Add parallel Print Page Options

24 (A)Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakwata Akani muzzukulu wa Zeera ne bye yanyaga: effeeza, ne zaabu, n’ekyambalo. Ne bamutwala ne batabani be, ne bawala be, n’ente ze n’endogoyi ze, n’endiga ze, n’eweema ye ne byonna bye yalina ne babiserengesa mu kiwonvu Akoli.

Read full chapter

26 (A)Ne balyoka babatuumako amayinja, n’okutuusa kaakano entuumu y’amayinja eyo gagadde ekyaliwo. Mukama n’alekera awo okukambuwalira Abayisirayiri, ekiwonvu mwe babattira kyekyava kiyitibwa Akoli n’okutuusa kaakano.

Read full chapter

Oluyimba lwa Musa

15 (A)Awo Musa n’abaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti,

“Nnaayimbiranga Mukama,
    kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.
Asudde mu nnyanja
    embalaasi n’omwebagazi waayo.
(B)Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
    era afuuse obulokozi bwange.
Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga,
    ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga.
(C)Mukama mulwanyi;
    MUKAMA, ly’erinnya lye.
(D)Amagaali ga Falaawo n’eggye lye
    abisudde mu nnyanja;
n’abaduumizi b’amaggye ge abalondemu
    basaanyeewo mu Nnyanja Emyufu.
(E)Obuziba bubasaanikidde;
    basse okutuuka ku ntobo ng’ejjinja.

(F)“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,
    gwalina amaanyi n’ekitiibwa;
omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,
    gwasesebbula omulabe.
(G)Mu bukulu obw’ekitiibwa kyo,
    wamegga abalabe bo,
wabalaga obusungu bwo,
    ne bubasiriiza ng’ebisasiro.
(H)Omukka bwe gwava mu nnyindo zo,
    amazzi ne geetuuma;
    amazzi g’ebuziba ne geekwata ng’ekisenge wakati mu nnyanja.

(I)“Omulabe n’ayogera nti,
    ‘Ka mbagobe, mbakwate.
Nnaagabana omunyago;
    mbeemalireko eggoga.
Nnaasowolayo ekitala kyange,
    ndyoke mbazikirize.’
10 (J)Naye wakunsa embuyaga zo,
    ennyanja n’ebasaanikira.
Bakka ng’ekyuma,
    ne basaanawo mu mazzi amangi ag’amaanyi.
11 (K)Ani akufaanana, Ayi Mukama,
    mu bakatonda bonna?
Ani akufaanana, ggwe,
    Omutukuvu Oweekitiibwa,
atiibwa era atenderezebwa,
    akola ebyamagero?

12 “Wagolola omukono gwo ogwa ddyo,
    ensi n’ebamira.
13 (L)Mu kwagala kwo okutaggwaawo,
    abantu be wanunula olibakulembera.
Mu maanyi go,
    olibatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.
14 (M)Amawanga galikiwulira ne gakankana,
    ababeera mu Bufirisuuti balijjula ennaku.
15 (N)Abakungu b’omu Edomu balitangaalirira nga batidde;
    abakulembeze ab’amaanyi aba Mowaabu balikankana;
abatuuze b’omu Kanani baliggwaamu endasi.
16     (O)Okwesisiwala n’entiisa biribajjira.
Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega,
    balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama,
okutuusa abantu bo, be wanunula,
    lwe baliyitawo.
17 (P)Olibayingiza n’obassa ku lusozi lwo lwe weerondera,
    kye kifo, Ayi Mukama kye weekolera mw’onoobeeranga,
ekifo kyo Ekitukuvu,
    kye weekolera, Ayi Mukama, n’emikono gyo.
18 Mukama anaafuganga
    emirembe n’emirembe.”

Read full chapter

(A)“Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti:

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto,
    engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa,
wangoberera mu ddungu
    mu nsi etali nnime.

Read full chapter

(A)Nze Mukama Katonda wo,
    eyakuggya mu Misiri;
ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate,
    nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.

Read full chapter