Add parallel Print Page Options

23 (A)Onoobanga n’enkolagana n’amayinja ag’omu nnimiro,
    era onoobanga n’emirembe awali ensolo enkambwe.

Read full chapter

(A)Mukama ayolesezza obulokozi bwe,
    era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
(B)Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
    n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
    obulokozi bwa Katonda waffe.

Read full chapter

10 (A)Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,
    bagulabe.
Enkomerero z’ensi zonna
    ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.

Read full chapter

(A)balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda
    tewali mulala wabula nze.
Nze Mukama,
    tewali mulala.

Read full chapter

14 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,
    n’abo Abasabeya abawanvu
balijja
    babeere abaddu bo,
bajje nga bakugoberera
    nga basibiddwa mu njegere.
Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,
    ‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”

Read full chapter

14 (A)Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,
    ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.

Read full chapter