Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Koseya 1-7

(A)Buno bwe bubaka bwa Mukama bwe yawa Koseya mutabani wa Beeri mu mulembe gwa Uzziya, n’ogwa Yosamu, n’ogwa Akazi n’ogwa Keezeekiya, nga be bakabaka ba Yuda, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Isirayiri.

Koseya Afuna Amaka

(B)Awo Mukama bwe yasooka okwogera eri Koseya, yamulagira nti, “Ggenda owase omukazi malaaya, omuzaalemu abaana, era banaayitibwanga abaana aboobwamalaaya, kubanga ensi eyitirizza okukola ekibi eky’obwenzi, n’eva ku Mukama.” Awo n’awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, n’aba olubuto, n’amuzaalira omwana wabulenzi.

(C)Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Yezuleeri, kubanga nnaatera okubonereza ennyumba ya Yeeku, olw’okuyiwa omusaayi gw’abantu ab’e Yezuleeri, era ndimalawo obwakabaka bwa Isirayiri. (D)Ku lunaku olwo omutego gwa Isirayiri ndigumenyera mu Kiwonvu kya Yezuleeri.”

(E)Gomeri n’aba olubuto olulala, n’azaala omwana wabuwala. Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Lolukama, kubanga ennyumba ya Isirayiri ndiba sikyagyagala, si kulwa nga mbasonyiwa. (F)Naye ab’ennyumba ya Yuda ndibaagala, era ndibalokola, si na kasaale, newaakubadde ekitala, newaakubadde entalo, newaakubadde embalaasi newaakubadde abeebagala embalaasi, wabula nze kennyini Mukama Katonda waabwe nze ndibaagala era ne mbalokola.”

Awo Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n’aba olubuto olulala n’azaala omwana wabulenzi. Mukama n’ayogera nti, “Mmutuume erinnya Lowami, kubanga temukyali bantu bange, nange sikyali Katonda wammwe.

10 (G)“Naye ekiseera kirituuka abantu ba Isirayiri ne baba bangi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja, ogutayinzika kupimibwa newaakubadde okubalibwa olw’obungi bwagwo. Mu kifo ky’okuyitibwa abatali bantu bange, baliyitibwa, baana ba Katonda omulamu. 11 (H)Abantu ba Yuda baliddamu okwegatta n’abantu ba Isirayiri ne beerondamu omukulembeze, ne bava mu buwaŋŋanguse, era olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.”

(I)“Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’ ”

Okubonerezebwa kwa Isirayiri, n’Okuzzibwa Obuggya kwabwe

(J)Munenye nnyammwe,
    mumunenye,
    kubanga si mukazi wange, so nange siri bba.
Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge,
    n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;
(K)nneme okumwambulira ddala
    ne mmulekeraawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalibwa;
ne mmufuula ng’eddungu,
    ne mmulekawo ng’ensi enkalu eteriiko ky’egasa,
    ne mmussa ennyonta.
(L)Sirilaga kwagala kwange eri abaana be,
    kubanga baana ba bwenzi.
(M)Nnyabwe yakola obwenzi,
    n’abazaalira mu buwemu.
Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi,
    n’ebimbugumya n’ebyokwambala,
    n’amafuta n’ekyokunywa.”
(N)Kyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa,
    ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.
(O)Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate,
    naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba.
Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka,
    kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi
    okusinga bwe ndi kaakano.”
(P)Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano,
    ne wayini n’amafuta,
era eyamuwa effeeza ne zaabu
    bye baakozesanga okuweerezanga Baali.
(Q)“Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde,
    ne wayini wange ng’atuuse;
era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo,
    bye yayambalanga.
10 (R)Era kyenaava nyanika obukaba bwe
    mu maaso ga baganzi be,
    so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.
11 (S)Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,
    n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,
    n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
12 (T)Ndizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye,
    gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’
Ndibizisa,
    era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.
13 (U)Ndimubonereza olw’ennaku
    ze yayotereza obubaane eri Babaali,
ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo,
    n’agenda eri baganzi be,
    naye nze n’aneerabira,”
    bw’ayogera Mukama.

