tuulo kiriba ng’ekiri mu luyimba olw’omwenzi.

16 “Kwata ennanga, otambulire mu kibuga,
    ggwe omwenzi eyeerabiddwa.
Ennanga gikube bulungi,
    oyimbe ennyimba nnyingi olyoke ojjukirwe.”

17 (J)Oluvannyuma lw’emyaka ensanvu, Mukama alikyalira Tuulo. Aliddayo ku mulimu gwe ogw’obwamalaaya, era alibukola mu bwakabaka bwonna obuli ku nsi. 18 (K)Wabula amagoba ge ne byalifunamu biriyawulibwako bibe bya Mukama, tebiriterekebwa newaakubadde okukwekebwa, omuntu okubikozesa by’ayagala. Amagoba ge galigenda eri abo ababeera mu maaso ga Mukama, basobole okuba n’emmere emala, n’okuba n’ebyambalo ebirungi.

Mukama Ayogera ku Kuzikiriza Ensi

24 (L)Laba Mukama alifuula ensi amatongo,
    agimalirewo ddala,
era azikirize n’obwenyi bwayo
    era asaasaanye n’abagibeeramu.
(M)Bwe kityo bwe kiriba,
    ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu,
    ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja,
    ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi,
    ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi,
    ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola,
    ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.
(N)Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa,
    n’okunyagibwa, erinyagibwa.
Mukama Katonda y’akyogedde.

(O)Ensi ekala n’eggwaamu obulamu,
    ensi ekala n’ewuubaala,
    abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.
(P)Ensi eyonooneddwa abantu baayo,
    bajeemedde amateeka,
bamenye ebiragiro,
    ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.
(Q)Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi;
    n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga.
Abatuuze b’ensi bayidde,
    Era abatono be basigaddewo.
(R)Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala,
    ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.
(S)Okujaguza kw’ebitaasa kusirise,
    n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise,
    entongooli esanyusa esirise.
(T)Tebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba,
    n’omwenge gukaayira abagunywa.
10 Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo,
    na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.
11 (U)Bakaabira envinnyo mu nguudo,
    n’essanyu lyonna liweddewo,
    n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.
12 Ekibuga kizikiridde
    wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa.
13 (V)Bwe kityo bwe kiriba ku nsi
    ne mu mawanga
ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa
    oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.

14 (W)Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu,
    batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.
15 (X)Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama,
    mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri,
    mu bizinga eby’ennyanja.
16 (Y)Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi,
    “Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.”

Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo.
    Zinsaze.
Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe,
    Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”
17 (Z)Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
    mmwe abantu b’ensi.
18 (AA)Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa,
    aligwa mu kinnya,
na buli alirinnya n’ava mu kinnya
    alikwatibwa mu mutego.

Enzigi z’eggulu ziguddwawo,
    N’emisingi gy’ensi gikankana.
19 (AB)Ensi emenyeddwamenyeddwa,
    ensi eyawuliddwamu,
    ensi ekankanira ddala.
20 (AC)Ensi etagala ng’omutamiivu,
    eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga,
omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe,
    era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka.

21 (AD)Ku lunaku olwo Mukama Katonda alibonereza
    ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula,
    ne bakabaka abali wansi ku nsi.
22 (AE)Balikuŋŋaanyirizibwa wamu
    ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera,
era baliweebwa ekibonerezo
    eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.
23 (AF)Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa;
    Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa
ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi,
    ne mu maaso g’abakadde.
25 (AG)Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;
    ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,
kubanga okoze ebintu eby’ettendo,
    ebintu bye wateekateeka edda,
    mu bwesigwa bwo.
(AH)Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro,
    ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo,
ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga,
    tekirizimbibwa nate.
(AI)Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa
    n’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya.
(AJ)Ddala obadde kiddukiro eri abaavu,
    ekiddukiro eri oyo eyeetaaga,
ekiddukiro ng’eriyo embuyaga
    n’ekisiikirize awali ebbugumu.
Omukka gw’ab’entiisa
    guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
    (AK)era ng’ebbugumu ery’omu ddungu.
Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga,
    era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu,
    n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.

(AL)Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako
    abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi,
n’embaga eya wayini omuka
    n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.
(AM)Ku lusozi luno alizikiriza
    ekibikka ekyetoolodde abantu bonna,
n’eggigi eribikka amawanga gonna,
    (AN)era alimalirawo ddala okufa.
Mukama Katonda alisangula amaziga
    mu maaso gonna,
era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be
    mu nsi yonna.
Mukama ayogedde.

(AO)Mu biro ebyo balyogera nti,

“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
    twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
    tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”

10 (AP)Ddala omukono gwa Mukama Katonda guliwummulira ku lusozi luno,
    naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we,
    ng’essubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa.
11 (AQ)Aligolola emikono gye,
    ng’omuwuzi bw’agolola emikono gye ng’awuga.
Katonda alikkakkanya amalala ge
    newaakubadde ng’emikono gye gikola eby’amagezi.
12 (AR)Alimenya bbugwe omuwanvu,
    n’amusuula,
alimusuula ku ttaka,
    mu nfuufu.

Oluyimba olw’Okutendereza

26 (AS)Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda.

