Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Koseya 8-14

Isirayiri Akungula Embuyaga

(A)“Ffuwa ekkondeere.
    Empungu eri ku nnyumba ya Mukama
kubanga abantu bamenye endagaano yange
    ne bajeemera amateeka gange.
Isirayiri bankaabira nga boogera nti,
    ‘Katonda waffe, tukumanyi.’
Naye Isirayiri baleseeyo ekirungi;
    omulabe kyaliva abayigganya.
(B)Balonda bakabaka nga sikkirizza,
    balonda abakulembeze be sikakasizza.
Beekolera ebifaananyi ebyole
    mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.
(C)Kanyuga ebweru ekifaananyi ky’ennyana yo, ggwe Samaliya.
    Obusungu bwange bubabuubuukirako.
Balituusa ddi okuba abatali batuukirivu?
    Bava mu Isirayiri.
Ennyana eyo omuntu eyakuguka mu by’okuweesa, ye yagikola
    so si Katonda.
Era ennyana eyo eya Samaliya
    eribetentebwa.

(D)“Basiga empewo,
    ne bakungula embuyaga.
Ekikolo olw’obutaba na mutwe,
    kyekiriva kirema okubala ensigo.
Naye ne bwe kyandibaze,
    bannaggwanga bandigiridde.
(E)Isirayiri amaliddwawo;
    ali wakati mu mawanga
    ng’ekintu ekitagasa.
Bambuse ne bagenda eri Obwasuli,
    ng’endogoyi ey’omu nsiko eri yokka.
    Efulayimu aguliridde abaganzi.
10 (F)Newaakubadde nga beetunze eri amawanga,
    ndibakuŋŋaanya,
era ndibawaayo eri okubonaabona
    nga banyigirizibwa kabaka ow’amaanyi.

11 (G)“Newaakubadde nga Efulayimu baazimba ebyoto bingi eby’ebiweebwayo olw’ekibi,
    bifuuse byoto bya kukolerako bibi.
12 Nabawandiikira ebintu bingi mu mateeka gange,
    naye ne babifuula ekintu ekigwira.
13 (H)Bawaayo ebiweebwayo gye ndi,
    ne balya ennyama yaabyo,
    Mukama tabasanyukira.
Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe
    n’ababonereza olw’ebibi byabwe:
    Baliddayo e Misiri.
14 (I)Isirayiri yeerabidde omutonzi we,
    n’azimba embiri,
    ne Yuda ne yeeyongera okuzimba ebibuga ebiriko bbugwe;
naye ndisindika omuliro ku bibuga byabwe,
    ne gwokya ebigo byabwe.”

Okubonerezebwa kwa Isirayiri

(J)Tosanyuka ggwe Isirayiri;
    tojaguza ng’amawanga amalala,
kubanga tobadde mwesigwa eri Katonda wo,
    weegomba empeera eya malaaya
    ku buli gguuliro.
(K)Egguuliro n’essogolero tebiribaliisa,
    ne wayini omusu alibaggwaako.
(L)Tebalisigala mu nsi ya Mukama;
    Efulayimu aliddayo e Misiri
    n’alya emmere etali nnongoofu mu Bwasuli.
(M)Tebaliwaayo biweebwayo ebya wayini eri Mukama,
    so ne ssaddaaka zaabwe tezirimusanyusa.
Ssaddaaka zaabwe ziriba ng’emmere ey’abakungubazi,
    ne bonna abaliziryako balifuuka abatali balongoofu.
Emmere eyo eriba yaabwe bo,
    so teriyingizibwa mu yeekaalu ya Mukama.

