Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 37-39

Keezeekiya Akaabirira Mukama

37 Awo kabaka Keezeekiya bwe yabiwulira n’ayuza engoye ze n’ayambala ebibukutu n’ayingira mu nnyumba ya Mukama. (A)N’atuma Eriyakimu eyali akulira olubiri ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi. (B)Ne bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala. (C)Oboolyawo Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka w’e Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n’amunenya olw’ebigambo by’awulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.”

Abaddu ba kabaka Keezeekiya bwe bajja eri Isaaya, (D)Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. (E)Laba ndimusindikira omwoyo omubi, awulire olugambo addeyo mu nsi ye. Era eyo gye ndimuzikiririza afe ekitala.’ ”

(F)Awo Labusake omuduumizi wa Bwasuli bwe yaddayo, n’asanga kabaka w’e ng’alwana ne Libuna: kubanga yawulira nti avudde e Lakisi.

(G)Ate era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti, 10 (H)“Keezeekiya kabaka wa Yuda mumugambe nti, Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti, ‘Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11 (I)Laba wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye baakola amawanga gonna, ne bagazikiririza ddala. Mwe munaawona? 12 (J)Amawanga bakitange ge baasaanyaawo, Gozani, ne Kalani, ne Lezefu n’abantu ba Adeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago, baabayamba? 13 Ali ludda wa kabaka w’e Kamasi ne kabaka w’e Alupadi ne kabaka w’ekibuga Sefarayimu oba ow’e Keena, oba ow’e Yiva?”

Okusaba kwa Keezeekiya

14 Keezeekiya n’aggya ebbaluwa mu mukono gw’ababaka n’agisoma: Keezeekiya n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 15 N’asaba ne yeegayirira Mukama nga agamba nti, 16 (K)“Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omu nsi, ggwe wakola eggulu n’ensi. 17 (L)Otege okutu kwo Ayi Mukama owulire, ozibule amaaso go, Ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu.

18 (M)“Mazima ddala Mukama, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n’ensi zaago, 19 (N)ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. 20 (O)Kale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegeere nga ggwe wekka ggwe Mukama.”

21 (P)Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’atumira Keezeekiya ng’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli, 22 (Q)kino kye kigambo kye mmwogeddeko:

“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera
    akunyooma era akusekerera.
Omuwala wa Yerusaalemi
    akunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka.
23 (R)Ani gw’ovumye
    gw’ovodde?
Era ani gw’oyimuyisirizzaako eddoboozi lyo n’okanulira n’amaaso?
    Omutukuvu wa Isirayiri!
24 (S)Okozesezza abaddu bo
    okuvuma Mukama n’oyogera nti,
Nyambuse n’amagaali gange amangi ku ntikko y’olusozi,
    ntuuse ku njuyi ez’omunda eza Lebanooni;
era ntemedde ddala emivule gyakwo emiwanvu,
    n’enfugo zaakwo ezisinga obulungi,
era natuuka ne ku lusozi lwakwo olukomererayo,
    ekibira kyayo ekisinga obunene.
25 (T)Waduula nti wasima enzizi
    era n’onywa n’amazzi mu mawanga
era nti ebigere by’abajaasi bo
    byakaliza amazzi g’omugga Kiyira mu Misiri.’

26 (U)“Tewawulira nga nakisalawo dda?
    Nakiteekateeka dda.
Mu biro eby’edda nakiteekateeka;
    era kaakano nkituukirizza,
olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe
    okuba ng’entuumo y’amayinja.
27 (V)Abantu baamu kyebaavanga baggwaamu amaanyi,
    ne baterebuka
ne bakeŋŋentererwa
    ne baba ng’essubi mu nnimiro, ng’omuddo omuto,
ng’omuddo ogumera ku nnyumba
    ogwokebwa ne gufa nga tegunnakula.

28 (W)“Naye mmanyi obutuuliro bwo
    era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo
    n’obuswandi bw’ondaga.
29 (X)Kubanga oneereegeddeko,
    okwepanka kw’okoze nkutuuseeko.
Era kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo,[a]
    n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo,
nkuzzeeyo
    ng’opaala mu kkubo lye wajjiramu.”

Katonda Atuukiriza Ekisuubizo kye

30 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti,

“Kano ke kabonero akanaakuweebwa:
    Omwaka guno mugenda kulya eŋŋaano eyeemeza yokka.
Eno gye muliryako n’omwaka ogwokubiri.
    Mu mwaka ogwokusatu
mulirya ku birime byammwe bye musize
    era ne mukungula mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu.
31 (Y)Abantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbe
    emirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala.
32 (Z)Mu Yerusaalemi walibaawo abalisigalawo
    ne ku Lusozi Sayuuni walibeerawo abaliwona,
kubanga Mukama Ayinzabyonna mu bumalirivu bwe,
    yeewaddeyo okukikola.

33 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku Kabaka w’e Bwasuli nti,

“Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino
    wadde okulasayo akasaale.
Talikisemberera n’engabo
    newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
34 (AA)Ekkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo.
    Tajja kuyingira mu kibuga kino,”
    bw’ayogera Mukama.
35 (AB)“Ndirwanirira ekibuga kino
    nkirokole.”

36 (AC)Awo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo. 37 (AD)Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’addayo n’abeera e Nineeve.

38 (AE)Lumu bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki, ne Salezeri batabani be ne bamusalira olukwe ne bamutta: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n’amusikira.