Tulina ekibuga eky’amaanyi;
    Katonda assaawo obulokozi
    okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo.
(AT)Ggulawo wankaaki,
    eggwanga ettukuvu liyingire,
    eggwanga erikuuma okukkiriza.
Mukama alikuuma mirembe
    oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.
(AU)Weesigenga Mukama ennaku zonna,
    kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.
(AV)Mukama lwe lwazi olutaggwaawo,
    akkakkanya ekibuga eky’amalala,
akissa wansi ku ttaka,
    n’akisuula mu nfuufu.
(AW)Kirinnyirirwa
    ebigere by’abanyigirizibwa,
    n’ebisinde by’abaavu.

(AX)Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu;
    Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu.
(AY)Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira
    nga tutambulira mu mateeka go,
era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo
    kwe kwegomba kw’emitima gyaffe.
(AZ)Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro,
    omwoyo gwange gukunoonyeza ddala.
Bw’osalira ensi omusango,
    abantu b’ensi bayiga obutuukirivu.
10 (BA)Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa,
    tayiga butuukirivu.
Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde,
    yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda.
11 (BB)Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu,
    naye tebagulaba.
Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe,
    omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.
12 Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe,
    n’ebyo byonna bye tukoze, ggw’obitukoledde.
13 (BC)Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa.
14 (BD)Baafa, tebakyali balamu;
    egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka.
Wababonereza n’obazikiriza,
    wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira.
15 (BE)Ogaziyizza eggwanga, Ayi Mukama Katonda
    ogaziyizza eggwanga.
Weefunidde ekitiibwa,
    era ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi.

16 (BF)Mukama Katonda, bajja gy’oli mu nnaku yaabwe,
    bwe wabakangavvula,
    tebaasobola na kukusaba mu kaama.
17 (BG)Ng’omukyala ow’olubuto anaatera okuzaala,
    bw’alumwa n’akaaba mu bulumi,
    bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi Mukama Katonda.
18 (BH)Twali lubuto, twalumwa,
    naye twazaala mpewo
Tetwaleeta bulokozi ku nsi,
    tetwazaala bantu ba nsi.

19 (BI)Naye abafiira mu ggwe balirama,
    emibiri gyabwe girizuukira.
Mugolokoke,
    muleekaane olw’essanyu.
Ssuulwe wo ali ng’omusulo ogw’oku makya,
    ensi erizaala abafudde.

20 (BJ)Mugende abantu bange muyingire mu bisenge byammwe
    muggalewo enzigi zammwe.
Mwekweke okumala akabanga katono,
    okutuusa ekiruyi kye lwe kirimuggwaako.
21 (BK)Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gy’abeera
    okubonereza abantu b’ensi olw’ebibi byabwe.
Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako,
    era teriddayo nate kukweka abattibwa.

Okununulibwa kwa Isirayiri

27 (BL)Mu biro ebyo,

Mukama Katonda alibonereza n’ekitala kye,
    ekitala kye eky’amaanyi, ekikambwe era ekinene,
alibonereza Lukwata omusota ogwekulungula,
    Lukwata omusota ogwezinga,
atte n’ogusota gw’ennyanja.

(BM)Mu biro ebyo

“Yimba oluyimba ku bibala eby’ennimiro ey’emizabbibu ebaze ebibala.
    (BN)Nze Mukama Katonda, ennimiro nze ngirabirira
    era nze ngifukirira buli kiseera.
Ngikuuma emisana n’ekiro
    Waleme kubaawo n’omu agikola akabi.
    (BO)Siri munyiivu.
Singa katazamiti n’amaggwa binnumba,
    nandibitabadde mu lutalo?
    Byonna nandibyokezza omuliro.
(BP)Oba si weewaawo ajje gye ndi afune obuddukiro, tutabagane,
    weewaawo tutabagane.”
(BQ)Mu biro ebijja Yakobo alisimba emirandira,
    Isirayiri aliroka n’amulisa
    n’ajjuza ensi yonna ebibala.

(BR)Mukama amukubye omuggo
    ng’akuba abo abaamukuba?
Attiddwa
    nga be yatta, bwe battibwa?
(BS)Olwanagana naye n’omusobola,
    n’omuwaŋŋangusa, omugoba n’okuwuuma okw’amaanyi,
    ng’embuyaga ey’ebuvanjuba bw’efuuwa ku lunaku lwayo.
(BT)Ekyo kye kiriggyawo omusango gwa Yakobo,
    era ekyo kye kiriba ekibala ekijjuvu ekiriggyawo ekibi kye.
Bw’aliddira amayinja gonna ag’ekyoto okuba amayinja ag’ennoni
    agayasiddwayasiddwa,
tewaliba Baasera newaakubadde ebyoto eby’okwoterezaako obubaane
    ebirisigala biyimiridde.
10 (BU)Ddala ddala ekibuga ekyaliko enkomera kaakano matongo,
    ekirekeddwa awo ng’eddungu.
Eyo ennyana gy’eriira era gy’egalamira,
    n’erya amalagala gonna ku matabi gaago.
11 (BV)Amatabi gaakyo bwe gakala,
    gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro.
Bano bantu abatategeera,
    eyamukola tamusaasira,
    n’eyamutonda tamukwatirwa kisa.

12 (BW)Mu biro ebyo Mukama alikusengejja okuva mu mazzi agakulukuta ag’Omugga Fulaati okutuuka ku mugga gw’e Misiri we guyiwa, era mmwe abaana ba Isirayiri mulikuŋŋaanyizibwa kinnoomu. 13 (BX)Era mu biro ebyo ekkondeere eddene lirivuga, n’abo abaali boolekedde okuzikiririra mu nsi y’e Bwasuli, n’abo abaali baawaŋŋangusizibbwa mu Misiri balikomawo ne basinza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.