Add parallel Print Page Options

13 (A)“Mugende mumbuulize eri Mukama, nze, n’abantu bange ne Yuda yonna ku bigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ekizuuliddwa. Obusungu bwa Mukama bungi nnyo gye tuli olwa bajjajjaffe obutawuliriza bigambo eby’omu kitabo kino, era tebaakola ng’ebyawandiikibwa bino bwe bitugamba.”

Read full chapter

37 (A)Era omulambo gwa Yezeberi guliba ng’obusa ku ttale mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, omuntu yenna aleme okugamba nti, Ono ye Yezeberi.’ ”

Read full chapter

(A)Noolwekyo mwambale ebibukutu mukungubage,
    mukube ebiwoobe
kubanga obusungu bwa Mukama obw’amaanyi tebutuvuddeeko.

Read full chapter

16 (A)Ayi Mukama, ng’obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n’ekiruyi kyo obiggye ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olw’ebibi byaffe n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu ebya bajjajjaffe, tufuuse eky’okusekererwa eri abatwetoolodde bonna.

Read full chapter

12 (A)Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba,
    balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye.

Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo
    era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

Read full chapter

17 (A)Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka,
    wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu;
kubanga buli omu mukozi wa bibi,
    era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu.

Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako,
    era omukono gwe gukyagoloddwa.

Read full chapter

21     (A)Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase
    ate bombi ne balya Yuda.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo,
    era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

Read full chapter

(A)Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
    oba okuba mu abo abattiddwa.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,
    era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

Read full chapter