Okusaba Kwa Keezeekiya ng’Alwadde

38 (AF)Mu nnaku ezo Keezeekiya n’alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Teekateeka ennyumba yo, kubanga togenda kulama, ogenda kufa.”

Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunuulira ekisenge n’asaba ne yeegayirira Mukama (AG)ng’agamba nti, “Jjukira kaakano, Ayi Mukama, nkwegayiridde, engeri gye natambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogutuukiridde, ne nkola ebisaanidde mu maaso go.” Era Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga.

Awo Ekigambo kya Katonda ne kijja eri Isaaya, (AH)nga Mukama agamba nti, “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti, Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’ettaano. (AI)Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino.

(AJ)“ ‘Era kano ke kabonero k’onoofuna okuva eri Mukama nti Mukama alikola ekigambo ky’ayogedde. (AK)Laba nzija kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi enjuba bw’eneeba egwa, ky’eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bw’etyo enjuba n’edda emabega ebigere kkumi.

Awo Keezeekiya Kabaka wa Yuda bwe yassuuka, n’awandiika ebigambo bino;

10 (AL)nayogera nti, “Mu maanyi g’obulamu bwange
    mwe nnali ŋŋenda okufiira nnyingire mu miryango gy’emagombe,
    nga simazeeyo myaka gyange egisigaddeyo.”
11 (AM)Ne ndyoka njogera nti,
    “Sigenda kuddayo kulaba Mukama,
mu nsi y’abalamu.
    Sikyaddamu kulaba bantu mu nsi abantu mwe babeera.
12 (AN)Obulamu bwange buzingiddwako
    ng’eweema y’omusumba w’endiga bw’enzigibwako.
Ng’olugoye lwe babadde balanga ate ne balusala ku muti kwe babadde balulukira,
    bwe ntyo bwe nawuliranga emisana n’ekiro nga obulamu bwange
    obumalirawo ddala.
13 (AO)Ekiro kyonna nakaabanga olw’obulumi
    nga ndi ng’empologoma gw’emmenyaamenya amagumba,
    ekiro n’emisana nga ndowooza nga Mukama yali amalawo obulamu bwange.
14 (AP)Nakaabanga ng’akasanke oba akataayi,
    n’empuubaala ng’enjiibwa,
amaaso gange ne ganfuyirira olw’okutunula mu bbanga eri eggulu.
    Ne nkaaba nti, Ayi Mukama, nga nnyigirizibwa, nziruukirira.”

15 (AQ)Naye ate nga naagamba ki?
    Yali ayogedde nange nga ye yennyini ye yali akikoze.
N’atambulanga n’obwegendereza mu bulumi buno
    obw’obulamu bwange.
16 (AR)Ayi Mukama, olw’ebyo, abantu babeera abalamu,
    era mu ebyo omwoyo gwange mwe gubeerera omulamu.
Omponye,
    mbeere mulamu.
17 (AS)Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange,
    naye ggwe owonyezza obulamu bwange okugwa mu bunnya obw’okuzikirira.
Kubanga otadde ebibi byange byonna
    emabega wo.
18 (AT)Kubanga tewali n’omu mu nsi y’abafu ayinza kukutendereza,
    abafu tebayinza kukusuuta;
tebaba na ssuubi
    mu bwesigwa bwo.
19 (AU)Akyali omulamu,
    y’akutendereza nga nze bwe nkola leero;
bakitaabwe b’abaana babategeeza
    nga bw’oli omwesigwa ennyo.

20 (AV)Mukama alindokola,
    kyetunaavanga tuyimba
ne tukuba n’ebivuga eby’enkoba ennaku zonna ez’obulamu bwaffe,
    mu nnyumba ya Mukama.

21 Isaaya yali agambye nti, “Baddire ekitole ky’ettiini bakisiige ku jjute, liwone.”

22 Kubanga Keezeekiya yali abuuzizza nti, “Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne ntuuka okulagako mu nnyumba ya Mukama?”

Ababaka Okuva e Babulooni

39 (AW)Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni, n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ng’awonye. (AX)Keezeekiya n’abasanyukira, n’abalaga ennyumba ye ey’ebintu bye eby’omuwendo omungi, effeeza ne zaabu, n’ebyakaloosa, n’amafuta ag’omuwendo omungi, n’ennyumba yonna ey’ebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.

(AY)Awo Isaaya nnabbi n’ajja eri kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gy’oli?”

Keezeekiya n’amuddamu nti, “Bazze wange, bava mu nsi ey’ewala e Babulooni.”

N’amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?”

Keezeekiya n’addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu byobugagga bwange kye sibalaze.”

Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba: (AZ)Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama. (BA)N’abamu ku batabani bo, ggwe kennyini b’ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni ne balaayibwa.”

(BB)Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky’oŋŋambye kirungi.” Kubanga yalowooza nti, “Kasita emirembe, n’obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”

Zabbuli 76

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.

76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
    erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
(A)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
    era abeera mu Sayuuni.
(B)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
    n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.

Owa ekitangaala,
    oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
(C)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
    beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
    okuyimusa omukono gwe.
(D)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
    abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.

(E)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
    Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
(F)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
    ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
(G)bw’ogolokoka okusala omusango,
    okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (H)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
    n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (I)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
    bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
    kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
    ne bakabaka b’ensi bamutya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.