Chronological
Olugero lw’Ennimiro y’Emizabbibu
5 (A)Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimba
olukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu.
Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu
ku lusozi olugimu.
2 (B)Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna,
n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi.
Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa.
N’agisimamu n’essogolero
n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi
naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.
3 (C)“Era kaakano abatuuze b’omu Yerusaalemi n’abasajja b’omu Yuda,
munsalirewo nze n’ennimiro yange ey’emizabbibu.”
4 (D)Ate kiki kye nandikoledde ennimiro yange eno,
kye ssaagikolera?
Bwe naginoonyamu emizabbibu emirungi,
lwaki saalabamu mirungi?
5 (E)Kaakano muleke mbabuulire
kye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu.
Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke.
Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe.
6 (F)Era ndigireka n’ezika,
sirigirima wadde okugisalira.
Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa.
Ndiragira n’ebire
obutatonnyesaamu nkuba.
7 (G)Ennyumba ya Isirayiri
y’ennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu.
Abantu ba Yuda
y’ennimiro gye yasiima.
Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi.
Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.
8 (H)Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina,
n’ennimiro ne muzongerako endala
ne wataba kafo konna kasigadde,
ne mubeera mwekka wakati mu nsi!
9 (I)Mukama Katonda alayidde nga mpulira nti,
“Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa,
n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu.
10 (J)Kubanga yika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu,
n’ogusero ogw’ensigo, kabbo bubbo ak’amakungula.”
11 (K)Zibasanze abo abakeera enkya ku makya
banoonye ekitamiiza,
abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde,
okutuusa omwenge lwe gubalalusa!
12 (L)Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere,
n’omwenge ku mbaga zaabwe;
naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda,
wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.
13 (M)Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse
kubanga tebalina kutegeera.
Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala,
n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta.
14 (N)Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago,
era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo.
Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe
n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu.
15 (O)Buli muntu alitoowazibwa,
abantu bonna balikkakkanyizibwa
era amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe.
16 (P)Naye Mukama Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya,
era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
17 (Q)Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo,
n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.
18 (R)Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabwe
ng’embalaasi bw’esika ekigaali.
19 (S)Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe ky’anaakola.
Entegeka z’omutukuvu wa Isirayiri nazo zijje,
zituuke nazo tuzimanye.”
20 (T)Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi
n’ekirungi ekibi,
abafuula ekizikiza okuba ekitangaala,
n’ekitangaala okuba ekizikiza,
abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera
n’ekiwoomerera okuba ekikaawa.
21 (U)Zibasanze abo abeeraba ng’abalina amagezi,
era abagezigezi bo nga bwe balaba.
22 (V)Zibasanze abo abazira mu kunywa omwenge
era mu kutabula ekitamiiza,
23 (W)abejjeereza abatemu olw’enguzi
era abamma abatuukirivu obwenkanya obubagwanidde.
24 (X)Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu,
era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro,
bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda,
era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu;
kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda ow’Eggye,
era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.
25 (Y)Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be,
n’agolola omukono gwe n’abasanjaga,
ensozi ne zikankana
era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo.
Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana
era omukono gwe gukyagoloddwa.
26 (Z)Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera,
alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi,
era laba,
balyanguwako okujja.[a]
27 (AA)Tewali n’omu akooye, tewali n’omu yeesittala.
Tewali n’omu asumagira wadde okwebaka.
Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye,
wadde aliba n’olukoba lw’engatto olulikutuka.
28 (AB)Obusaale bwabwe bwogi,
n’emitego gyabwe gyonna mireege.
Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale,
Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.
29 (AC)Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okw’empologoma,
balikaaba ng’empologoma ento:
weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwe
bagutwalire ddala awatali adduukirira.
30 (AD)Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabwe
ng’ennyanja eyira.
Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi,
aliraba ekizikiza n’ennaku;
n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.
Katonda Atuma Isaaya
6 (AE)Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu. 2 (AF)Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ng’alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, n’ebibiri ng’abibuusa. 3 (AG)Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti,
“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna:
ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
4 N’emisingi gy’emiryango ne ginyeenyezebwa olw’eddoboozi ly’oyo eyali akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, yeekaalu n’ejjula omukka.
5 (AH)Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu ow’emimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama Katonda ow’Eggye!”
