Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 13-17

Obunnabbi Obukwata ku Kugwa kwa Babulooni

13 Obubaka bwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba.

(A)Muwanike bbendera ku lusozi olutaliiko bantu,
    mubakaabirire
    mubawenye bayingire mu miryango gy’abakungu.
(B)Nze Mukama ndagidde abatukuvu bange
    mpise abalwanyi bange ab’amaanyi,
    babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.

(C)Muwulirize oluyoogaano lw’ekibiina ku nsozi,
    nga luwulikika ng’olw’ogubiina ogunene!
Wuliriza, oluyoogaano lw’obwakabaka,
    olw’amawanga ag’ekuŋŋaanyizza awamu!
Mukama Katonda ow’Eggye ateekateeka
    eggye lye okulwana.
(D)Bava wala mu nsi ezeewala ennya
    okuva ku nkomerero y’eggulu.
Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese ebyokulwanyisa
    eby’okuzikiriza ensi yonna.

(E)Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi,
    lulijja ng’okuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba!
(F)Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi,
    na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka;
(G)era bakeŋŋentererwe n’okubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ng’omukazi alumwa okuzaala.
    Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira.

Laba olunaku lwa Mukama lujja,
    olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka
okufuula ensi amatongo,
    n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.
10 (H)Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo
    tebiryaka;
enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo,
    n’omwezi nagwo tegulyaka.
11 (I)Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo,
    n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe.
Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala
    era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.
12 (J)Abantu ndibafuula abebbula
    okusinga zaabu ennongoose eya ofiri.
13 (K)Noolwekyo ndikankanya eggulu,
    era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo,
olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye,
    ku lunaku lw’obusungu bwe obungi.

14 (L)Era ng’empeewo eyiggibwa,
    ng’endiga eteriiko agirunda,
buli muntu aliddukira eri abantu be
    buli muntu aliddukira mu nsi y’ewaabwe.
15 (M)Buli anaalabwangako ng’ekitala kimuyitamu,
    buli gwe banaakwatangako ng’attibwa n’ekitala.
16 (N)N’abaana baabwe abawere banabetenterwanga mu maaso gaabwe nga balaba;
    ennyumba zaabwe zinyagibwe, n’abakazi baabwe bakwatibwe olw’empaka.

17 (O)Laba, ndibayimbulira Abameedi,
    abatafa ku ffeeza
    era abateeguya zaabu.
18 Emitego gyabwe girikuba abavubuka
    era tebaliba na kisa eri abawere.
    Amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato.
19 (P)Ne Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka,
    obulungi obw’okwemanya kw’Abakaludaaya,
kiriba nga Sodomu ne Ggomola
    Katonda bye yawamba.
20 (Q)Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna,
    so tekiribeerwamu emirembe n’emirembe,
so teri Muwalabu alisimbayo weema ye,
    teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo.
21 (R)Naye ensolo enkambwe ez’omu ddungu ze zinaagalamirangayo;
    ennyumba zijjule ebintu ebiwoowoola;
bammaaya banaabeeranga eyo,
    n’ebikulekule bibuukire eyo.
22 (S)N’empisi zinaakaabiranga mu bigulumu by’ebigo byabwe,
    ebibe bikaabire mu mbiri zaabwe ezitemagana.
Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka,
    ennaku ze teziryongerwako.

14 (T)Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa,
    addemu alonde Isirayiri
    abazze ku ttaka lyabwe.
Ne bannamawanga balibeegattako
    era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.
(U)N’amawanga mangi galibayamba
    okudda mu nsi yaabwe,
n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu
    abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.
Baliwamba abaali babawambye,
    bafuge abo abaabakijjanyanga.

