Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 5:11-6:23

11 (A)Awo kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda, n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri. 12 Dawudi n’ategeera nga Mukama yali amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era ng’agulumizizza obwakabaka bwe olw’abantu ba Mukama Isirayiri.

13 (B)Dawudi bwe yava e Kebbulooni n’awasa abakyala abalala mu Yerusaalemi, abaana aboobulenzi n’aboobuwala ne bamuzaalirwa. 14 (C)Amannya g’abo abaamuzaalirwa mu Yerusaalemi gaali Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, 15 ne Ibukali, ne Eriswa, ne Nefegi, ne Yafiya, 16 ne Erisaama, ne Eriyada ne Erifereti.

Dawudi Awangula Abafirisuuti

17 (D)Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, bonna ne bambuka okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulira n’aserengeta mu kigo kye. 18 (E)Abafirisuuti baali bazze nga basaasaanye mu kiwonvu Lefayimu. 19 (F)Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”

20 (G)Awo Dawudi n’agenda e Baaluperazimu, era n’abawangula. N’ayogera nti, “Mukama abonerezza abalabe bange mu maaso gange, ng’embuyaga ez’amazzi bwe zita ne zikulukuta n’amaanyi.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu. 21 (H)Abafirisuuti ne baleka eyo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’abasajja be ne babatwala.

22 Abafirisuuti ne badda, ne basaasaana mu kiwonvu kya Lefayimu. 23 Awo Dawudi bwe yeebuuza ku Mukama, n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda. 24 (I)Awo olunaatuuka bw’onoowulira abakumba ku masanso g’emitugunda, oyanguwe okulumba, kubanga ekyo kinaategeeza nti Mukama akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.” 25 (J)Awo Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’azikiriza Abafirisuuti okuva e Geba okutuuka e Gezeri.

Essanduuko Ereetebwa e Yerusaalemi

Dawudi n’akuŋŋaanya nate abasajja abaawera emitwalo esatu be yalonda mu Isirayiri. (K)N’agolokoka n’agenda n’abantu bonna abaali naye, okuva e Baale, Yuda, okuggyayo essanduuko ya Katonda eyitibwa Erinnya lya Mukama ow’Eggye atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati wa bakerubi. (L)Ne bateeka essanduuko ya Katonda ku ggaali empya ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi, Uzza ne Akiyo batabani be ne bagikulembera ng’essanduuko ya Katonda kweri, Akiyo ng’agikulembeddemu. (M)Dawudi n’ennyumba yonna eya Isirayiri ne bajaguliza mu maaso ga Mukama n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ennyimba nga bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa, n’ensaasi, n’ebirala.

(N)Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, ente bwe zeesittala, Uzza n’agolola omukono gwe n’akwata ku ssanduuko ya Katonda. (O)Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza olw’ekikolwa ekyo, Katonda n’amuttira awo okumpi n’essanduuko ya Katonda. (P)Awo Dawudi n’anyiiga kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, n’atuuma ekifo ekyo Peruzuzza, ne leero.

(Q)Olunaku olwo Dawudi n’atya Mukama, n’ayogera nti, “Essanduuko ya Mukama eyinza etya okuleetebwa gye ndi?” 10 (R)Dawudi n’atayagala kutwala ssanduuko ya Mukama mu kibuga kya Dawudi, era n’asalawo okugitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. 11 (S)Essanduuko ya Mukama n’ebeera mu nnyumba ya Obededomu Omugitti emyezi esatu, era Mukama n’amuwa omukisa ye n’ennyumba ye yonna.

12 (T)Awo Dawudi n’ategeezebwa nti, “Ennyumba ya Obededomu n’ebintu bye byonna biweereddwa omukisa olw’essanduuko ya Katonda.” Dawudi n’agenda n’aggyayo essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n’agireeta mu kibuga kya Dawudi ng’ajaguza. 13 (U)Abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baatambula ebigere mukaaga n’awaayo ente ennume n’ennyana ensava nga ssaddaaka. 14 (V)Dawudi ng’ayambadde olugoye olwa linena, n’azinira mu maaso ga Mukama n’amaanyi ge gonna. 15 (W)Dawudi n’ennyumba ya Isirayiri yonna ne baleeta essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu, era nga bafuuwa n’amakondeere.