6 Olwo omu ku basseraafi n’alyoka abuuka n’ajja gye ndi ng’alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto[b] ne nnamagalo. 7 (AI)Era n’alikomya ku kamwa kange, n’agamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era n’ekibi kyo kikusonyiyiddwa.”
8 (AJ)Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ng’abuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?”
Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!”
9 (AK)Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti,
“ ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga,
n’okulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’
10 (AL)Okakanyaze omutima gw’abantu bano,
oggale amatu gaabwe,
n’amaaso gazibe
si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe
oba okuwulira n’amatu gaabwe
oba okutegeera n’emitima gyabwe
ne bakyuka bawonyezebwe.”
11 (AM)Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?”
Nanziramu nti,
“Okutuusa ebibuga lwe birizika
nga tewali abibeeramu,
ne mu mayumba nga temuli muntu,
ensi ng’esigalidde awo,
12 (AN)okutuusa nga Mukama Katonda agobedde wala buli muntu,
era ng’ensi esigadde matongo.
13 (AO)N’ekimu eky’ekkumi ekiriba kisigaddewo,
nakyo kirizikirizibwa.
Naye ng’omumyuliru n’omuvule
bwe gireka ebikolo byagyo bwe gitemebwa,
bw’etyo ensigo entukuvu bw’erigwa mu ttaka n’esigala ng’ekikolo mu nsi.”
Akabonero Akategeeza Okujja kwa Emmanweri
7 (AP)Awo olwatuuka mu mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w’e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulwanyisa Yerusaalemi naye ne balemererwa.[c]
2 (AQ)Amawulire bwe gatuuka eri Kabaka wa Yuda nti, “Obusuuli bwegasse ne Efulayimu okubalumba”; omutima gwe n’egy’abantu ba Yuda bonna ne gikankana, ne giba ng’emiti egy’omu kibira eginyeenyezebwa embuyaga.
3 (AR)Mukama Katonda n’alyoka agamba Isaaya nti, “Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne mutabani wo Seyalusayubu, olusalosalo olw’ekidiba ekyengulu we lukoma, mu luguudo olw’Ennimiro y’Omwozi w’Engoye, 4 (AS)omugambe nti, ‘Weegendereze, beera mukkakkamu toba na kutya omutima gwo teguggwaamu maanyi olw’emimuli gino eginyooka egiggweeredde, olw’obusungu bwa Lezini, n’obwa Obusuuli n’obw’omwana wa Lemaliya obubuubuuka.’ 5 Kubanga Obusuuli ne Efulayimu ne mutabani wa Lemaliya bateesezza okukuleetako obulabe nga boogera nti, 6 ‘Ka twambuke tulumbe Yuda, tukiyuzeeyuze tukyegabanye, tufuule omwana wa Tabeeri okuba kabaka waakyo.’ 7 (AT)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ekyo tekiibeewo
era tekirituukirira.
8 (AU)Kubanga Damasiko ge maanyi ga Busuuli
era ne Lezini ge maanyi ga Damasiko.
Mu bbanga lya myaka nkaaga mu etaano
Efulayimu kiribetentebwatentebwa nga tekikyali ggwanga.
9 (AV)Ne Samaliya ge maanyi ga Efulayimu,
era mutabani wa Lemaliya ge maanyi ga Samaliya.
Bwe mutalinywerera mu kukkiriza kwammwe,
ddala temuliyimirira n’akatono.’ ”
10 Mukama Katonda n’addamu n’agamba Akazi nti, 11 “Saba Mukama Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba, oba mu magombe oba mu bwengula.”
12 Naye Akazi n’agamba nti, “Sijja kusaba kabonero, sijja kugezesa Mukama Katonda.”
13 (AW)Isaaya n’ayogera nti, “Muwulire mmwe kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi! Okugezesa abantu tekibamala? Ne Katonda munaamugezesa? 14 (AX)Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri. 15 (AY)Bw’alituuka okwawula ekirungi n’ekibi aliba alya muzigo na mubisi gwa njuki. 16 (AZ)Kubanga ng’omwana bw’aba nga tannamanya kugaana kibi n’alondawo ekirungi, ensi eza bakabaka ababiri bootya erisigala matongo. 17 (BA)Mukama Katonda alikuleetako ne ku bantu bo ne ku nnyumba ya kitaawo ennaku ezitabangawo bukyanga Efulayimu eva ku Yuda; agenda kuleeta kabaka w’e Bwasuli.”
