Añadir traducción en paralelo Imprimir Opciones de la página

18 (A)Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano
    n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga,
    n’ebyewalula ku ttaka,
era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi,
    bonna ne batuula mirembe.
19 (B)Era ndikwogereza ennaku zonna,
    ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima,
    ne mu kwagala ne mu kusaasira.
20 (C)Ndikwogereza mu bwesigwa,
    era olimanya Mukama.
21 (D)“Ku lunaku olwo,
    ndyanukula eggulu,
nalyo ne lyanukula ensi;
22 (E)ensi erimeramu emmere ey’empeke,
    ne wayini n’amafuta,
nabyo ne bifunibwa Yezuleeri,[a]
    bw’ayogera Mukama.
23 (F)“Ndimwesimbira mu nsi,
    ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa,
era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’
    era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”

Read full chapter

Notas al pie

  1. 2:22 Yezuleeri kitegeeza Katonda asimba