Add parallel Print Page Options

23 (A)Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
    ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
    balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
    abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”

Read full chapter

11 (A)Kubanga muliyonka
    munywe n’essanyu
mukkutire ddala
    ku kitiibwa kye ekingi.”

Read full chapter

12 (A)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Laba mbaleetera obugagga obutaliiko kkomo,
    obugagga bw’amawanga bube gye muli ng’omugga ogwanjaala.
Muliyonkako, musitulibwe mu mbiriizi
    era bababuusizebuusize ku mubiri gwe.

Read full chapter

20 (A)“Era Omununuzi alijja mu Sayuuni,
    eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter