Add parallel Print Page Options

21 (A)Weewaawo Mukama aligolokoka nga bwe yagolokoka ku Lusozi Perazimu,
    era alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu Kiwonvu eky’e Gibyoni,
alyoke akole omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa,
    atuukirize omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa.
22 (B)Noolwekyo mulekeraawo okunyooma, enjegere zammwe zireme kweyongera kubazitoowerera.
Nawulira okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye
    ng’awa ekiragiro ekizikiriza ensi yonna.

Read full chapter

(A)olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
“Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi
    era ne bannyoomera ku busozi,
ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu
    ey’ebikolwa byabwe eby’edda.”

Read full chapter

31 (A)Mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo,
    ne mu Lusozi Sayuuni ne muva abo abaliwona.

Obuggya bwa Mukama ow’Eggye bulikituukiriza.

Read full chapter

18 (A)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye
    nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.

Read full chapter