Add parallel Print Page Options

15 Mu kiro n’ayawulamu eggye lye, n’abalumba, ye n’abaddu be ne bagoberera abantu bali okutuuka e Kkoba, ku luuyi olw’obukiikakkono obwa Damasiko.

Read full chapter

Obubaka ku Damasiko

23 (A)Ebikwata ku Damasiko:

“Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi,
    kubanga biwulidde amawulire amabi.
Bakeŋŋentereddwa,
    batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.

Read full chapter

(A)n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi.

Read full chapter

(A)Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro,
    ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo,
ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga,
    tekirizimbibwa nate.

Read full chapter

Okulamulwa kwa Baliraanwa ba Isirayiri

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Ddamasiko ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga baabonereza nnyo abantu b’e Gireyaadi
    nga babasalaasala n’ebyuma.

Read full chapter

(A)Ekigambo kya Katonda kyolekedde ensi ya Kadulaki
    era kirituuka e Ddamasiko.
Kubanga abantu bonna n’ebika byonna ebya Isirayiri
    batunuulidde Mukama,

Read full chapter