Add parallel Print Page Options

Omuweereza wa Katonda

42 (A)Laba omuweereza wange gwe mpanirira,
    omulonde wange gwe nsanyukira ennyo.
Ndimuwa Omwoyo wange
    era alireeta obwenkanya eri amawanga.

Read full chapter

16 (A)“Munsemberere muwulirize bino.

“Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama.
    Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.”

Era kaakano Mukama Ayinzabyonna
    n’Omwoyo we antumye.

Read full chapter

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

61 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
    kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
    antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
    n’abasibe bateebwe
    bave mu makomera.

Read full chapter

16 (A)Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba.

Read full chapter

32 (A)Awo Yokaana Omubatiza n’abategeeza nga bwe yalaba Mwoyo Mutukuvu ng’akka okuva mu ggulu ng’ali ng’ejjiba n’abeera ku Yesu, 33 (B)n’abagamba nti, “Nze saamutegeera, kyokka Katonda bwe yantuma okubatiza yaŋŋamba nti, ‘Bw’olabanga Mwoyo Mutukuvu ng’akka n’abeera ku muntu, nga oyo, ye Kristo abatiza ne Mwoyo Mutukuvu.’

Read full chapter

17 (A)ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera.

Read full chapter

(A)Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.

Read full chapter