(N)Kiki ky’olikola ku lunaku olw’embaga ezaalondebwa,
    ku lunaku olw’embaga ya Mukama?
(O)Ne bwe baliwona okuzikirira,
    Misiri alibakuŋŋaanya,
    ne Menfisi alibaziika.
Eby’obugagga byabwe ebya ffeeza birizika,
n’eweema zaabwe zirimeramu amaggwa.
(P)Ennaku ez’okubonerezebwa zijja,
    ennaku ez’okusasulirwamu ziri kumpi.
    Ekyo Isirayiri akimanye.
Olw’ebibi byammwe okuba ebingi ennyo,
    n’obukambwe bwammwe obungi,
nnabbi ayitibwa musirusiru,
    n’oyo eyabikkulirwa mumuyita mugu wa ddalu.
(Q)Nnabbi awamu ne Katonda wange
    ye mukuumi wa Efulayimu,[a]
newaakubadde nga waliwo emitego mu kkubo lye,
    n’obukambwe mu nnyumba ya Katonda we.
(R)Boonoonye nnyo nnyini
    nga mu nnaku ez’e Gibea.
Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe,
    n’ababonereza olw’ebibi byabwe.

10 (S)We nasangira Isirayiri,
    kyali nga kulaba zabbibu mu ddungu.
Bwe nalaba bajjajjammwe,
    kyali nga kulaba ebibala ebisooka ku mutiini.
Naye bwe bajja e Baalipyoli,
    beewonga eri ekifaananyi eky’ensonyi,
    ne bafuuka ekyenyinnyalwa ng’ekifaananyi kye baayagala.
11 (T)Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ne kigenda ng’ekinyonyi
    nga tewali kuzaala, newaakubadde okuba olubuto newaakubadde okufuna olubuto.
12 (U)Ne bwe balikuza abaana baabwe,
    ndibabaggyako bonna.
Ziribasanga
    bwe ndibavaako.
13 (V)Nalaba Efulayimu
    ng’asimbiddwa mu kifo ekirungi, nga Ttuulo bw’ali.
Naye Efulayimu alifulumya
    abaana be ne battibwa.

14 (W)Bawe Ayi Mukama Katonda.
    Olibawa ki?
Leetera embuto zaabwe okuvaamu
    obawe n’amabeere amakalu.
15 (X)Olw’ebibi byabwe byonna mu Girugaali,
    kyennava mbakyayira eyo.
Olw’ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu,
    kyendiva mbagoba mu nnyumba yange.
Siribaagala nate;
    abakulembeze baabwe bonna bajeemu.
16 (Y)Efulayimu balwadde,
    emirandira gyabwe gikaze,
    tebakyabala bibala.
Ne bwe balizaala abaana baabwe,
    nditta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.

17 (Z)Katonda wange alibavaako
    kubanga tebamugondedde;
    baliba momboze mu mawanga.
10 (AA)Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde,
    ogwabala ebibala byagwo.
Ebibala bye gye byeyongera obungi,
    naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto;
n’ensi ye gye yeeyongera okuba engagga,
    gye yeeyongera okulungiya empagi ze.
(AB)Omutima gwabwe mulimba,
    era ekiseera kituuse omusango gubasinge.
Mukama alimenya ebyoto byabwe,
    era alizikiriza empagi zaabwe.

Olwo balyogera nti, “Tetulina kabaka
    kubanga tetwatya Mukama.
Naye ne bwe twandibadde ne kabaka,
    yanditukoleddeyo ki?”
(AC)Basuubiza bingi,
    ne balayirira obwereere
    nga bakola endagaano;
emisango kyegiva givaayo
    ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro ennime.
(AD)Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa
    olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni.
Abantu baayo baligikungubagira,
    ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala,
abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira,
    kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.
(AE)Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli
    n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo.
Efulayimu aliswazibwa
    ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.
(AF)Samaliya ne kabaka we balitwalibwa
    ng’ekibajjo eky’omuti ku mazzi n’azikirizibwa.
(AG)Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo,
    kye kibi kya Isirayiri.
Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe,
    ne gabibikka.
Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,”
    n’obusozi nti, “Mutugweko.”

