Add parallel Print Page Options

16 (A)Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe
    kubanga bajeemedde Katonda waabwe.
Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,
    n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”

Read full chapter

36 (A)Mukama alikuleka, ggwe ne kabaka wo gw’onoobanga weerondedde n’otwalibwa mu ggwanga eddala ly’otowulirangako, ne bajjajjaabo lye bataamanya, n’oweererezanga eyo bakatonda abalala ab’emiti n’amayinja.

Read full chapter

64 (A)Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okutandikira ku ludda olumu olw’ensi gy’etandikira, okutuuka ku ludda olulala gy’ekoma. Eyo gy’onoosinzizanga bakatonda abalala abakolebwa mu miti ne mu mayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako.

Read full chapter

10 Bwe wayitawo emyaka esatu, mu mwaka ogw’omukaga ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isirayiri, Samaliya ne kiwambibwa. 11 (A)Kabaka w’e Bwasuli n’atwala Abayisirayiri e Bwasuli mu buwaŋŋanguse, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga gw’e Gozani ne mu bibuga by’Abameedi,

Read full chapter

26 (A)Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w’e Bwasuli, eyayitibwanga Tirugazupiruneseri, n’alumba Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, n’abawamba era n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Kala, n’e Kaboli, n’e Kaala ne ku mugga Gozani, gye bali n’okutuusa leero.

Read full chapter