Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 18-22

Obunnabbi Obukwata ku Kuusi

18 (A)Zikusanze, ggwe ensi ey’ebiwaawaatiro ebikwakwaya,
    eri emitala w’emigga gya Kuusi,[a]
(B)etuma ababaka ne bagendera mu maato
    ag’ebitoogo ku nnyanja.

Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,
    eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi,
eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa,
    ensi eyawulwamu emigga.

(C)Mmwe mwenna abantu abali mu nsi,
    mmwe ababeera ku nsi,
bendera lweriwanikibwa ku nsozi,
    muligiraba,
era ekkondeere bwe lirifuuyibwa,
    muliriwulira.
(D)Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti,
    “Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange,
ng’olubugumu olutemagana mu musana,
    ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.”
(E)Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka,
    okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde,
aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo,
    n’amatabi agalanda aligasalira.
(F)Gonna galirekerwa ennyonyi ez’oku nsozi ezirya ebiramu
    n’ensolo ez’ensi.
Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera by’ekyeya,
    n’ensolo zonna ez’omu nsiko zirye okwo mu biseera by’obunnyogovu.

(G)Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo,

ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,
    abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi,
ensi ey’eryanyi,
    eyawulwamu emigga,

ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.

Obunnabbi Obukwata ku Misiri

19 (H)Obunnabbi obukwata ku Misiri:

Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo
    ajja mu Misiri.
Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge,
    n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.

(I)Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri,
    balwane buli muntu ne muganda we,
    na buli muntu ne muliraanwa we;
    ekibuga n’ekibuga,
    obwakabaka n’obwakabaka.
(J)Abamisiri baliggwaamu omwoyo
    era entegeka zaabwe zonna ndizitta;
era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize,
    n’abaliko emizimu n’abalogo.
(K)Era ndigabula Abamisiri
    mu mukono gw’omufuzi omukambwe,
era kabaka ow’entiisa alibafuga,[b]
    bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.

(L)Omugga gulikalira
    n’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika.
(M)N’emikutu giriwunya ekivundu,
    n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale;
ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke.
(N)Ebimera ebiri ku Kiyira,
    ku lubalama lwa Kiyira kwennyini,
ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira,
    birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
(O)Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga,
    n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira
balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.
(P)Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa,
    n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.
10 Abakozi balikwatibwa ennaku,
    bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo.
11 (Q)Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala,
    n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa.
Mugamba mutya Falaawo nti,
    “Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
12 (R)Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa?
    Leka bakubuulire bakutegeeze
Mukama Katonda ow’Eggye
    ky’ategese okutuusa ku Misiri.
13 (S)Abakungu ab’e Zowani basiriwadde,
    abakungu ab’e Noofu balimbiddwa,
abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga
    bakyamizza Misiri.
14 (T)Mukama abataddemu
    omwoyo omubambaavu
era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,
    ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
15 (U)Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,
    agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.

16 (V)Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali. 17 (W)N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.

18 (X)Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira. 19 (Y)Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo. 20 (Z)Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola. 21 (AA)Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza. 22 (AB)Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.

23 (AC)Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli. 24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa. 25 (AD)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”

Obunnabbi Obukwata ku Misiri ne Kuusi

20 (AE)Mu mwaka Talutani omuduumizi w’oku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ng’atumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli n’alwana ne Asudodi n’akiwamba; (AF)mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’ayogera ne Isaaya mutabani wa Amozi nti, “Genda osumulule ebibukutu mu kiwato kyo era oyambulemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo n’atambula engatto ng’aziggyemu.

(AG)Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; (AH)bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi. (AI)Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, n’olwa Misiri ekitiibwa kyabwe. (AJ)Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’ ”

Obunnabbi Obukwata ku Babulooni

21 (AK)Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja:

Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo,
    bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu
    eririraanye ensi etiisa.

(AL)Nfunye okwolesebwa okw’entiisa:
    alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga.
Eramu, lumba! Obumeedi zingiza!
    Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.

