Chronological
Zibasanze abo Abeesiga Misiri
31 (A)Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa,
abeesiga embalaasi,
abeesiga amagaali gaabwe amangi,
abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi
ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri
wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.
2 (B)Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi;
tajjulula bigambo bye.
Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu,
ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.
3 (C)Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda
n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri.
Katonda bw’agolola omukono gwe
oyo ayamba, alyesittala,
n’oyo ayambibwa aligwa
era bombi balizikiririra wamu.
4 (D)Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti,
“Ng’empologoma bwe wuluguma,
empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo
era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba
kiyitibwa awamu okugirumba,
tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe,
newaakubadde oluyoogaano lwabwe.
Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta,
okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.
5 (E)Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,
bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi;
alikikuuma, n’akiwonya,
alikiyitamu n’akirokola.”
6 Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri. 7 (F)Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.
8 (G)“Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu;
ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo.
Alidduka ekitala,
n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze.
9 (H)Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya,
n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,”
bw’ayogera Mukama
nannyini muliro oguli mu Sayuuni,
era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.
Obwakabaka obw’Obutuukirivu
32 (I)Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu,
n’abafuzi balifuga mu bwenkanya.
2 (J)Buli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo,
ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga,
ng’emigga gy’amazzi mu ddungu,
ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta.
3 (K)Olwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba,
n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.
4 (L)Omutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera,
n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi.
5 (M)Omusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa,
newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa.
6 (N)Omusirusiru ayogera bya busirusiru,
n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu.
Akola eby’obutatya Katonda,
era ayogera bya bulimba ku Mukama,
n’abayala abaleka tebalina kintu,
n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.
7 (O)Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.
8 (P)Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa,
era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.
9 (Q)Mmwe abakazi abateefiirayo,
mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange;
mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu,
muwulire bye ŋŋamba.
10 (R)Mu mwaka gumu oba n’okusingawo,
mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya,
amakungula g’emizabbibu galifa,
n’amakungula g’ebibala tegalijja.
11 (S)Mutye mmwe abakazi abateefiirayo,
mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu.
Muggyeko engoye zammwe,
mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
12 (T)Munakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa,
olw’emizabbibu egyabalanga,
13 (U)n’olw’ensi ey’abantu bange,
ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti.
Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu,
na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.
14 (V)Weewaawo ekigo kirirekebwawo,
ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa.
Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna,
ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo,
15 (W)okutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu,
n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu,
n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira.
16 Obwenkanya bulituula mu ddungu,
n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.
17 (X)Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe,
n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.
18 (Y)Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe,
mu maka amateefu
mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.
19 (Z)Omuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo,
n’ekibuga ne kiggirwawo ddala,
20 (AA)ggwe oliraba omukisa,
ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna,
n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala.
33 (AB)Zikusanze ggwe omuzikiriza
ggwe atazikirizibwanga.
Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala,
ggwe, gwe batalyangamu lukwe,
bw’olirekaraawo okuzikiriza,
olizikirizibwa.
Bw’olirekeraawo okulya mu balala olukwe,
balikulyamu olukwe.
2 (AC)Ayi Mukama tusaasire,
tukuyaayaanira.
Obeere amaanyi gaffe buli makya,
obulokozi bwaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku.
3 (AD)Olw’eddoboozi ery’okubwatuka, abantu balidduka,
bw’ogolokoka, amawanga gasaasaana.
4 Omunyago gwo, gukungulwa enzige ento,
era abantu bagugwako ng’ekibinja ky’enzige.
5 (AE)Mukama agulumizibwe, kubanga atuula waggulu,
alijjuza Sayuuni n’obwenkanya n’obutuukirivu.
6 (AF)Y’aliba omusingi omugumu mu biro byo,
nga lye tterekero eggagga ery’obulokozi, n’amagezi n’okumanya.
Okutya Mukama kye kisumuluzo kye tterekero ly’obugagga obwo.
7 (AG)Laba abasajja abazira ab’amaanyi bakaabira mu nguudo mu ddoboozi ery’omwanguka,
n’ababaka ab’emirembe bakaaba nnyo.
8 (AH)Enguudo ennene tezitambulirwako,
tewali azitambulirako.
Endagaano yamenyebwa,
n’abajulizi baayo banyoomebwa,
tewali assibwamu kitiibwa.
9 (AI)Ensi ekungubaga era eyongobera,
Lebanooni aswadde era awotose;
Saloni ali ng’eddungu,
ng’asuula Basani ne Kalumeeri.
10 (AJ)Mukama agamba nti, “Kaakano nnaagolokoka,
kaakano nnaagulumizibwa,
kaakano nnaayimusibwa waggulu.
11 (AK)Ofuna olubuto olw’ebisusunku,
ozaala ssubi,
omukka gwo, muliro ogukusaanyaawo.