(V)Awo olunaku Mukama Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa, (W)oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti:

Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo!
    Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!
(X)Mukama Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi,
    omuggo gw’obwakabaka ogw’abo abafuga.
(Y)Ogwakubanga olutata
    amawanga n’obusungu,
ogwafugisanga amawanga ekiruyi,
    ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza.
(Z)Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe,
    era batandise okuyimba.
(AA)Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni,
    nagyo gikuyeeyeereza nti,
“Kasookanga ogwa
    tebangayo ajja kututema.”

(AB)Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo
    okukusisinkana ng’ojja,
gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo,
    bonna abaali abakulembeze b’ensi;
gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe,
    bonna abaali bakabaka baamawanga.
10 (AC)Abo bonna balyogera
    ne bakugamba nti,
“Naawe oweddemu amaanyi nga ffe!
    Naawe ofuuse nga ffe!”
11 (AD)Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe,
    awamu n’amaloboozi g’ennanga zo;
bakwalidde envunyu,
    n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko.

12 (AE)Ng’ogudde okuva mu ggulu,
    ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya!
Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka,
    ggwe eyamegganga amawanga!
13 (AF)Wayogera mu mutima gwo nti,
    “Ndirinnya mu ggulu,
ndigulumiza entebe yange
    okusinga emunyeenye za Katonda;
era nditeeka entebe yange waggulu ntuule
    ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;
14 (AG)ndyambuka okusinga ebire we bikoma,
    ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”
15 (AH)Naye ossibbwa wansi emagombe,
    ku ntobo y’obunnya.

16 (AI)Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga
    bakwewuunye nga bagamba nti,
“Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi,
    ng’anyeenyanyeenya obwakabaka!
17 (AJ)Eyafuula ensi okuba eddungu
    n’asuula ebibuga byayo,
    atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”

18 Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa,
    buli omu mu ntaana ye,
19 (AK)naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go
    ng’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa,
ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala,
    abakka eri amayinja g’obunnya;
    ng’omulambo ogulinyiriddwa.
20 (AL)Toligattibwa n’abo mu kuziikibwa
    kubanga wazikiriza ensi yo n’otta abantu bo;
ezzadde ly’abo abaakola ebibi
    teriryongerwako n’akatono.
21 (AM)Mutegeke ekifo batabani be we banattirwa
    olw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe,
baleme okugolokoka ne balya ensi,
    ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe.

22 (AN)“Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye,
    “ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo,
n’omwana n’omuzzukulu,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
23 (AO)“Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu,
    n’entobazzi
era mwere n’olweyo oluzikiriza,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

Obunnabbi bw’Okusuulibwa kwa Bwasuli

24 (AP)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti,

“Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo
era nga bwe nateesa,
    bwe kirinywera bwe kityo.
25 (AQ)Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange,
    era ndimulinnyirira ku nsozi zange.
Ekikoligo kye kiribavaako,
    n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”

26 (AR)Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna:
    era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
27 (AS)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula?
    Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?

Obunnabbi Obukwata ku Bufirisuuti

28 (AT)Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.

29 (AU)Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna,
    kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese,
ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera,
    n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.
30 (AV)Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya,
    n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo
naye ekikolo kyo ndikittisa enjala
    ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.

31 (AW)Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga,
    osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna!
Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka,
    eggye ery’abalwanyi omutali munafu.
32 (AX)Kale kiki kye banaddamu
    ababaka b’eggwanga eryo?
Mukama yassaawo Sayuuni,
    ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”

Obunnabbi Obukwata ku Mowaabu

15 (AY)Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa
    ne kimalibwawo.
Kiiri[a] ekya Mowaabu nakyo
    ne kizikirizibwa mu kiro!
(AZ)Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi
    okukaabira mu ssabo lyabwe.
    Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba.
Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri
    na buli kirevu kyonna kimwereddwa.
(BA)Beesibye ebibukutu mu nguudo;
    ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba.
Buli muntu atema emiranga
    n’abikaabira amaziga amayitirivu.
(BB)Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
    n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi.
Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
    emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.