(AH)Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri
    era eyo gye wagugubira.
Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?
10 (AI)Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza;
    amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo,
    ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.
11 Efulayimu nnyana ntendeke
    eyagala okuwuula;
kyendiva nteeka ekikoligo
    mu nsingo ye ennungi.
Ndigoba Efulayimu
    ne Yuda ateekwa okulima
    ne Yakobo ateekwa okukabala.
12 (AJ)Musige ensigo ez’obutuukirivu,
    mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo;
mukabale ettaka lyammwe eritali ddime,
    kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama,
okutuusa lw’alidda
    n’abafukako obutuukirivu.
13 (AK)Naye mwasimba obutali butuukirivu
    ne mukungula ebibi,
    era mulidde ebibala eby’obulimba.
Olw’okwesiga amaanyi go,
    n’abalwanyi bo abangi,
14 (AL)olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu,
    n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa,
nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo,
    abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
15 (AM)Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri
    kubanga ekibi kyo kinene nnyo.
Olunaku olwo bwe lulituuka,
    kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.

Okwagala kwa Katonda eri Isirayiri

11 (AN)“Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala,
    era namuyita okuva mu Misiri.
(AO)Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri,
    nabo gye beeyongeranga okusemberayo
ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali,
    ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.
(AP)Nze nayigiriza Efulayimu okutambula,
    nga mbakwata ku mukono;
naye tebategeera
    nga nze nabawonya.
(AQ)Nabakulembera n’emiguwa egy’okusaasira okw’obuntu,
    n’ebisiba eby’okwagala.
Naggya ekikoligo mu bulago bwabwe
    ne neetoowaza ne mbaliisa.

(AR)“Tebaliddayo mu nsi ya Misiri,
    era Obwasuli tebulibafuga
    kubanga baagaana okwenenya?
(AS)Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwe
    ne kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe,
    ne kikomya enteekateeka zaabwe.
(AT)Abantu bange bamaliridde okunvaako.
    Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo,
    taabagulumize.

(AU)“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?
    Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?
    Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?
Omutima gwange gwekyusiza munda yange,
    Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
(AV)Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli,
    so siridda kuzikiriza Efulayimu;
kubanga siri muntu wabula ndi Katonda,
    Omutukuvu wakati mu mmwe:
    sirijja na busungu.
10 (AW)Baligoberera Mukama;
    era aliwuluguma ng’empologoma.
Bw’aliwuluguma,
    abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
11 (AX)Balijja nga bakankana
    ng’ebinyonyi ebiva e Misiri,
    era ng’enjiibwa eziva mu Bwasuli.
Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,”
    bw’ayogera Mukama.

Ekibi kya Isirayiri

12 (AY)Efulayimu aneebunguluzza obulimba,
    n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa,
ne Yuda ajeemedde Katonda,
    ajeemedde omwesigwa Omutukuvu.
12 (AZ)Efulayimu alya mpewo;
    agoba empewo ez’ebuvanjuba olunaku lwonna,
    era bongera ku bulimba ne ku ttemu.
Bakola endagaano n’Obwasuli,
    n’aweereza n’amafuta e Misiri.
(BA)Mukama alina ensonga ne Yuda,
    era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri.
    Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.
(BB)Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro,
    ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.
(BC)Yameggana ne malayika n’amuwangula,
    n’akaaba n’amwegayirira.
Yamusisinkana e Beseri,
n’ayogera naye.
(BD)Mukama Katonda ow’Eggye,
    Mukama ly’erinnya lye erijjukirwa.
(BE)Naye oteekwa okudda eri Katonda wo;
    kuuma okwagala n’obwenkanya,
    olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.

(BF)Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba,
    era anyumirwa okukumpanya.
(BG)Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti,
    “Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi.
Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi
    wadde okwonoona kwonna.”