12 (AL)Abantu balyokebwa nga layimu bw’ayokebwa,
balyokebwa omuliro ng’ebisaka by’amaggwa amasale.”
13 (AM)Mmwe abali ewala, mutegeere kye nkoze.
Mmwe abali okumpi, mukkirize amaanyi gange.
14 (AN)Abakozi b’ebibi ab’omu Sayuuni batidde,
okutya kujjidde abatalina Katonda.
“Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogusaanyaawo?
Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogutaliggwaawo?”
15 (AO)Atambulira mu butuukirivu,
n’ayogera ebituufu,
oyo atatwala magoba agava mu bubbi,
n’akuuma emikono gye obutakkiriza nguzi,
aziba amatu ge n’atawulira ntegeka za kutta,
n’aziba amaaso ge obutalaba nteekateeka ezitali za butuukirivu,
16 (AP)ye muntu alituula waggulu mu bifo ebya waggulu,
n’obuddukiro bwe buliba ebigo eby’omu nsozi.
Aliweebwa emmere,
n’amazzi tegalimuggwaako.
17 (AQ)Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe,
ne galaba ensi eyeewala.
18 (AR)Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ng’ogamba nti,
“Omukungu omukulu ali ludda wa?
Ali ludda wa eyasoloozanga omusolo?
Omukungu avunaanyizibwa eminaala ali ludda wa?”
19 (AS)Toliddayo kulaba bantu abo ab’amalala,
abantu ab’olulimi olutamanyiddwa,
olulimi olutategeerekeka.
20 (AT)Tunuulira Sayuuni ekibuga eky’embaga zaffe,
amaaso go galiraba Yerusaalemi,
ekifo eky’emirembe, eweema etalisimbulwa
enkondo zaayo tezirisimbulwa,
newaakubadde emiguwa gyayo okukutulwa.
21 (AU)Weewaawo Mukama aliba Amaanyi gaffe
era aliba ekifo eky’emigga emigazi n’ensulo engazi.
Temuliyitamu lyato
newaakubadde ekyombo ekinene tekiriseeyeeyeramu.
22 (AV)Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe,
Mukama y’atuwa amateeka,
Mukama ye Kabaka waffe,
y’alitulokola.
23 (AW)Emiguwa gyo gisumulukuse
n’omulongooti si munywevu,
n’ettanga si lyanjuluze.
Awo omugabo omungi guligabanyizibwamu,
n’abalala balitwala eby’omunyago.
24 (AX)Tewali abeera mu Sayuuni alyogera nti, “Ndi mulwadde,”
n’abo ababeeramu balisonyiyibwa ekibi kyabwe.
Amawanga gasalirwa Omusango
34 (AY)Musembere mmwe amawanga muwulirize.
Musseeyo omwoyo mmwe abantu.
Ensi ewulirize, ne byonna ebigirimu,
ensi ne byonna ebigivaamu.
2 (AZ)Mukama anyiigidde amawanga gonna,
ekiruyi kye kiri ku magye gaabwe gonna.
Alibazikiririza ddala,
alibawaayo okuttibwa.
3 (BA)Abantu baabwe abattibwa balisuulibwa ebweru,
n’emirambo gyabwe giriwunya,
n’ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe.
4 (BB)Emmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka,
n’eggulu liryezingako ng’omuzingo;
n’eggye ery’omu ggulu lirigwa,
ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu,
ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.
5 (BC)Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu,
era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango,
abantu be mmaliddewo ddala.
6 Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
7 (BD)Embogo zirifiira wamu nazo,
n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo.
Ensi yaabwe erijjula omusaayi,
n’enfuufu erinnyikira amasavu.
8 (BE)Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga,
omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
9 Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo,[a]
n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya.
Ensi ye erifuuka ng’obulimbo[b] obuggya omuliro.
10 (BF)Talizikizibwa emisana n’ekiro,
n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna.
Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe,
era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
11 (BG)Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu.
Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo.
Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika,
n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
12 (BH)Abakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka,
n’abalangira be bonna baliggwaawo.
13 (BI)Amaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye,
n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa.
Aliyiggibwa ebibe,
era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
14 (BJ)Ensolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi,
n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza.
Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula
nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
15 (BK)Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi,
ne kigaalula,
ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo.
Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.
16 (BL)Tunula mu muzingo gwa Mukama osome.
Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo,
era ekirume kiriba n’ekikazi, n’ekikazi ne kiba n’ekirume.
Akamwa ka Mukama ke kalagidde,
era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya.
17 (BM)Agabira buli kimu omugabo gwakyo,
era omukono gwe gubigabanyiza mu kigera.
Birikibeeramu ennaku zonna,
bibeere omwo emirembe n’emirembe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.