Add parallel Print Page Options

(A)Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; (B)bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi. (C)Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, n’olwa Misiri ekitiibwa kyabwe.

Read full chapter

(A)Ekitala kirirumba Misiri,
    n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya.
Bwe balifiira mu Misiri,
    obugagga bwe bulitwalibwa
    n’emisingi gyayo girimenyebwa.’

(B)Obuwesiyopya, ne Puuti[a], ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.

Read full chapter

Footnotes

  1. 30:5 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya

(A)“ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.

Read full chapter

Obubaka eri Abaesiyopiya

12 (A)Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.

Read full chapter

10 (A)Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya,
    abo abansinza, abantu bange abasaasaana,
    balindeetera ssaddaaka.

Read full chapter