2 Bassekabaka 17:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 Naye oluvannyuma kabaka w’e Bwasuli n’akizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka w’e Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka w’e Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata n’amuteeka mu kkomera.
Read full chapter
2 Bassekabaka 17:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse[a] e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.
Read full chapterFootnotes
- 17:6 Guno mulundi gwakubiri ng’Abayisirayiri mu bukiikakkono batwalibwa mu buwaŋŋanguse (laba 15:29)
2 Bassekabaka 24:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, n’abaddu ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami be bonna ne beewaayo eri kabaka w’e Babulooni mu mwaka gwe ogw’omunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini n’atwalibwa nga musibe.
Read full chapter
2 Bassekabaka 24:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.
Read full chapter
2 Bassekabaka 25:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, n’atwalibwa e Babulooni.
Read full chapter
2 Bassekabaka 25:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala abantu bonna abaali basigaddewo mu kibuga, mu buwaŋŋanguse nga basibe, n’abaali baasenga kabaka w’e Babulooni, n’abalala bonna abaali mu kibuga.
Read full chapter
Yeremiya 16:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 4:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Nga muli eyo munaasinzanga bakatonda abakolebwa n’emikono gy’abantu, mu miti ne mu mayinja, abatayinza kulaba, oba okuwulira oba okulya, wadde okuwunyiriza.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.