Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 46-47

Obubaka Obukwata ku Misiri

46 (A)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku mawanga:

(B)Ebikwata ku Misiri:

Buno bwe bubaka obukwata ku ggye lya Falaawo Neko kabaka w’e Misiri, eryawangulwa e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni lye yakuba mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ku Mugga Fulaati.

(C)“Mutegeke engabo zammwe,
    ennene n’entono mukumbe okugenda mu lutalo!
(D)Mutegeke embalaasi
    muzeebagale!
Muyimirire mu bifo byammwe
    n’esseppeewo zammwe!
Muzigule amafumu,
    mwambale ebizibaawo eby’ebyuma!
(E)Kiki kye ndaba?
    Batidde,
badda ennyuma,
    abalwanyi baabwe bawanguddwa.
Badduka mu bwangu
    awatali kutunula mabega,
    era waliwo okufa ku buli luuyi,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
(F)“Abawenyusi b’embiro tebasobola kuwona
    n’ab’amaanyi tebasobola kwewonya.
Beesittala
    ne bagwa mu bukiikakkono obw’Omugga Fulaati.

(G)“Ani oyo ayimuka ng’omugga Kiyira,
    ng’emigga egy’amazzi agabimba?
Misiri eyimuka nga Kiyira,
    ng’emigga egy’amazzi agabimba.
Agamba nti, ‘Ndisituka ne mbuutikira ensi yonna.
    Ndizikiriza ebibuga n’abantu baabyo.’
(H)Mulumbe, mmwe embalaasi!
    Muzidduse n’amaanyi, mmwe abalwanyi b’oku mbalaasi!
Mukumbe mmwe abalwanyi,
    abasajja b’e Kuusi ne Puuti[a] abeettika engabo,
    abasajja b’e Luudi abakozesa obusaale.
10 (I)Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
    olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, olw’okusalira abalabe omusango.
Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa,
    okutuusa nga kyemazeeko ennyonta y’omusaayi.
Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
    alibawaayo babeere ng’ekiweebwayo mu nsi ey’obukiikakkono ku Mugga Fulaati.

11 (J)“Genda e Gireyaadi ofune eddagala ery’okusaaba,
    ggwe Omuwala Embeerera owa Misiri.
Naye mwongerera bwereere obujjanjabi;
    temujja kuwonyezebwa.
12 (K)Amawanga gajja kuwulira obuswavu bwammwe;
    emiranga gyammwe gijja kujjuza ensi.
Omulwanyi omu alitomera omulala
    bombi ne bagwa.”

13 (L)Buno bwe bubaka Mukama Katonda bwe yayogera eri nnabbi Yeremiya ku bikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okulumba Misiri:

14 (M)“Langirira kino mu Misiri, era okyogere e Migudooli;
    kirangirire e Tapaneese ne Noofu nti,
‘Muyimirire mu bifo byammwe mwetegeke
    kubanga ekitala kirya abo ababeetoolodde.’
15 (N)Lwaki abalwanyi bo bagudde wansi?
    Tebasobola kuyimirira, kubanga Mukama Katonda ajja kubasindika wansi.
16 (O)Balyesittala emirundi egiwera;
    baligwiragana.
Bagambe nti, ‘Yimuka, tuddeyo
    eri abantu baffe era n’ensi zaffe,
    tuve awali ekitala ky’oyo atunyigiriza.’
17 (P)Eyo gye baliwowogganira nti,
    ‘Falaawo kabaka w’e Misiri mulekaanyi bulekaanyi
    afiiriddwa omukisa gwe.’ 

18 (Q)“Nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera oyo Kabaka
    ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye,
“Waliwo alijja ali nga Taboli wakati mu nsozi,
    nga Kulumeeri ku nnyanja.
19 (R)Musibe engugu zammwe muwaŋŋanguke,
    mmwe abali mu Misiri
kubanga Noofu kirifuuka matongo,
    ekiryaawo omutali bantu.

20 (S)“Misiri nte nduusi nnungi nnyo,
    naye kawawa avudde mu bukiikakkono azze okumulumba.
21 (T)N’abajaasi be abapangise
    bagezze ng’ennyana.
Nabo bajja kukyuka badduke,
    tebaasobole kuyimirirawo,
kubanga olunaku olw’ekikangabwa lubajjira,
    ekiseera kyabwe eky’okubonerezebwa kisembedde.
22 Misiri alikaaba ng’omusota ogudduka,
    omulabe alimulumba mu maanyi,
amujjire n’embazzi,
    ng’abatemi b’emiti.
23 (U)Balitema ekibira kye,” bw’ayogera Mukama Katonda,
    “newaakubadde nga kikutte nnyo.
Bangi n’okusinga enzige,
    tebasobola kubalika.
24 (V)Muwala wa Misiri aliswazibwa,
    aweebweyo mu mukono gw’abo abava mu bukiikakkono.”

25 (W)Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, agamba nti, “Nnaatera okuleeta ekibonerezo ku Amoni katonda w’e Tebeesi, ne ku Falaawo, ne ku Misiri, ne ku bakatonda be, ne ku bakabaka be, ne ku abo abeesiga Falaawo. 26 (X)Ndibawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abakungu be. Wabula oluvannyuma, Misiri eribeeramu abantu nga bwe yali edda,” bw’ayogera Mukama Katonda.

27 (Y)“Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange;
    toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri.
Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo eky’ewala,
    n’ezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse bwalyo.
Yakobo aliddamu okufuna emirembe n’atebenkera,
    era tewali alimutiisa.
28 (Z)Totya, ggwe Yakobo omuddu wange,
    kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama.
“Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna
    gye nabasaasaanyiza,
    naye mmwe siribazikiririza ddala.
Ndibabonereza naye mu bwenkanya;
    siribaleka nga temubonerezebbwa.”

Obubaka Obukwata ku Bafirisuuti

47 (AA)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:

(AB)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono,
    galifuuka omugga ogwanjaala.
Galyanjaala ku nsi
    ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu.
Abantu balikaaba;
    bonna abali mu nsi baliwowoggana.
Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka
    n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe
    era n’okuwuuma kwa nnamuziga,
bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,
    emikono gyabwe gya kulebera.
(AC)Kubanga olunaku lutuuse
    okuzikiriza Abafirisuuti bonna,
n’okusalako bonna abandisigaddewo
    abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.
Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti
    abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.
(AD)Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga.
    Asukulooni alisirisibwa.
Ggwe eyasigala mu kiwonvu,
    olituusa ddi okwesalaasala?

(AE)“ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba,
    obudde bunaatuuka ddi owummule?
Ddayo mu kiraato kyo
    sirika teweenyeenya.’
Naye kiyinza kitya okuwummula
    nga Mukama y’akiragidde,
ng’akiragidde
    okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”

Abaebbulaniya 6

(A)Noolwekyo tulekeraawo okuyiga ebintu bya Kristo ebisookerwako, tukule mu by’omwoyo. Tulekeraawo okwogera ku bisookerwako byokka, ng’okwenenya ebikolwa ebireeta okufa, by’ebikolwa eby’obulombolombo, naye tuteekwa n’okuba n’okukkiriza mu Katonda. (B)Tulekeraawo okuyigiriza obulombolombo obw’okubatizibwa, n’obw’okussibwako emikono, n’enjigiriza ey’okuzuukira kw’abafu, n’okusalirwa omusango ogw’olubeerera. (C)Katonda nga bw’asiima, tukule mu mwoyo.

(D)Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi eby’omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, ne bamanya obulungi bw’ekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi ag’emirembe egigenda okujja, (E)naye ne bava ku Katonda. Baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu.

Ettaka ligasa omulimi, bwe lifuna obulungi enkuba, ne lisigibwamu ensigo era ne muvaamu ebibala ebirungi. Ne Katonda aliwa omukisa. (F)Naye bwe libaza amatovu, n’amaggwa, ettaka eryo teriba lya mugaso liba kumpi n’okukolimirwa. Ku nkomerero, ebimezeeko byokebwa.

(G)Naye abaagalwa, newaakubadde twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusa. Tumanyi nga mulina ebintu ebirungi era mukola ebintu ebiraga nti muli mu kkubo ery’obulokozi. 10 (H)Kubanga Katonda mwenkanya tayinza kwerabira mulimu gwammwe omunene bwe gutyo, n’okwagala kwe mwagala erinnya lye, era amanyi bwe mwaweereza abantu be, era bwe mukyeyongera okubaweereza. 11 (I)Era twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okulaganga obunyiikivu obwo okutuusiza ddala ku nkomerero, lwe mulifuna ekyo kye musuubira. 12 (J)Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ng’abo abakkiriza era abagumiikiriza ne bafuna ekyasuubizibwa.

Obukakafu bw’ebisuubizo bya Katonda

13 (K)Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, nga bwe wataali mulala gw’ayinza kwerayirira amusinga, yeerayirira yekka. 14 (L)Yalayira ng’agamba nti, “Ndikuweera ddala omukisa, era n’okukwaza nnaakwazanga.” 15 (M)Bw’atyo Ibulayimu bwe yalindirira n’obugumiikiriza, n’aweebwa ekyasuubizibwa.

16 (N)Abantu balayira omuntu abasinga obukulu, ku nkomerero kye balayidde kye kisalawo. 17 (O)Ne Katonda bw’atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng’ayagala okukakasiza ddala abasika b’ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza. 18 (P)Katonda yakikola bw’atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, nti akuuma ekisuubizo kye awamu n’ekirayiro kye. Talimba. Noolwekyo ffe abaddukira gy’ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza. 19 (Q)Essuubi eryo lye linywereza ddala emmeeme zaffe ng’ennanga bw’enyweza eryato. Essuubi eryo lituyingiza munda w’eggigi. 20 (R)Yesu eyatusooka yo, eyo gye yayingira ku lwaffe, bwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu ow’emirembe gyonna, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.