Add parallel Print Page Options

34 (A)olwo nga nkomezza amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza, n’eddoboozi ly’omusajja awasa n’ery’omugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ng’efuuse matongo.

Read full chapter

14 (A)Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu,
    emmeeme yange ebikyaye,
binfuukidde omugugu,
    nkooye okubigumiikiriza.

Read full chapter

(A)Kubanga kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’agamba nti, “Nga weerabirako n’amaaso go, mu nnaku z’obulamu bwo, ndikomya eddoboozi ery’essanyu era n’ery’okwesiima ery’abagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino.

Read full chapter

(A)Era bwe batyo abaana ba Isirayiri bwe balibeera okumala ennaku ennyingi nga tebalina kabaka newaakubadde omulangira, nga tebakyawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, newaakubadde okusinza amayinja amawonge oba bakatonda abalala, wadde efodi.

Read full chapter

10 (A)Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
    era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.
Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu
    n’emitwe gyammwe mugimwe.
Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,
    era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.

Read full chapter