(AM)Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa,
    n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala;
nnyiize olw’ebyo bye mpulira,
    bye ndaba bimazeemu amaanyi.
Omutima gwange gutya,
    Entiisa endetera okukankana;
Akasendabazaana ke nnali njayaanira,
    kanfukidde ekikankano.

(AN)Bateekateeka olujjuliro,
    bayalirira ebiwempe,
    ne balya, ne banywa!
Mugolokoke mmwe abakulembeze,
    musiige engabo amafuta.

Kino Mukama ky’aŋŋamba nti,

“Genda ofune omukuumi
    akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba.
(AO)Bw’alaba amagaali
    n’ebibinja by’embalaasi,
n’abeebagazi ku ndogoyi
    oba abeebagazi ku ŋŋamira
yeekuume,
    era yeegendereze.”

(AP)Awo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,

“Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala,
    buli kiro mbeera ku mulimu gwange.
(AQ)Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali,
    ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi.
Era ayanukula bw’ati nti,
    ‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde.
Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna
    bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”

10 (AR)Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro,
    mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri.

Obunnabbi obukwata ku Edomu

11 (AS)Obunnabbi obukwata ku Duuma:

Waliwo ankowoola okuva mu Seyiri ng’ayogera nti,
    “Omukuumi, bunaakya ddi?
    Omukuumi, bunaakya ddi?”
12 Omukuumi ayanukula bw’ati nti,
    “Bulikya, era buliziba.
Bw’obaako ne ky’obuuza kibuuze
    okomewo nate.”

Obunnabbi obukwata ku Buwalabu

13 (AT)Obunnabbi obukwata ku Buwalabu:

Mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja,
    abasiisira mu bisaka bya Buwalabu,
14     (AU)muleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi b’obubudamu emmere.
15 (AV)Badduka ekitala,
    badduka ekitala ekisowole,
badduka omutego ogunaanuddwa,
    badduka n’akabi k’entalo.

16 (AW)Bw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ng’endagaano gye bakolera omukozi bw’eba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma. 17 (AX)Ku b’obusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira ab’e Kedali, walisigalawo batono.” Mukama Katonda wa Isirayiri ayogedde.

Obunnabbi Obufa ku Yerusaalemi

22 (AY)Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa:

Kiki ekikutawanya kaakano,
    n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya,
(AZ)ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano,
    ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu?
Abantu bo abattibwa,
    tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.
Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu;
    bawambiddwa awatali kulwana.
Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe,
    kubanga badduka.
(BA)Kyenava njogera nti, “Munveeko,
    mundeke nkaabire ddala nnyo.
Temugezaako kunsaasira
    olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”

(BB)Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku
    olw’akatabanguko,
    olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa;
olunaku olw’okumenya bbugwe,
    n’okukaabirira ensozi.
(BC)Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,
    n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,
    Kiri[c] asabuukulula engabo.
(BD)Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali,
    n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.

(BE)Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo.
    Ku lunaku olwo watunuulira
    ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.
(BF)Walaba amabanga agaali mu kwerinda
    kw’Ekibuga kya Dawudi,
wakuŋŋaanya amazzi
    mu Kidiba eky’Emmanga.
10 Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi
    n’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.
11 (BG)Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri,
    n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde,
naye tewatunuulira Oyo eyakisima,
    wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.

12 (BH)Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye
    yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,
n’okwemwako enviiri
    n’okwambala ebibukutu.
13 (BI)Naye laba, ssanyu na kujaguza,
    okubaaga ente n’okutta endiga,
    okulya ennyama n’okunywa envinnyo.
Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe
    kubanga enkya tunaafa.”

14 (BJ)Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

15 (BK)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Genda eri omuwanika oyo,
    eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,
16 (BL)Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa
    okwetemera entaana wano,
n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi,
    ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?

17 “Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira,
    akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.
18 (BM)Alikuzingazingako,
    n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa.
Eyo gy’olifiira,
    era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala,
    ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.
19 Ndikuggya ku ntebe yo,
    era oliggyibwa mu kifo kyo.

20 (BN)“Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya. 21 Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda. 22 (BO)Ndimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo. 23 (BP)Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe. 24 Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”

25 (BQ)Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.