Add parallel Print Page Options

Okujja kw’Omwana w’Omuntu

25 (A)“Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’ab’amawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula.

Read full chapter

22 (A)Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.

Read full chapter

23 (A)Natunuulira ensi,
    nga njereere,
ate ne ntunula ne ku ggulu,
    ng’ekitangaala kigenze.
24 (B)Natunuulira agasozi
    nga gajugumira,
    n’ensozi zonna zaali ziyuuguuma.
25 (C)Natunula, era laba, waali tewasigadde muntu n’omu,
    era n’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bidduse.
26 Natunula, era laba, ensi ey’ebibala ebingi ng’efuuse ddungu,
    era n’ebibuga byayo byonna nga byonoonese, mu maaso ga Mukama,
    olw’obusungu bwe obungi.

27 (D)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“Ensi yonna eriyonoonebwa,
    wadde nga sirigizikiririza ddala.
28 (E)Noolwekyo ensi erikungubaga
    era n’eggulu waggulu lirikwata ekizikiza,
kubanga njogedde
    era maliridde sijja kwejjusa wadde okukyusaamu.”

Read full chapter

10 (A)Zikankanya ensi
    era n’eggulu ne lijugumira.
Zibuutikira enjuba n’omwezi,
    era n’emmunyeenye tezikyayaka.

Read full chapter