Add parallel Print Page Options

14 (A)N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.

Read full chapter

(A)Abalema ndibafuula abalonde,
    n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi.
Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni
    okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.

Read full chapter

32 (A)Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe ey’obwakabaka eya jjajjaawe Dawudi.

Read full chapter

(A)Okufuga kwe n’emirembe
    biryeyongeranga obutakoma.
Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,
    n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu
    okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
    bulikituukiriza ekyo.

Read full chapter