Old/New Testament
Ebintu Ebiramu n’Ekitiibwa kya Mukama
1 (A)Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwezi ogwokuna ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, bwe nnali nga ndi mu buwaŋŋanguse ku mabbali g’omugga Kebali, eggulu ne libikkulwa, ne ndaba okwolesebwa okuva eri Katonda. 2 (B)Ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, gwe gwali omwaka ogwokutaano ogw’obuwaŋŋanguse bwa kabaka Yekoyakini, 3 (C)ekigambo kya Mukama ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey’Abakaludaaya ku mabbali g’omugga Kebali, n’omukono gwa Mukama gwali ku ye.
4 (D)Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ng’ava mu bukiikakkono, n’ekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ng’awali ekyuma ekimasamasa. 5 (E)Wakati mu muliro mwalabika ng’omwali ebiramu ebina, nga birina ekifaananyi ky’omuntu. 6 (F)Buli kimu kyalina obwenyi buna, n’ebiwaawaatiro bina. 7 (G)Amagulu gaabyo gaali magolokofu, n’ebigere byabyo nga bifaanana ekigere ky’ennyana, era nga bitangalijja ng’ekikomo ekizigule. 8 (H)Byalina engalo ez’omuntu wansi w’ebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo ennya. Byonna ebina byalina obwenyi n’ebiwaawaatiro, 9 (I)era ebiwaawaatiro byabyo nga bisonga waggulu, buli kiwaawaatiro nga kikoona ku kinnaakyo. Buli kimu kyatambula nga kiraga mu maaso, nga tekikyuse kutunula mabega.
10 (J)Obwenyi bwabyo bwafaanana bwe buti: Buli kimu kyalina ekyenyi eky’omuntu, oluuyi olwa ddyo olwa buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’empologoma, n’oluuyi olwa kkono ku buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’ente, ate nga birina n’ekyenyi ky’emunyungu. 11 (K)Ebyenyi byabyo n’ebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluze nga bitunudde waggulu. Buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, buli kiwaawaatiro nga kikona ku kinnaakyo, ebibiri ebirala nga bibisse ku mibiri gyabyo. 12 Buli kimu kyali kitunudde gye kyali kiraga. Omwoyo gye yalaganga nabyo gye byalaganga, ne bitakyuka kudda mabega. 13 (L)Endabika ey’ebiramu ebyo yafaanana ng’omuliro ogwaka ogw’amanda oba omuliro ogw’omumuli. Omuliro gwavanga mu maaso n’emabega, nga gwakaayaakana era nga gumyansa. 14 (M)Ebiramu byetawulanga ng’okumyansa okw’eggulu.
15 Bwe nnali nga nkyali ku ebyo, ne ndaba zinnamuziga ku ttaka emabbali wa buli kiramu, n’ebyenyi byabyo ebina. 16 (N)Endabika eya zinnamuziga n’okukolebwa kwazo kwali nga berulo,[a] zonna nga zifaanana. Buli emu yafaanana nga nnamuziga ekwataganye ne ginnaayo. 17 (O)Era zeetoolooleranga mu njuyi zonna ennya, nga tezizinaazina ng’ebiramu bitambula. 18 (P)Empanka zaazo zaali mpanvu nga zitiisa, era empanka ennya zonna nga zijjuddemu amaaso.
19 Ebiramu bwe byaseeseetukanga, zinnamuziga zaabyo nazo ne ziseeseetuka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva mu ttaka zinnamuziga nazo ne zigolokoka. 20 (Q)Omwoyo buli gye yabanga agenda, gye byagendanga, ne zinnamuziga ne zisitukira wamu nazo, kubanga omwoyo eyali mu biramu ye yabanga ne mu zinnamuziga. 21 (R)Ebiramu bwe byaseeseetukanga, nazo ne ziseeseetuka, ebiramu bwe byasitukanga, nazo ne zisituka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva ku ttaka, ne zinnamuziga ne zigolokokera wamu nazo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yabanga mu zinnamuziga.