16 (X)Awo essanduuko ya Mukama bwe yali ng’ereetebwa mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo, ng’ali mu ddirisa, n’alengera kabaka Dawudi ng’abuuka, ng’azinira mu maaso ga Mukama, n’amunyooma. 17 (Y)Ne baleeta essanduuko ya Mukama ne bagiteeka mu kifo kyayo mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, Dawudi n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, mu maaso ga Mukama. 18 (Z)Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow’eggye, 19 (AA)buli muntu n’amugabula omugaati, n’ekiyungula ky’ennyama, n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, abasajja n’abakyala. N’oluvannyuma abantu bonna ne baddayo ewaabwe.

20 (AB)Dawudi n’addayo ewuwe okusabira ab’omu nnyumba ye omukisa, Mikali muwala wa Sawulo n’agenda okumusisinkana n’ayogera nti, “Kabaka wa Isirayiri ayinza atya okweswaza bw’atyo, ne yeyambulira mu maaso g’abawala abaweereza n’abaddu ng’omuntu atalina nsonyi?”

21 (AC)Awo Dawudi n’agamba Mikali nti, “Nakikoledde mu maaso ga Mukama eyannonda okusinga kitaawo, n’ennyumba ye yonna okuba omukulembeze w’abantu ba Mukama, Isirayiri, era nzija kujagulizanga mu maaso ga Mukama. 22 Nzija kweyongerera ddala okweswaza, era sijja kuswala mu maaso gange, naye mu maaso g’abawala abaweereza b’oyogeddeko, nnaasibwangamu ekitiibwa.”

23 Awo muwala wa Sawulo Mikali, n’abeera mugumba okutuusa olunaku lwe yafa.

1 Ebyomumirembe 13-16

Essanduuko Ekomezebwawo

13 Dawudi n’ateesa n’abaduumizi be ab’enkumi n’ab’ekikumi. N’ayogera eri ekkuŋŋaaniro ly’abantu bonna aba Isirayiri nti, “Bwe munaasiima, era nga kwe kusiima kwa Mukama Katonda waffe, ekigambo kitwalibwe era kibune eri baganda baffe mu nsi yonna eya Isirayiri, n’eri bakabona, n’Abaleevi ababeera nabo mu bibuga byabwe ne mu malundiro, bajje batwegatteko. (A)Tukomyewo essanduuko ya Katonda waffe, kubanga tetwamwebuuzangako mu mirembe gya Sawulo.” Olukuŋŋaana lwonna ne likikiriziganyako, kubanga ky’alabika nga kigambo kirungi mu maaso g’abantu bonna.

(B)Awo Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna okuva ku Sikoli omugga gw’e Misiri okutuuka ku wayingirirwa e Kamasi, n’aleeta essanduuko ya Katonda okugiggya e Kiriyasuyalimu. (C)Dawudi n’Abayisirayiri bonna ne bagenda e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda okuggyayo essanduuko ya Katonda atuula ku ntebe ey’obwakabaka wakati wa bakerubi, eyitibwa erinnya lya Mukama.

(D)Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya okuva mu nnyumba ya Abinadaabu, nga Uzza ne Akiyo be bagikulembera. (E)Dawudi ne Isirayiri yenna ne basanyuka nnyo mu maaso ga Katonda n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba nga bakuba entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa, n’ebisaala, n’amakondeere.

Bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, ente ezaali zisika essanduuko ne zeesittalamu, Uzza n’agolola omukono gwe okutereeza essanduuko. 10 (F)Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n’afiirawo, kubanga yakwata ku ssanduuko. N’afiira mu maaso ga Katonda.

11 (G)Awo Dawudi n’anyiiga nnyo kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, era ekifo ekyo ne kituumibwa Perezuzza, ne leero.

12 Dawudi n’atya nnyo Katonda ku lunaku olwo, n’abuuza nti, “Nnyinza ntya okuleeta essanduuko ya Katonda gye ndi?” 13 (H)Awo n’atatwala ssanduuko mu kibuga kya Dawudi, naye n’agitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. 14 (I)Essanduuko ya Katonda n’ebeera mu maka ga Obededomu okumala emyezi esatu, ne Mukama n’awa ennyumba ye n’ebintu bye byonna omukisa.

