Add parallel Print Page Options

10 (A)Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 10:10 Sinali y’ensi ya Babulooni ey’edda.

Okufa kwa Yosiya

20 (A)Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Yosiya ng’amaze okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n’atabaala Kalukemisi ku mugga Fulaati, ne Yosiya n’agenda amutabaale.

Read full chapter

(A)Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse[a] e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 17:6 Guno mulundi gwakubiri ng’Abayisirayiri mu bukiikakkono batwalibwa mu buwaŋŋanguse (laba 15:29)

(A)Awo kabaka w’e Bwasuli n’awulira okwegayirira kwe, n’alumba Ddamasiko, n’akiwamba, n’abantu abaabeerangamu n’abaweereza mu buwaŋŋanguse e Kiri, era n’okutta n’atta Lezini.

Read full chapter