Zabbuli 107:43
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
43 (A)Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino
era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
Engero 10:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Ekkubo lya Mukama kye kiddukiro ky’abatuukirivu, naye abakozi b’ebibi libasaanyaawo.
Isaaya 1:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu,
n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.
Zabbuli 111:7-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
8 (B)manywevu emirembe gyonna;
era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
Zeffaniya 3:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu
era tasobya.
Buli nkya alamula mu bwenkanya,
era buli lukya talemwa;
naye atali mutuukirivu taswala.
Ebikolwa by’Abatume 13:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)n’amugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna n’obukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe w’obutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu?
Read full chapter
Isaaya 26:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu;
Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.