Koseya 2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)“Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’ ”
Okubonerezebwa kwa Isirayiri, n’Okuzzibwa Obuggya kwabwe
2 (B)Munenye nnyammwe,
mumunenye,
kubanga si mukazi wange, so nange siri bba.
Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge,
n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;
3 (C)nneme okumwambulira ddala
ne mmulekeraawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalibwa;
ne mmufuula ng’eddungu,
ne mmulekawo ng’ensi enkalu eteriiko ky’egasa,
ne mmussa ennyonta.
4 (D)Sirilaga kwagala kwange eri abaana be,
kubanga baana ba bwenzi.
5 (E)Nnyabwe yakola obwenzi,
n’abazaalira mu buwemu.
Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi,
n’ebimbugumya n’ebyokwambala,
n’amafuta n’ekyokunywa.”
6 (F)Kyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa,
ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.
7 (G)Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate,
naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba.
Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka,
kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi
okusinga bwe ndi kaakano.”
8 (H)Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano,
ne wayini n’amafuta,
era eyamuwa effeeza ne zaabu
bye baakozesanga okuweerezanga Baali.
9 (I)“Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde,
ne wayini wange ng’atuuse;
era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo,
bye yayambalanga.
10 (J)Era kyenaava nyanika obukaba bwe
mu maaso ga baganzi be,
so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.
11 (K)Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,
n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,
n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
12 (L)Ndizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye,
gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’
Ndibizisa,
era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.
13 (M)Ndimubonereza olw’ennaku
ze yayotereza obubaane eri Babaali,
ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo,
n’agenda eri baganzi be,
naye nze n’aneerabira,”
bw’ayogera Mukama.
14 Kale kyendiva musendasenda,
ne mmutwala mu ddungu,
ne njogera naye n’eggonjebwa.
15 (N)Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu,
ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli[a] oluggi olw’essuubi.
Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe,
era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.
16 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
“olimpita nti, ‘mwami wange;’
toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’ ”
17 (O)Ndiggya amannya ga Babaali mu kamwa ke,
so taliddayo nate okwasanguza amannya gaabwe.
18 (P)Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano
n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyewalula ku ttaka,
era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi,
bonna ne batuula mirembe.
19 (Q)Era ndikwogereza ennaku zonna,
ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima,
ne mu kwagala ne mu kusaasira.
20 (R)Ndikwogereza mu bwesigwa,
era olimanya Mukama.
21 (S)“Ku lunaku olwo,
ndyanukula eggulu,
nalyo ne lyanukula ensi;
22 (T)ensi erimeramu emmere ey’empeke,
ne wayini n’amafuta,
nabyo ne bifunibwa Yezuleeri,[b]”
bw’ayogera Mukama.
23 (U)“Ndimwesimbira mu nsi,
ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa,
era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’
era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.