Add parallel Print Page Options

Okugwa kwa Yerusaalemi

15 (A)Awo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’ayogera nabo ng’ayita mu babaka be, ng’asaasira abantu be n’ekifo mu abeera.

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaako
    ne bagenda ewala ennyo bwe batyo?
Baagoberera ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono ebitaliimu
    nabo bennyini ne bafuuka ebitaliimu.
(B)Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri;
    eyatuyisa mu lukoola,
mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa,
    mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”
(C)Ne mbaleeta mu nsi engimu,
    mulye ebibala byamu n’ebintu ebirungi.
Naye bwe mwajja ne mwonoona ensi yange,
    ne mufuula omugabo gwange ekivume.

Read full chapter

(A)“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze?
    Nnali mbazitooweredde? Munziremu.
(B)Nabaggya mu nsi ye Misiri
    ne mbanunula mu nsi ey’obuddu,
ne mbawa Musa,
    ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.

Read full chapter

37 (A)“Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana.

Read full chapter