Add parallel Print Page Options

(A)Mumanye nga Mukama ye Katonda;
    ye yatutonda, tuli babe,
    tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.

Read full chapter

23 (A)Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe,
    balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu.
Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo
    era baliyimirira
    ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.

Read full chapter

11 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri
    era Omutonzi we nti,
‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja,
    oba ebikwata ku baana bange,
    oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’

Read full chapter

21 (A)Abantu bo babeere batuukirivu,
    ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe.
Ekisimbe kye nnesimbira;
    omulimu gw’emikono gyange,
    olw’okulaga ekitiibwa kyange.

Read full chapter

(A)Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe.
    Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi,
    ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.

Read full chapter

10 (A)Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.

Read full chapter

23 (A)“Ndimwesimbira mu nsi,
    ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa,
era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’
    era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”

Read full chapter