(BH)Nze Mukama Katonda wo,
    eyakuggya mu Misiri;
ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate,
    nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.
10 (BI)Nayogera eri bannabbi,
    ne mbawa okwolesebwa kungi,
    ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
11 (BJ)Gireyaadi butali butuukirivu
    era n’abantu baamu butaliimu.
Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka,
    era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.
12 (BK)Yakobo yaddukira mu nsi ya Alamu;[b]
    Isirayiri yaweereza okufuna omukazi,
    era okumufuna yalundanga ndiga.
13 (BL)Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri,
    era n’akozesa nnabbi okumukuuma.
14 (BM)Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza,
    Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa,
    n’amusasula olw’obunyoomi bwe.

Mukama Asunguwalira Isirayiri

13 (BN)Efulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga.
    Yagulumizibwanga mu Isirayiri.
    Naye bwe yayonoona olw’okusinza Baali, n’afa.
(BO)Ne kaakano bongera okwonoona;
    ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe,
ng’okutegeera kwabwe bwe kuli,
    nga byonna mulimu gw’abaweesi.
Kigambibwa nti,
    “Bawaayo ssaddaaka ez’abantu,
    ne banywegera ebifaananyi eby’ennyana.”
(BP)Kyebaliva babeera ng’olufu olw’oku makya,
    oba ng’omusulo oguvaawo amangu,
    ng’ebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro,
    oba ng’omukka ogufulumira mu ddirisa.

(BQ)“Nze Mukama Katonda wo
    eyakuggya mu nsi ya Misiri;
so tolimanya Katonda mulala wabula nze,
    so tewali mulokozi wabula nze.
Nakulabirira mu ddungu,
    mu nsi ey’ekyeya ekingi.
(BR)Bwe nabaliisa, bakkuta;
    bwe bakkuta ne beegulumiza,
    bwe batyo ne banneerabira.
Kyendiva mbalumba ng’empologoma,
    era ndibateegera ku kkubo ng’engo.
(BS)Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo,
    ndibalumba ne mbataagulataagula.
Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo,
    ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
(BT)Ndibazikiriza mmwe Isirayiri,
    kubanga munnwanyisa.
10 (BU)Kabaka wammwe ali wa, abalokole?
    Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa,
be wayogerako nti,
    ‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
11 (BV)Nabawa kabaka nga nsunguwadde,
    ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
12 (BW)Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa,
    era n’ekibi kye kimanyiddwa.
13 (BX)Obubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira,
    naye omwana olw’obutaba n’amagezi,
ekiseera bwe kituuka,
    tavaayo mu lubuto.

14 (BY)“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe,
    era ndibalokola mu kufa.
Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa?
    Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?

“Sirimusaasira,
15     (BZ)ne bw’anaakulaakulana mu baganda be.
Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama,
    ng’eva mu ddungu,
n’ensulo ze ne zikalira,
    n’oluzzi lwe ne lukalira.
Eggwanika lye lirinyagibwa,
    eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
16 (CA)Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe
    kubanga bajeemedde Katonda waabwe.
Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,
    n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”

Okwenenya Kuleeta Omukisa

14 (CB)Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri.
    Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.
(CC)Mudde eri Mukama
    nga mwogera ebigambo bino nti,
“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna,
    otwanirize n’ekisa,
    bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.
(CD)Obwasuli tebusobola kutulokola;
    Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo.
Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’
    nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe,
    kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”

(CE)Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi,
    ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.
    Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.
(CF)Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:
    alimulisa ng’eddanga,
era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
    (CG)Amatabi ge amato galikula;
n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,
    n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
(CH)Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,
    era alibala ng’emmere ey’empeke.
Alimulisa ng’omuzabbibu,
    era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.
(CI)Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo?
    Ndimwanukula ne mulabirira.
Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.

(CJ)Abalina amagezi bategeera ensonga zino,
    era abakabakaba balibimanya.
Amakuba ga Mukama matuufu,
    n’abatuukirivu bagatambuliramu,
    naye abajeemu bageesittaliramu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.