14 Kale kyendiva musendasenda,
    ne mmutwala mu ddungu,
    ne njogera naye n’eggonjebwa.
15 (V)Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu,
    ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli[a] oluggi olw’essuubi.
Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe,
    era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.
16 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
    “olimpita nti, ‘mwami wange;’
    toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’ ”
17 (W)Ndiggya amannya ga Babaali mu kamwa ke,
    so taliddayo nate okwasanguza amannya gaabwe.
18 (X)Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano
    n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga,
    n’ebyewalula ku ttaka,
era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi,
    bonna ne batuula mirembe.
19 (Y)Era ndikwogereza ennaku zonna,
    ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima,
    ne mu kwagala ne mu kusaasira.
20 (Z)Ndikwogereza mu bwesigwa,
    era olimanya Mukama.
21 (AA)“Ku lunaku olwo,
    ndyanukula eggulu,
nalyo ne lyanukula ensi;
22 (AB)ensi erimeramu emmere ey’empeke,
    ne wayini n’amafuta,
nabyo ne bifunibwa Yezuleeri,[b]
    bw’ayogera Mukama.
23 (AC)“Ndimwesimbira mu nsi,
    ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa,
era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’
    era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”

Koseya addiŋŋana ne mukazi we

(AD)Mukama n’aŋŋamba nti, “Genda, mukyala wo oyongere okumwagala, newaakubadde nga mwenzi era yakwaniddwa omusajja omulala. Mwagale nga Mukama bw’ayagala Abayisirayiri newaakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obw’emizabbibu enkalu obuwonge eri bakatonda abalala.”

Awo ne mmugula n’effeeza obuzito bwayo gulaamu kikumi mu nsavu ne lita ebikumi bisatu mu amakumi asatu eza sayiri. Bwe ntyo ne mugamba nti, “Oteekwa okubeera nange ebbanga lyonna. Lekeraawo okukuba obwamalaaya, oba okukola obwenzi, nange bwe ntyo naabeeranga naawe.”

(AE)Era bwe batyo abaana ba Isirayiri bwe balibeera okumala ennaku ennyingi nga tebalina kabaka newaakubadde omulangira, nga tebakyawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, newaakubadde okusinza amayinja amawonge oba bakatonda abalala, wadde efodi. (AF)N’oluvannyuma abaana ba Isirayiri balidda ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe. Balijja eri Mukama nga bakankana nga banoonya emikisa gye mu nnaku ez’oluvannyuma.

Okulabula eri Isirayiri

(AG)Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abantu ba Isirayiri,
    kubanga Mukama abalinako ensonga
    mmwe abatuula mu nsi.
“Obwesigwa n’okwagala Katonda,
    n’okumumanya bikendedde mu nsi.
(AH)Waliwo okukolima, n’okulimba, n’okutta,
    n’okubba, n’okukola eby’obwenzi;
bawaguza,
    era bayiwa omusaayi obutakoma.
(AI)Ensi kyeneeva ekaaba,
    ne bonna abagibeeramu ne bafuuka ekitagasa;
n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko zirifa, n’ennyonyi ez’omu bbanga nazo zirifa,
    n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja ne bifa.

(AJ)“Naye temuloopagana,
    so tewabaawo muntu avunaana munne,
kubanga ensonga
    ngivunaana gwe kabona.
(AK)Wakola ebibi emisana n’ekiro,
    ne bannabbi ne babikolera wamu naawe;
kyendiva nzikiriza maama[c] wo.
    (AL)Abantu bange bazikiridde olw’obutamanya.

“Kyemunaava mulema
    okubeera bakabona bange;
era olw’okulagajjalira etteeka lya Katonda wo,
    nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.
(AM)Gye beeyongera okuba abangi,
    gye baakoma n’okukola ebibi;
    baasuula ekitiibwa kyabwe ne banswaza.
(AN)Bagaggawalira ku bibi by’abantu bange,
    era basemba okwonoona kwabwe.
(AO)Era bwe kityo bwe kiriba eri abantu n’eri bakabona:
    ndibabonereza olw’enneeyisa yaabwe,
    era ne mbasasula ng’ebikolwa byabwe.