(BC)Omutima gwange gukaabira Mowaabu;
    abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali
    ne Yegulasuserisiya.
Bambuka e Lakisi
    nga bwe bakaaba;
bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu
    nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.
(BD)Amazzi g’e Nimulimu gakalidde,
    omuddo guwotose,
omuddo omugonvu, guggwaawo,
    tewali kintu kimera.
(BE)Abantu basomoka akagga ak’enzingu
    nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.
Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu;
    amaloboozi gatuuse e Yegalayimu,
    n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.
(BF)Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi,
    naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni;
empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu,
    ne ku abo abalisigalawo ku nsi.
16 (BG)“Muweereze abaana b’endiga
    eri oyo afuga ensi,
okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu,
    okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.
(BH)Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu
    n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri,
bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu
    awasomokerwa Alunooni.[b]

(BI)“Tuwe ku magezi,
    tubuulire, tukole tutya?
Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze
    wakati mu ttuntu,
Abajja bagobebwa mubakweke,
    abajja badaaga temubalyamu lukwe.
(BJ)Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe.
    Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.”

Omujoozi bw’aweddewo,
    n’okubetentebwa ne kuggwaawo;
    omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.
(BK)Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala,
    era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi
    alamula mu bwesigwa
era anoonya obwenkanya
    era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.

(BL)Tuwulidde amalala ga Mowaabu,
    nga bw’ajjudde okwemanya,
n’amalala ge n’okuvuma;
    naye okwemanya kwe tekugasa.
(BM)Noolwekyo leka Mowaabu akaabe,
    leka buli muntu akaabire ku Mowaabu.
Mukungubage,
    musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.
Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze,
    n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo.
Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala
    emiti gyabwe egyasinganga obulungi,
egyabunanga ne gituuka e Yazeri
    nga giggukira mu ddungu
n’emitunsi nga gibuna
    nga gituukira ddala mu nnyanja.
(BN)Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba
    olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma.
Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange,
    ggwe Kesuboni ne Ereyale:
kubanga essanyu ery’ebibala byo
    n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.
10 (BO)Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala;
    ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana;
mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo;
    okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.
11 (BP)Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga,
    emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.
12 (BQ)Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu,
    alyekooya yekka;
bw’aligenda okusamira,
    tekirimuyamba.

13 Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda. 14 (BR)Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”

Obubaka Obukwata ku Ddamasiko

17 (BS)“Laba Ddamasiko tekikyali kibuga,
    kifuuse matongo.
(BT)Ebibuga bya Aloweri babidduseemu:
    birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga
    nga tewali azikanga.
(BU)Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu,
    n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo;
naye abalisigalawo mu Busuuli,
    baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

(BV)“Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera;
    era akoggere ddala.
(BW)Ne kiba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano,
    n’omukono gwe ne gukungula empeke;
weewaawo kiriba ng’omuntu bw’alonda ebinywa by’eŋŋaano
    mu Kiwonvu kya Lefayimu.
(BX)Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa
    ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa,
ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo,
    bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,”
    bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri.

(BY)Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe,
    n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.
(BZ)So tebalirowooza ku byoto bya balubaale baabwe,
    emirimu gy’emikono gyabwe, be beekolera,
oba empagi za katonda wa Baasera
    oba ebyoto kwe bootereza obubaane.

Mu biro ebyo ebibuga byabwe eby’amaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ng’ebifo ebyameramu ebisaka ne kalandalugo. Byonna birisigala matongo.

10 (CA)Weerabidde Katonda Omulokozi wo,
    so tojjukidde Lwazi lwa maanyi go;
kyova osimbamu ebisimbe eby’okukusanyusa
    n’osigamu omuzabbibu oguvudde ebweru.
11 (CB)Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye,
    era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa,
tolibaako ky’okungula
    wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.

12 (CC)Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi,
    bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse!
Okuwuluguma kw’abantu,
    bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!
13 (CD)Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi,
    Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo.
Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo;
    era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
14 (CE)Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi.
    Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali.
Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga,
    era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.