Add parallel Print Page Options

12 (A)Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri;
    aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.

Read full chapter

(A)Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’
    n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’
Leeta batabani bange okuva ewala
    ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.

Read full chapter

20 (A)Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
    lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
    tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 (B)N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
    ‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
    Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
    Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
    naye ate bano, baava wa?’ ”

Okuzzibwawo kwa Isirayiri mu Kitiibwa

22 (C)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero
    era ndiyimusiza abantu ebbendera yange:
era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba
    ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.

Read full chapter