10 (AP)“Balirya naye tebalikkuta,
    balikola ebibi eby’obwenzi kyokka tebalyeyongera bungi,
kubanga bavudde ku Mukama ne beewaayo 11 (AQ)eri obwenzi,
wayini omukadde n’omusu,
ne bibamalamu okutegeera. 12     (AR)Abantu bange
beebuuza ku kikonge ky’omuti,
    ne baddibwamu omuti.
Omwoyo ogw’obwenzi gubasendasenda
    ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.
13 (AS)Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,
    ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi,
wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera
    awali ekisiikirize ekirungi.
Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya,
    ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.

14 (AT)“Siribonereza bawala bammwe
    olw’okubeera bamalaaya,
newaakubadde baka baana bammwe
    okukola eby’obwenzi,
kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya,
    ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya ab’omu masabo;
    abantu abatategeera balizikirira.

15 (AU)“Newaakubadde ggwe Isirayiri oyenda,
    omusango guleme okuba ku Yuda.
Togenda Girugaali,
    newaakubadde okwambuka e Besaveni.[d]
    Tolayiranga nti, ‘Nga Katonda bw’ali omulamu.’
16 (AV)Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima
    ng’ennyana endalu.
Olwo Mukama ayinza atya okubalabirira
    ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?
17 Efulayimu yeegasse n’abasinza ebifaananyi,
    mumuleke abeere yekka.
18 Ebyokunywa ne bwe bibaggwaako,
    beeyongera mu bwamalaaya;
    n’abakulembeze baabwe baagala nnyo eby’ensonyi:
19 (AW)Embuyaga kyeziriva zibatwala,
    ne ssaddaaka zaabwe ne zibaswaza.”

Isirayiri Asalirwa Omusango

(AX)Muwulire kino mmwe bakabona!
    Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri!
Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka!
    Omusango guli ku mmwe:
Mubadde kyambika e Mizupa,
    era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.
(AY)Abajeemu bamaliridde okutta,
    naye ndibabonereza bonna.
(AZ)Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu,
    so ne Isirayiri tankisibwa.
Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya,
    ne Isirayiri yeeyonoonye.

(BA)Ebikolwa byabwe tebibaganya
    kudda eri Katonda waabwe,
kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe,
    so tebamanyi Mukama.
(BB)Amalala ga Isirayiri gabalumiriza;
    Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe;
    ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
(BC)Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe
    okunoonya Mukama,
tebalimulaba;
    abaviiridde, abeeyawuddeko.
(BD)Tebabadde beesigwa eri Mukama;
    bazadde abaana aboobwenzi.
Embaga ez’omwezi ogwakaboneka
    kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.

(BE)Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea,
    n’ekkondeere mu Laama.
Muyimuse amaloboozi e Besaveni;
    mutukulembere mmwe Benyamini.
(BF)Efulayimu alifuuka matongo
    ku lunaku olw’okubonerezebwa.
Nnangirira ebiribaawo
    mu bika bya Isirayiri.
10 (BG)Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo
    abajjulula ensalo,
era ndibafukako obusungu bwange
    ng’omujjuzo gw’amazzi.
11 (BH)Efulayimu anyigirizibwa,
    era omusango gumumezze,
    kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.
12 (BI)Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu,
    n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.

13 (BJ)“Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe,
    ne Yuda n’alaba ekivundu kye,
Efulayimu n’addukira mu Bwasuli,
    n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu.
Naye tasobola kubawonya
    newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.
14 (BK)Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu,
    era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda.
Ndibataagulataagula ne ŋŋenda;
    ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
15 (BL)Ndiddayo mu kifo kyange,
    okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe.
Balinnoonya,
    mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”

Obujeemu bwa Isirayiri

(BM)“Mujje, tudde eri Mukama.
Atutaaguddetaagudde,
    naye alituwonya;
atuleeseeko ebiwundu,
    naye ebiwundu alibinyiga.
(BN)Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku
    olwokusatu alituzza buggya,
    ne tubeera balamu mu maaso ge.
(BO)Tumanye Mukama;
    tunyiikire okumumanya.
Ng’enjuba bw’evaayo enkya,
    bw’atyo bw’alirabika;
alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira,
    era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”

