Add parallel Print Page Options

14 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,
    n’abo Abasabeya abawanvu
balijja
    babeere abaddu bo,
bajje nga bakugoberera
    nga basibiddwa mu njegere.
Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,
    ‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”

Read full chapter

24 (A)Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa.

Read full chapter

23 (A)Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
    ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
    balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
    abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”

Read full chapter