Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
A new Bible Gateway experience is here. Spot something unexpected? Tell us what needs a closer look.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Study resources + Scripture = deeper understanding.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Isaaya 60  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Ekitiibwa kya Sayuuni Ekijja

60 (A)“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase
    era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
2 (B)Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza
    era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna,
naye ggwe Mukama alikwakirako
    era ekitiibwa kye kikulabikeko.
3 (C)Amawanga galijja eri omusana gwo
    ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.

4 (D)“Yimusa amaaso go olabe;
    abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli
batabani bo abava ewala ne bawala bo
    abasituliddwa mu mikono.
5 Kino oli wakukirabako ojjule essanyu,
    omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza.
Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe,
    era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
6 (E)Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,
    eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.[a]
Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane
    okulangirira ettendo lya Katonda.
7 (F)N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa,
    endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza.
Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange
    era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.

8 (G)“Bano baani abaseyeeya nga ebire,
    ng’amayiba agadda mu bisu byago?
9 (H)Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze;
    ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde
bireete batabani bammwe okubaggya ewala
    awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza,
olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe,
    Omutukuvu wa Isirayiri,
    kubanga akufudde ow’ekitiibwa.

10 (I)“Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo,
    era bakabaka baabwe bakuweereze;
Olw’obusungu bwange, nakukuba,
    naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
11 (J)Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo,
    emisana n’ekiro tegiggalwenga,
abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe
    nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.
12 (K)Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira.
    Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.

13 (L)“Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira,
    emiti egy’ettendo egy’enfugo,
omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange,
    ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo.
14 (M)Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira;
    era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo.
Balikuyita kibuga kya Katonda,
    Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.

15 (N)“Wadde nga wali olekeddwa awo ng’okyayibbwa,
    nga tewali n’omu akuyitamu,
ndikufuula ow’ettendo,
    essanyu ery’emirembe gyonna.
16 (O)Olinywa amata ag’amawanga.
    Ku mabeere ga bakungu kw’onooyonkanga,
era olimanyira ddala nti,
    Nze, nze Mukama,
nze Mulokozi wo era Omununuzi wo,
    ow’Amaanyi owa Yakobo.
17 Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu,
    mu kifo ky’ekyuma ndireeta effeeza,
mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo,
    ne mu kifo ky’amayinja ndeete ekyuma.
Emirembe gye girifuuka omufuzi wo
    n’obutuukirivu ne buba omukulembeze wo.
18 (P)Okutabukatabuka tekuddeyo kuwulirwa mu nsi yo,
    wadde okwonoona n’okuzikiriza munda mu nsalo zo.
Ebisenge byo olibiyita Bulokozi,
    Era n’enzigi zo, Kutendereza.
19 (Q)Enjuba si yeenekumulisizanga emisana,
    oba omwezi okukumulisizanga ekiro.
Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe,
    era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.
20 (R)Enjuba yo terigwa nate,
    n’omwezi gwo tegulibula;
Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe
    era ennaku zo ez’okukungubanga zikome.
21 (S)Abantu bo babeere batuukirivu,
    ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe.
Ekisimbe kye nnesimbira;
    omulimu gw’emikono gyange,
    olw’okulaga ekitiibwa kyange.
22 Asembayo okuba owa wansi alyala n’aba lukumi,
    n’asembayo obutono afuuke eggwanga ery’amaanyi.
Nze Mukama,
    ndikyanguya mu biseera byakyo.”

Footnotes

  1. 60:6 Midiyaani lyali ggwanga lya balunzi ba nsolo abaatambulatambulanga mu bukiikaddyo bw’obugwanjuba bwa Yoludaani. Efa ye yali mutabani wa Midiyaani

Cross references

  1. 60:1 : a Is 52:2 b Bef 5:14
  2. 60:2 : Yer 13:16; Bak 1:13
  3. 60:3 : a Is 45:14; Kub 21:24 b Is 49:23
  4. 60:4 : a Is 11:12 b Is 43:6 c Is 49:20-22
  5. 60:6 : a Lub 25:2 b Lub 25:4 c Zab 72:10 d Is 43:23; Mat 2:11 e Is 42:10
  6. 60:7 : a Lub 25:13 b nny 13; Kag 2:3, 7, 9
  7. 60:8 : Is 49:21
  8. 60:9 : a Is 11:11 b Is 14:2; 43:6 c Is 55:5
  9. 60:10 : a Is 14:1-2 b Is 49:23; Kub 21:24 c Is 54:8
  10. 60:11 : a nny 18; Is 62:10; Kub 21:25 b Is 62:5; Kub 21:26 c Zab 149:8
  11. 60:12 : Is 14:2
  12. 60:13 : a Is 35:2 b Is 41:19 c 1By 28:2; Zab 132:7
  13. 60:14 : a Is 14:2 b Is 49:23; Kub 3:9 c Beb 12:22
  14. 60:15 : a Is 1:7-9; 6:12 b Is 33:8 c Is 4:2 d Is 65:18
  15. 60:16 : a Is 49:23; 66:11, 12 b Is 59:20
  16. 60:18 : Is 26:1
  17. 60:19 : a Kub 22:5 b Zek 2:5; Kub 21:23
  18. 60:20 : a Is 30:26 b Is 35:10
  19. 60:21 : a Kub 21:27 b Zab 37:11, 22; Is 57:13; 61:7 c Mat 15:13 d Is 19:25; 29:23; Bef 2:10 e Is 52:1
Next
Isaaya 59
Isaaya 61
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway