Old/New Testament
Isirayiri Azzibwawo
30 Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nti, 2 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe. 3 (B)Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama.”
4 Bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti, 5 (C)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Emiranga egy’okutya giwulirwa,
bulabe teri mirembe.
6 (D)Mubuuze mulabe.
Omusajja alumwa okuzaala?
Kale lwaki ndaba buli musajja ow’amaanyi
ng’atadde emikono gye ku lubuto ng’omukazi alumwa okuzaala,
buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ng’agenda okufa?
7 (E)Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!
Tewali lulirufaanana.
Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo,
naye aliwona n’akiyitamu.
8 (F)“ ‘Olulituuka ku lunaku olwo,
ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabwe
era ne mbasaleko amasamba,
ab’amawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
9 (G)Wabula, bajja kuweerezanga Mukama Katonda waabwe
ne Dawudi kabaka waabwe
gwe ndibayimusiza.
10 (H)“ ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange,
toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’
bw’ayogera Mukama.
‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala,
nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse.
Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu,
era tewali n’omu alimutiisatiisa.
11 (I)Ndi wamu nammwe
era ndibalokola,
wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde,
siribazikiririza ddala mmwe,’
bw’ayogera Mukama.
Ndibakangavvula n’obwenkanya,
siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.
12 (J)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka,
Ebisago byo si byakuwona.
13 (K)Tewali n’omu wa kukuwolereza,
tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.
14 (L)Abakuyamba bonna bakwerabidde
tebakufaako.
Nkukubye ng’omulabe bwe yandikoze
ne nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze,
kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyo
n’ebibi byo bingi ddala.
15 Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo,
obulumi bwo obutaliiko ddagala?
Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo
nkuleeseeko ebintu bino.
16 (M)“ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa,
abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse.
Abo abaakunyaga balinyagibwa,
abo abaakwelula balyelulwa.
17 (N)Naye ndikuzzaawo owone,
ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama,
‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa,
Sayuuni atalina n’omu amufaako.’
18 (O)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo
era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.
Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,
n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.
19 (P)Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza
era n’eddoboozi ery’okujaguza,
ndibaaza, era tebaliba batono,
ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.
20 (Q)Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda,
era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba.
Ndibonereza bonna ababanyigiriza.
21 (R)Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo;
omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo.
Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange,
kubanga ani oyo alyewaayo
okunyiikira okubeera okumpi nange?’
bw’ayogera Mukama.
22 ‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,
nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ ”
23 (S)Laba, omuyaga gwa Mukama
gulikuntira mu kiruyi,
empewo ey’amaanyi
eyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
24 (T)Obusungu bwa Mukama obubuubuuka
tebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizza
ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezirijja,
kino mulikitegeera.
31 (U)“Mu kiseera ekijja, ndiba Katonda w’ebika byonna ebya Isirayiri, era balibeera bantu bange,” bw’ayogera Mukama.
2 (V)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Abantu abawona ekitala
baliraba ekisa mu ddungu.
Ndijja n’empa Isirayiri ekiwummulo.”
3 (W)Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti,
“Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo,
kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.
4 (X)Ndikuzimba nate, era olizimbibwa,
ggwe Omuwala Isirayiri.
Era oliddamu okuyonjebwa okwate ebitaasa byo
ofulume ozine n’abo abasanyuka.
5 (Y)Oliddamu okusimba emizabbibu ku lusozi Samaliya,
abalimi baligisimba balye ebibala byakwo.
6 (Z)Walibeerawo olunaku
abakuumi lwe balikoowoola ku busozi bwa Efulayimu nti,
‘Mujje, tugende ku Sayuuni,
eri Mukama Katonda waffe.’ ”
7 (AA)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Muyimbe n’essanyu olwa Yakobo
Muleekaanire waggulu olw’ensi esinga zonna.”
Ettendo lyammwe liwulikike, era mugambe nti,
“Ayi Mukama, lokola abantu bo,
abaasigalawo ku Isirayiri.”
8 (AB)Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi ey’obukiikakkono,
ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y’ensi.
Mu bo mulibaamu abazibe b’amaaso, n’abalema,
n’abakyala ab’embuto, n’abalumwa okuzaala,
era abantu bangi balikomawo.
9 (AC)Balikomawo nga bakaaba,
balisaba nga mbakomyawo.
Ndibakulembera ku mabbali g’emigga,
mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira
kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri,
era Efulayimu ye mutabani wange omubereberye.
10 (AD)“Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga,
mukyogere mu nsi ezeewala.
‘Oyo eyasaasaanya Isirayiri alibakuŋŋaanya
era alirabirira ekisibo kye ng’omusumba w’endiga.’
11 (AE)Kubanga Mukama aligula Yakobo
era abanunule okuva mu mukono gw’oyo abasinga amaanyi.
12 (AF)Balijja baleekaana olw’essanyu ku nsozi za Sayuuni;
balisanyukira okugabula kwa Mukama:
emmere ey’empeke, ne wayini omusu, n’omuzigo,
n’abaana b’endiga era n’ebisibo.
Balibeera ng’ennimiro efukiririddwa obulungi,
era tebalyongera kulaba nnaku.
13 (AG)Abawala balizina beesiime,
n’abavubuka, n’abakadde.
Okukaaba kwabwe ndikufuula essanyu;
ndibawa emirembe n’essanyu okusinga ennaku.
14 (AH)Ndikkusa bakabona ebintu ebingi,
n’abantu bange mbajjuze ebintu,”
bw’ayogera Mukama.
15 (AI)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Eddoboozi liwulirwa mu Laama,
nga likungubaga n’okukaaba okungi.
Laakeeri akaabira abaana be
era agaanye okusirisibwa,
kubanga abaana be baweddewo.”
16 (AJ)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ziyiza eddoboozi lyo lireme okuwulikika ng’okaaba
n’amaaso go galeme okujja amaziga,
kubanga omulimu gwo gulisasulibwa,”
bw’ayogera Mukama.
Balikomawo okuva mu nsi y’omulabe.
17 Waliwo essuubi,
bw’ayogera Mukama.
Abaana bo baliddayo mu nsi yaabwe.
18 (AK)“Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti,
‘Wankangavvula ng’ennyana endalu
era kaakano nkangavvuddwa.
Nziza, n’akomawo gy’oli
kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19 (AL)Nga mmaze okubula,
neenenya,
nga nzizeemu amagezi agategeera
ne neekuba mu kifuba.
Nakwatibwa ensonyi era ne nswala,
kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’
20 (AM)Efulayimu si mwana wange omwagalwa,
omwana gwe nsanyukira?
Wadde nga ntera okumunenya
naye nkyamujjukira.
Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira;
nnina ekisa kingi gy’ali,”
bw’ayogera Mukama.
21 (AN)“Muteeke ebipande ku nguudo;
muteekeeko ebipande.
Mwetegereze ekkubo eddene,
ekkubo mwe muyita.
Komawo ggwe Omuwala Isirayiri,
komawo mu bibuga byo.
22 (AO)Olituusa ddi okudda eno n’eri,
ggwe omuwala atali mwesigwa?
Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi,
omukazi aliwa omusajja obukuumi.”
23 (AP)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu b’omu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’ 24 (AQ)Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi n’abo abatambula n’amagana gaabwe. 25 (AR)Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika.”
26 (AS)Awo we nazuukukira ne ntunulatunula. Otulo twange twali tunnyumidde.
27 (AT)“Ennaku zijja,” bwayogera Mukama, “lwe ndisimba ennyumba ya Isirayiri ne nnyumba ya Yuda n’ezzadde ly’abantu n’ery’ensolo. 28 (AU)Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bw’ayogera Mukama. 29 (AV)“Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti,
“ ‘Bakitaabwe balidde emizabbibu egikaawa[a],
n’amannyo g’abaana ne ganyenyeera.’ ”
30 (AW)Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.
31 (AX)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja,
lwe ndikola endagaano empya
n’ennyumba ya Isirayiri
era n’ennyumba ya Yuda.
32 (AY)Teribeera ng’endagaano eri
gye nakola ne bajjajjaabwe
bwe nabakwata ku mukono
okubakulembera okubaggya mu nsi y’e Misiri,
kubanga baamenya endagaano yange nabo
wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,”
bw’ayogera Mukama.
33 (AZ)“Eno y’endagaano gye nnaakola
n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama.
“Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe,
ne ngawandiika ku mitima gyabwe.
Ndibeera Katonda waabwe,
nabo balibeera bantu bange.
34 (BA)Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,
oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’
Kubanga bonna balimmanya,
okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,”
bw’ayogera Mukama.
“Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe,
n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”
35 (BB)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
Oyo ateekawo enjuba
okwaka emisana,
n’alagira omwezi n’emmunyeenye okwaka ekiro, asiikuula ennyanja
amayengo gaayo ne gawuluguma;
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
36 (BC)“Amateeka gano
nga bwe gavudde mu maaso gange,
n’ezzadde lya Isirayiri we linaakoma okubeera eggwanga
olw’ebyo byonna bye bakoze,” bw’ayogera Mukama Katonda.
37 (BD)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Okuggyako ng’eggulu lisobola okupimibwa
n’emisingi gy’ensi wansi okunoonyezebwa,
olwo lw’endigoba ezzadde lya Isirayiri
olw’ebyo bye bakoze,”
bw’ayogera Mukama.
38 (BE)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gw’oku Nsonda. 39 Omuguwa ogupima gujja kupima okuva eyo okutuuka ku lusozi lw’e Galebu n’oluvannyuma gupime okuva eyo okutuuka e Gowa. 40 (BF)Ekiwonvu kyonna emirambo n’evvu gye bisuuliddwa, era n’ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni ku bukiikakkono n’okutuuka ku nsonda eyitibwa Omulyango gw’Embalaasi, kinaaba kitukuvu eri Katonda. Ekibuga tekigenda kuddayo kusimbulwa wadde okusaanyizibwawo.”
1 (A)Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ggwe Firemooni, mukozi munnaffe omwagalwa, 2 (B)ne Apofiya mwannyinaffe, ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n’Ekkanisa yonna ekuŋŋaanira mu nnyumba yo.
3 Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.
Okusaba n’okwebaza
4 (C)Bulijjo bwe mba nga nkusabira neebaza Katonda, 5 (D)kubanga buli kiseera mpulira nga bw’olina okwagala n’okukkiriza eri Mukama waffe Yesu n’eri abatukuvu bonna. 6 Nsaba nti nga bw’ogenda otegeeza abantu okukkiriza kwo, nabo kubanyweze mu bulamu bwabwe, nga bategeerera ddala ebirungi byonna ebiri mu ffe ku bwa Kristo. 7 (E)Nsanyuka nnyo era ne nziramu amaanyi olw’okwagala kwo, kubanga emitima gy’abatukuvu giziddwa buggya ku lulwo owooluganda.
Pawulo yeegayiririra Onesimo
8 Noolwekyo newaakubadde era, nga nnina obuvumu mu Kristo, nga nandisobodde okukulagira okukola ekyo ky’osaanira okukola, 9 (F)naye okwagala kwange gy’oli kumpaliriza okukusaba obusabi, nze, Pawulo, kaakano akaddiye, era ali mu kkomera olwa Kristo Yesu; 10 (G)nkwegayirira ku bikwata ku mwana wange Onesimo gwe nayamba okukkiriza Mukama waffe nga ndi mu njegere, mu busibe, 11 Onesimo oyo, gye buvuddeko ataali wa mugaso gy’oli, naye kaakano nga wa mugaso nnyo gye tuli ffembi, 12 gwe naaweereza gy’oli nga n’omutima gwange gujjirako, 13 oyo gwe nandyagadde okwesigaliza, ampeereze nga ndi mu busibe olw’enjiri, mu kifo kyo mwe wandibadde onnyambira, 14 (H)naye ne saagala kukikola nga tonzikirizza. Saagala okole eky’ekisa olwokubanga oteekwa, wabula kikole lwa kweyagalira. 15 Kiyinzika okuba nga Onesimo yakwawukanako okumala akaseera, oluvannyuma alyoke abeere naawe ebbanga lyonna, 16 (I)nga takyali muddu buddu, naye ng’asingako awo, ng’afuuse owooluganda omwagalwa ennyo, na ddala gye ndi. Kaakano ajja kubeera wa mugaso nnyo gy’oli mu mubiri ne mu Mukama waffe.
17 (J)Obanga ddala ndi munno, mwanirize mu ngeri y’emu nga bwe wandinnyanirizza singa nze mbadde nzize. 18 Obanga waliwo ekintu ekibi kye yakukola, oba ekintu ky’omubanja, kimbalirweko. 19 Kino nkiwandiika mu mukono gwange nze, Pawulo, nti ndikusasula. Sijja kukugamba nti olina ebbanja lyange. 20 (K)Munnange owooluganda, nkolera ekikolwa kino ekiraga okwagala, omutima gwange guddemu amaanyi mu Kristo. 21 (L)Nkuwandiikidde ebbaluwa eno nga neesigira ddala nga kye nkusaba ojja kukikola n’okusingawo! 22 (M)Nninayo n’ekirala kye nkusaba; nkusaba ontegekere we ndisula, kubanga nnina essuubi, nga Katonda okusaba kwammwe ajja kukuddamu anzikirize nkomewo gye muli.
Okusiibula
23 (N)Epafula, musibe munnange olw’okubuulira Enjiri ya Kristo Yesu, abalamusizza.
24 (O)Ne bakozi bannange bano: Makko, ne Alisutaluuko, ne Dema, ne Lukka nabo babalamusizza.
25 (P)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n’omwoyo gwammwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.