Add parallel Print Page Options

25 (A)Ne bawamba Olebu ne Zeebu bombi abalangira ba Midiyaani; Olebu ne bamuttira ku lwazi olumanyiddwa nga “Olwazi lwa Olebu” ne Zeebu ne bamuttira ku ssogolero erimanyiddwa nga “essogolero lya Zeebu”, ne bongera okuwondera Abamidiyaani. Omutwe gwa Olebu n’ogwa Zeebu, Gidyoni ne bagimusanza emitala wa Yoludaani.

Read full chapter

25 (A)Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange,
    era ndimulinnyirira ku nsozi zange.
Ekikoligo kye kiribavaako,
    n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”

Read full chapter

27 (A)Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,
    n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo;
ekikoligo kirimenyebwa
    olw’obugevvu bwo.

Read full chapter

(A)oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti:

Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo!
    Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!

Read full chapter

26 (A)Ndiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo.
    Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini.
Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama Omulokozi wo,
    Omununuzi wo,
    ow’Amaanyi owa Yakobo.”

Read full chapter

13 (A)ne weerabira Mukama Omutonzi wo
    eyabamba eggulu,
    n’ateekawo n’emisingi gy’ensi,
ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya
    obusungu bw’abo abakunyigiriza,
    oyo eyemalidde mu kuzikiriza?
Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza?

Read full chapter

14 (A)Olinywezebwa mu butuukirivu
    era toojoogebwenga,
kubanga tolitya,
    onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.

Read full chapter