14 (J)Kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri. (K)Awo Dawudi n’ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era nga n’obwakabaka bwe bwagulumizibwa nnyo olw’abantu ba Mukama Isirayiri.

(L)Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala mu Yerusaalemi, ne bamuzaalira abaana abalala bangi aboobulenzi n’aboobuwala. (M)Amannya g’abaana abaamuzaalirwa ge gaano: Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, ne Ibukali, ne Eriswa, ne Erupereti, ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya, ne Erisaama, ne Beeriyadda, ne Erifereti.

(N)Awo Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yenna, ne bambuka okugenda okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulirako era n’agenda okubatabaala. (O)Abafirisuuti baali bazze nga bazinze ekiwonvu Lefayimu; 10 Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende ntabaale Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”

11 (P)Awo Dawudi n’ayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, n’atabaala Abafirisuuti n’abawangula. N’ayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange n’omukono gwe, ng’amazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu. 12 (Q)Abafirisuuti baali balese awo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’alagira okwokya balubaale abo.

13 (R)Abafirisuuti ne badda, ne bazinda ekiwonvu. 14 Awo Dawudi n’addamu ne yeebuuza ku Mukama, Mukama n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda. 15 Awo bw’onoowulira eddoboozi ery’okukumba waggulu mu mitugunda, onootabaala, kubanga ekyo kinaategeeza nti Katonda akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.” 16 (S)Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, ne bazikiriza eggye ly’Abafirisuuti, okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.

17 (T)Awo ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna, Mukama n’aleetera amawanga gonna okutya Dawudi.

Essanduuko Ereetebwa e Yerusaalemi

15 (U)Dawudi bwe yamala okwezimbira embiri ze mu kibuga kya Dawudi, n’ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n’agikubira eweema. (V)Awo Dawudi n’ayogera nti, “Tewali muntu yenna akkirizibwa kusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi, kubanga Mukama be yalonda okugisitula, era n’okumuweerezanga ennaku zonna.”

(W)Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna mu Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ya Mukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde.

N’ayita abazzukulu ba Alooni n’Abaleevi:

ku bazzukulu ba Kokasi,

Uliyeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu abiri;

ku bazzukulu ba Merali,

Asaya omukulembeze ne baganda be bibiri mu abiri;

ku bazzukulu ba Gerusomu,

Yoweeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu asatu;

(X)ku bazzukulu ba Erizafani,

Semaaya omukulembeze ne baganda be ebikumi bibiri,

(Y)ku bazzukulu ba Kebbulooni,

Eryeri omukulembeze ne baganda be kinaana;

10 ku bazzukulu ba Wuziyeeri,

Amminadaabu omukulembeze ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri.

11 (Z)Awo Dawudi n’atumya Zadooki ne Abiyasaali bakabona, ne Uliyeri, ne Asaya, ne Yoweeri, ne Semaaya, ne Eryeri ne Amminadaabu Abaleevi, 12 (AA)n’abagamba nti, “Mmwe bakulembeze mu nnyumba z’Abaleevi, era mmwe ne baganda bammwe mujja kwetukuza, mulyoke mwambuse essanduuko ya Mukama Katonda wa Isirayiri, okugiteeka mu kifo kye ngitegekedde. 13 (AB)Kubanga mmwe temwagisitula omulundi ogwasooka Mukama Katonda waffe kyeyava atusunguwalira, olw’obutamwebuuzaako okutegeera nga bwe kyalagibwa.” 14 Awo bakabona n’Abaleevi ne beetukuza okulinnyisa essanduuko ya Mukama, Katonda wa Isirayiri. 15 (AC)Abaleevi ne basitulira essanduuko ya Mukama ku bibegabega byabwe n’emisituliro gyako, nga Musa bwe yalagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.

16 (AD)Awo Dawudi n’alagira abakulembeze b’Abaleevi okulonda baganda baabwe okuba abayimbi, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga bakuba ebivuga: entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa.

