Add parallel Print Page Options

41 (A)bwe mpagala ekitala kyange ekimasamasa,
    n’omukono gwange ne gukikwata nga nsala emisango,
nnaawalananga abalabe bange,
    ne neesasuzanga eri abanaankyawanga.
42 (B)Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi,
    n’ekitala kyange kirirya ennyama,
n’omusaayi gw’abattiddwa n’abawambiddwa,
    n’ogw’emitwe egy’abakulembeze b’abalabe.

Read full chapter

10 (A)Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
    olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, olw’okusalira abalabe omusango.
Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa,
    okutuusa nga kyemazeeko ennyonta y’omusaayi.
Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
    alibawaayo babeere ng’ekiweebwayo mu nsi ey’obukiikakkono ku Mugga Fulaati.

Read full chapter

(A)Awo abantu bonna balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, era tekiriddayo mu kiraato kyakyo nate.’ 

Read full chapter

11 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayigganya muganda we n’ekitala
    awatali kusaasira,
obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma
    era ne batabusalako.
12 (B)Ndiweereza omuliro ku Temani
    oguliyokya ebigo bya Bozula.”

Read full chapter

(A)Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi;
    n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga.
Abatuuze b’ensi bayidde,
    Era abatono be basigaddewo.

Read full chapter

(A)Singa Edomu, ekika ekyava mu Esawu kigamba nti, “Wadde tukubiddwa wansi naye tulidda ne tuzimba ebyagwa.”

Mukama ow’Eggye ayogera nti, “Bo balizimba, naye nze ndibimenya; era abantu banaabayitanga, ensi embi, era nti abantu Mukama be yanyiigira ennaku zonna.

Read full chapter