Add parallel Print Page Options

(A)Mu mbeera eyo gy’olimu oyinza otya okuwangula wadde omuduumizi asembayo obunafu mu gye lyaffe ne bwe weesiga ebigaali n’embalaasi za Misiri?

Read full chapter

Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’
    mu maaso gaabo abakutta?
Oliba muntu buntu so si katonda
    mu mikono gy’abo abakutta.

Read full chapter

(A)oyo alivvoola Katonda ne yeegulumiza okusinga ebintu byonna nga yeeyita katonda oba ekissibwamu ekitiibwa atuule mu yeekaalu ya Katonda omwo nga yeefuula okuba Katonda.

Read full chapter

17 (A)Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka,
    wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu;
kubanga buli omu mukozi wa bibi,
    era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu.

Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako,
    era omukono gwe gukyagoloddwa.

Read full chapter

21     (A)Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase
    ate bombi ne balya Yuda.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo,
    era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

Read full chapter

(A)buli muntu aliswazibwa
    olw’eggwanga eritabagasa,
abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso,
    okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama.

(B)Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno:

Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku
    ne batawaanyizibwa
mu nsi erimu empologoma ensajja n’enkazi,
    erimu essalambwa n’omusota ogw’obusagwa
nga batadde eby’obugagga byabwe ku ndogoyi,
    n’ebintu byabwe eby’omuwendo ku mabango g’eŋŋamira
nga boolekedde ensi etaliimu magoba.
    Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono.
Kyenva muyita Lakabu
    ataliiko kyayinza kukola.

Read full chapter