18 (BB)Olunaku olwo nga lutuuse, Mukama Katonda alikoowoola ensowera eri mu bifo eby’ewala eby’emigga egy’e Misiri, n’enjuki eri mu nsi y’e Bwasuli. 19 (BC)Era byonna birijja bituule mu biwonvu ebyazika, ne mu njatika z’omu mayinja, ku maggwa, ne ku malundiro gonna. 20 (BD)Ku lunaku luli Mukama alimwesa akawembe akapangisiddwa emitala w’emigga, ye kabaka w’e Bwasuli, kammwe omutwe, n’obwoya bw’oku magulu, kasalireko ddala n’ekirevu. 21 Newaakubadde mu nnaku ezo, ng’omuntu alisigaza ente emu yokka n’endiga bbiri, 22 naye olw’obungi bw’amata agabivaamu, alirya ku muzigo. Kubanga buli alisigalawo mu nsi alirya muzigo na mubisi gwa njuki. 23 (BE)Era ng’olunaku lutuuse, buli kifo awaabanga emizabbibu, ng’olukumi lubalibwamu kilo kkumi n’emu n’ekitundu, kiriba kisigaddemu myeramannyo n’amaggwa. 24 Abantu baligendayo na busaale na mitego, kubanga ensi yonna eriba efuuse myeramannyo na maggwa. 25 (BF)N’ensozi zonna ze baalimanga n’enkumbi nga tezikyatuukikako olw’okutya emyeramannyo n’amaggwa, era kirifuuka ekifo ente n’endiga we byerundira.
Mukama Akozesa Bwasuli Okubonereza Isirayiri
8 (BG)Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene okiwandiikeko n’ekkalaamu nti: Kya Makerusalalukasubazi.” 2 (BH)Ne ndyoka neeyitira abajulirwa abeesigwa, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.
3 Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. Mukama Katonda n’alyoka agamba nti, “Mmutuume erinnya Makerusalalukasubazi. 4 (BI)Kubanga omwana nga tannamanya kugamba nti, ‘Taata’, oba ‘Maama’, obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gwe Samaliya birinyagibwa kabaka w’e Bwasuli.”
5 Mukama Katonda n’addamu n’ayogera nange nti,
6 (BJ)“Kubanga abantu bano bagaanye
amazzi g’e Sirowa agakulukuta empolampola,[d]
ne bajaguza olwa Lezini
ne mutabani wa Lemaliya,
7 (BK)kale nno Mukama anaatera okubaleetako
amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu,
ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna;
galisukka ensalosalo zonna,
ne ganjaala ku ttale lyonna.
8 (BL)Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda,
galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago,
n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo,
ggwe Emmanweri.”
9 (BM)Muyimbe ennyimba z’entalo mmwe amawanga naye mwekaabire.
Mutege amatu mmwe mwenna ab’ensi ezeewala;
mwenyweze naye mwekaabire;
mwenyweze naye mwekaabire.
10 (BN)Muteese enkola yammwe, naye yakugwa butaka,
mwogere ekigambo naye tekirituukirira.
11 (BO)Kubanga Mukama Katonda yayogera nange ng’antaddeko omukono gwe ogw’amaanyi, ng’andabula nneme okugoberera ekkubo ly’abantu bano, ng’aŋŋamba nti,
12 (BP)“Ebintu byonna abantu bano bye bayita enkwe,
temubiyita nkwe,
era temutya bye batya,
wadde okutekemuka[e] omutima.
13 (BQ)Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu,
nze gwe muba mutya,
era gwe muba mwekengera.
14 (BR)Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri
aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa,
era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi.
15 (BS)Era bangi abaliryesittalako,
bagwe, bamenyeke,
bategebwe bakwatibwe.”
16 (BT)Nyweza obujulirwa
okakase amateeka mu bayigirizwa bange.
17 (BU)Nange nnaalindirira Mukama Katonda
akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo,
mmunoonye n’essuubi.
18 (BV)Laba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni.
19 (BW)Abantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu? 20 (BX)Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera. 21 (BY)Era baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe. 22 (BZ)Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.