(BP)Nkukolere ki, Efulayimu?
    Nkukolere ki, Yuda?
Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya,
    era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.
(BQ)Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu,
    ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange,
    era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.
(BR)Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,
    era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
(BS)Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano,
    tebaali beesigwa.
Gireyaadi kibuga ky’abakozi ba bibi,
    era engalo zaabwe zijjudde omusaayi.
(BT)Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo,
    n’ebibiina bya bakabona
bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu,
    ne bazza emisango egy’obuswavu.
10 (BU)Ndabye eby’ekivve
    mu nnyumba ya Isirayiri;
era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya,
    ne Isirayiri gy’ayonoonekedde.

11 (BV)“Naawe Yuda,
    amakungula gatuuse.

“Bwe ndikomyawo emikisa gy’abantu bange,

    (BW)na buli lwe nawonyanga Isirayiri,
ebibi bya Efulayimu ne birabika,
    n’ebikolwa eby’ekyejo ebya Samaliya nabyo ne birabika.
Balimba,
    bamenya ne bayingira mu mayumba,
    era batemu abateega abantu mu makubo.
(BX)Naye tebalowooza
    nga nzijukira ebikolwa byabwe byonna ebibi.
Ebibi byabwe bibazingizza,
    era mbiraba.

(BY)“Kabaka asanyukira obutali butuukirivu bwabwe,
    n’abakungu basanyukira obulimba bwabwe.
(BZ)Bonna benzi;
    bali ng’ekyoto ekyaka omuliro,
omufumbi w’emigaati gw’ateetaaga kuseesaamu
    okutuusa obutta bw’agoye, lwabuusa ku kyoto ne buzimbulukuka.
(CA)Ku lunaku kabaka lw’agabula embaga,
    abakungu ettamiiro lya wayini ne libalwaza,
    kabaka ne yeegatta n’abanyoomi.
(CB)Emitima gyabwe gyokerera nga oveni
    mu busungu bwabwe;
Obusungu bwabwe bubuguumirira ekiro kyonna;
    mu makya ne bwaka ng’omuliro.
(CC)Bonna bookya nga oveni,
    era bazikiriza abakulembeze baabwe.
Bakabaka baabwe bonna bagudde;
    tewali n’omu ku bo ankowoola.

(CD)“Efulayimu yeegattika ne bannaggwanga;
    Efulayimu mugaati oguyiddeko oluuyi olumu.
(CE)Bannaggwanga banyuunyunta amaanyi ge
    naye takimanyi.
Mu nviiri ze mulimu envi,
    naye takiraba.
10 (CF)Okwekulumbaza kwa Isirayiri kwe kubalumiriza,
    naye newaakubadde ng’ebyo byonna bimutuuseeko
tadda eri Mukama Katonda we
    newaakubadde okumunoonya.

11 (CG)“Efulayimu ali ng’ejjiba,
    alimbibwalimbibwa mangu era talina magezi;
bakaabira Misiri,
    era bagenda eri Obwasuli.
12 (CH)Bwe baliba balaga eyo, ndibasuulako akatimba,
    era ndibassa wansi ng’ennyonyi ez’omu bbanga.
Bwe ndiwulira nga bakuŋŋaana, ndibaziyiza.
13 (CI)Zibasanze,
    kubanga bawabye ne banvaako.
Baakuzikirira
    kubanga banjemedde.
Njagala nnyo okubanunula,
    naye banjogerako eby’obulimba.
14 (CJ)Tebankaabira n’emitima gyabwe,
    wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe.
Bakuŋŋaana awamu olw’emmere ey’empeke ne wayini,
    naye ne banjeemera.
15 (CK)Nabayigiriza ne mbawa n’amaanyi,
    naye bansalira enkwe.
16 (CL)Tebakyukira oyo Ali Waggulu Ennyo;
    bafuuse ng’omutego gw’akasaale ogwayonooneka;
abakulembeze baabwe balifa kitala,
    olw’ebigambo byabwe ebya kalebule.
Era kyebaliva babasekerera
    mu nsi y’e Misiri.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.