Add parallel Print Page Options

23 (A)Naye Sikoni n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. N’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’agenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri. 24 (B)Isirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe. 25 (C)Isirayiri n’awamba ebibuga byonna eby’Abamoli n’abeera omwo, ne Kesuboni n’akiwambiramu n’obubuga bwonna obwali bukyetoolodde. 26 (D)Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni.

Read full chapter

Enjuba Esikattira

12 (A)Yoswa n’agamba Mukama ku lunaku olwo Abayisirayiri lwe battirako Abamoli, nga n’Abayisirayiri bonna bawulira nti,

“Ggwe enjuba, yimirira butengerera waggulu wa Gibyoni,
    naawe omwezi kola bw’otyo waggulu w’ekiwonvu Ayalooni.”

Read full chapter

“Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Gulibeerera? Tegulisigulwa n’amatabi gaakwo ne gatemebwa ne gukala? Tekiryetagisa omukono ogw’amaanyi oba abantu abangi okugusigulayo.

Read full chapter

Olunaku lwa Mukama

(A)“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi.

Read full chapter