17 (AE)Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri, ku baganda be ne balonda Asafu mutabani wa Berekiya, ne ku batabani ba Merali, baganda baabwe, ne balonda Esani mutabani wa Kusaya; 18 (AF)ne baganda baabwe abaabaddiriranga nga be ba Zekkaliya, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yeyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Benaaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, n’abaggazi Obededomu ne Yeyeeri, 19 (AG)ne Kemani, ne Asafu, ne Esani abayimbi abaalina okukuba ebitaasa eby’ebikomo; 20 ne Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya ne Benaya baali baakukuba entongooli ez’ekyalamosi; 21 naye Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeri, ne Azaziya baali baakukulemberamu nga bakuba ennanga ez’ekiseminisi. 22 Kenaniya omukulembeze w’Abaleevi mu by’okuyimba, avunaanyizibwe eby’okuyimba kubanga yali mukugu mu byo.

23 Berekiya ne Erukaana be baali abaggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera. 24 (AH)Sebaniya, ne Yosafaati, ne Nesaneri, ne Amasayi, ne Zekkaliya, ne Benaya, ne Eryeza be bakabona abaafuuwanga amakondeere mu maaso g’essanduuko ya Katonda. Obededomu ne Yekiya n’abo baali baggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera.

25 (AI)Awo Dawudi n’abakadde aba Isirayiri, n’abaduumizi b’enkumi ne bagenda okwambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu nga basanyuka. 26 (AJ)Olw’okubeera Katonda kwe yabeera Abaleevi abaali basitudde essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baawaayo sseddume z’ente musanvu ne z’endiga musanvu nga ssaddaaka. 27 Dawudi yali ayambadde olugoye olwa linena, ng’Abaleevi bonna abaali basitudde essanduuko, era ng’abayimbi ne Kenaniya eyali avunaanyizibwa okuyimba. Dawudi yali ayambadde n’ekkanzu eya linena. 28 (AK)Awo Isirayiri yenna ne bambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama nga baleekaana n’amaloboozi ag’essanyu, n’eddoboozi ery’eŋŋombe, ery’amakondeere, n’ebitaasa, era nga bakuba nnyo entongooli n’ennanga.

29 Awo essanduuko ey’endagaano ya Mukama bwe yali ng’eyingizibwa mu kibuga kya Dawudi, Makali muwala wa Sawulo n’alingiza mu ddirisa, n’alaba Kabaka Dawudi ng’azina era ng’ajjaguza, n’amunyooma mu mutima gwe.

16 (AL)Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda. (AM)Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama, era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.

(AN)Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri. Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa. Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.

Zabbuli ya Dawudi ey’Okwebaza

(AO)Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:

(AP)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye,
    mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
(AQ)Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza
    mwogere ku byamagero bye byonna.
10 Erinnya lye ligulumizibwe,
    n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke.
11 (AR)Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;
    munoonye amaaso ge ennaku zonna.

12 (AS)Mujjukire ebyewuunyo by’akoze,
    n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira,
13 mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be,
    mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
14 (AT)Ye Mukama Katonda waffe;
    okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna.

15 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
    n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,
16 (AU)gye yakola ne Ibulayimu,
    era n’agirayiza Isaaka.
17 (AV)N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo,
    n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera,
18 (AW)ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”

19 (AX)Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono,
    era omutono ddala, nga batambuze mu yo,
20 baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala,
    n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.
21 (AY)Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza;
    weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:
22 (AZ)ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,
    so bannabbi bange temubakolanga akabi.”

23 Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna;
    mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.
24 Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,
    n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.

25 (BA)Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa;
    era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.
26 (BB)Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi,
    naye Mukama ye yakola eggulu.
27 Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge,
    amaanyi n’essanyu biri wamu naye.

28 (BC)Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna,
    mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
29     (BD)Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;
muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge;
    musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.
30 (BE)Mukankane mu maaso ge ensi yonna,
    weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa.

31 (BF)Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze;
    boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!”
32 (BG)Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna,
    n’ennimiro zijaguze, n’okujjula kwazo!
33 (BH)Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba,
    ginaayimbira Mukama n’essanyu,
    kubanga akomawo okusalira ensi omusango.

34 (BI)Weebaze Mukama kubanga mulungi;
    era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
35 (BJ)Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
    tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga,
twebaze erinnya lyo ettukuvu,
    era tujagulize mu ttendo lyo.”
36 (BK)Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri
    ow’emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”

37 (BL)Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku. 38 (BM)Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.

39 (BN)Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni 40 (BO)okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri. 41 (BP)Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo. 42 (BQ)Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.

43 Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.