Olubereberye 14:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 Mu kiro n’ayawulamu eggye lye, n’abalumba, ye n’abaddu be ne bagoberera abantu bali okutuuka e Kkoba, ku luuyi olw’obukiikakkono obwa Damasiko.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 16:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 Awo Asa n’addira ffeeza ne zaabu ebyali mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebyali mu lubiri lwa kabaka, n’abiweereza Benikadadi kabaka w’e Busuuli, eyabeeranga e Ddamasiko, n’aweereza n’obubaka nti,
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 9:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi.
Read full chapter
Isaaya 10:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi,
ne Kamasi nga Alupaadi,
ne Samaliya nga Ddamasiko?
Amosi 6:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Mugende mulabe e Kalune;
muveeyo mulage mu Kamasi ekikulu,
ate era muserengete mu kibuga ky’Abafirisuuti eky’e Gaasi.
Basinga obwakabaka bwammwe obubiri?
Ensi yaabwe esinga eyammwe obunene?
Zekkaliya 9:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo,
ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.
2 Bassekabaka 18:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Bali ludda wa bakatonda b’e Kamasi n’ab’e Alupadi? Bali ludda wa bakatonda b’e Sefavayimu, ab’e Kena n’ab’e Yiva? Baali balokodde Samaliya mu mukono gwange?
Read full chapter
Olubereberye 49:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa,
kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo,
mu nnyumba yange, n’okyonoona.
Isaaya 57:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse,
eteyinza kutereera,
ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.