Add parallel Print Page Options

(A)Bwe kityo bwe kiriba,
    ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu,
    ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja,
    ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi,
    ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi,
    ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola,
    ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.

Read full chapter

31 (A)Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba,
    bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala.
Naye ku nkomerero
    munaakola mutya?”

Read full chapter

13 (A)Bawaayo ebiweebwayo gye ndi,
    ne balya ennyama yaabyo,
    Mukama tabasanyukira.
Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe
    n’ababonereza olw’ebibi byabwe:
    Baliddayo e Misiri.

Read full chapter

(A)Boonoonye nnyo nnyini
    nga mu nnaku ez’e Gibea.
Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe,
    n’ababonereza olw’ebibi byabwe.

Read full chapter

15 (A)Olw’ebibi byabwe byonna mu Girugaali,
    kyennava mbakyayira eyo.
Olw’ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu,
    kyendiva mbagoba mu nnyumba yange.
Siribaagala nate;
    abakulembeze baabwe bonna bajeemu.

Read full chapter