Add parallel Print Page Options

Ekiragiro ky’Okulumba Yuda

10 (A)“Yita mu nnimiro z’emizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone,
    naye togimalirawo ddala.
Giggyeeko amatabi gaagyo,
    kubanga si bantu ba Mukama.

Read full chapter

18 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Naye ne mu nnaku ezo sigenda kubazikiririza ddala kubamalawo.

Read full chapter

12 (A)Abanyazi bazze
    batuuse ku nsozi zonna ez’omu ddungu,
kubanga ekitala kya Mukama kijja kulya
    okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala,
    awataliiwo n’omu kuwona.

Read full chapter

11 (A)Ndi wamu nammwe
    era ndibalokola,
wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde,
    siribazikiririza ddala mmwe,’
    bw’ayogera Mukama.
Ndibakangavvula n’obwenkanya,
    siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.

Read full chapter

28 (A)Totya, ggwe Yakobo omuddu wange,
    kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama.
“Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna
    gye nabasaasaanyiza,
    naye mmwe siribazikiririza ddala.
Ndibabonereza naye mu bwenkanya;
    siribaleka nga temubonerezebbwa.”

Read full chapter