22 (S)Waggulu w’emitwe gy’ebiramu waliwo ekifaananyi eky’ekifo ekigazi, ekyatemagananga ng’omuzira. 23 Wansi w’ekifo ekyo ekigazi ebiwaawaatiro byabyo byali bigolole, nga bituukagana, buli kiramu nga kirina ebiwaawaatiro bibiri ebyabikkanga emibiri gyabyo. 24 (T)Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo, ng’okuwuuma kw’amazzi amangi, ng’eddoboozi lya Ayinzabyonna, ng’oluyoogaano lw’eggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
25 Awo ne wawulikika eddoboozi okuva waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo, bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo. 26 (U)Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu. 27 (V)Ekyo nakirabira ku kyafaanana ng’ekiwato kye, okwambuka ng’afaanana ng’ekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; n’okuva mu kiwato kye okukka ng’afaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna. 28 (W)Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya Mukama.
Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.
Okuyitibwa kwa Ezeekyeri
2 (X)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimirira njogere naawe.” 2 (Y)Awo bwe yali ng’akyayogera nange, Omwoyo nanzikako n’annyimusa, ne mpulira ng’ayogera nange.
3 (Z)N’ayogera nti, “Omwana w’omuntu, nkutuma eri Abayisirayiri, eri eggwanga ejeemu eryanjeemera, era bo ne bajjajjaabwe banjeemera okuva edda n’okutuusa olunaku lwa leero. 4 (AA)Abantu be nkutumamu bakakanyavu era bakozi ba bibi. Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,’ 5 (AB)Oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga nnyumba njeemu, balimanya nga mu bo musituseemu nnabbi. 6 (AC)Kaakano ggwe omwana w’omuntu, tobatya newaakubadde ebigambo bye banaayogera, newaakubadde emyeramannyo n’amaggwa nga bikwetoolodde, era ng’obeera wakati mu njaba ez’obusagwa. Totya bigambo bye banaayogera newaakubadde okutekemuka kubanga nnyumba njeemu. 7 (AD)Oteekwa okubategeeza ebigambo byange, oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga bajeemu. 8 (AE)Naye ggwe omwana w’omuntu wuliriza kye nkugamba. Tojeema ng’ennyumba eyo bwe yanjeemera. Yasamya akamwa ko olye bye nkuwa.”
9 (AF)Awo ne ntunula, ne ndaba omukono nga gugoloddwa gye ndi, mu gwo nga mulimu omuzingo gw’ekitabo. 10 (AG)N’agwanjuluriza mu maaso gange, munda nga muwandiikibbwamu ne kungulu nga kuwandiikibbwako ebigambo eby’okukungubaga n’okukuba ebiwoobe, n’okukaaba.
Okukkiriza
11 (A)Okukkiriza kwe kukakasa ebyo bye tusuubira, bwe butabaamu kakunkuna newaakubadde nga tebirabika. 2 (B)Okukkiriza kwe kwaleetera abantu ab’edda abakulu okusiimibwa Katonda.
3 (C)Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika. 4 (D)Olw’okukkiriza Aberi yawaayo Ssaddaaka esinga obulungi eri Katonda okusinga eya Kayini gye yawaayo, era ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Katonda ng’amuweerwa obujulirwa olw’ebirabo bye, era newaakubadde nga Aberi yafa, akyayogera.
5 (E)Olw’okukkiriza Enoka yatwalibwa nga taleze ku kufa, n’atalabika kubanga Katonda yamutwala. Bwe yali tannamutwala, yayogera nga Enoka bwe yamusanyusa. 6 (F)Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.
7 (G)Nuuwa bwe yalabulwa ku bintu bye yali tannalaba, n’atya, era mu kukkiriza n’azimba eryato olw’okulokola ennyumba ye. Bw’atyo n’asalira ensi omusango, ate n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuli mu kukkiriza.
8 (H)Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n’agonda, n’alaga mu kifo kye yali agenda okuweebwa ng’omugabo, bw’atyo n’agenda nga ne gy’alaga tamanyiiyo. 9 (I)Era ne bwe yatuuka mu nsi Katonda gye yamusuubiza, mu nsi gye yali tamanyangako, olw’okukkiriza yasulanga mu weema era lsaaka ne Yakobo nabo bwe baakola, Katonda ng’abasuubizza nga bwe yasuubiza Ibulayimu. 10 (J)Ibulayimu yali alindirira ekibuga kiri ekirina omusingi, Katonda kye yategeka era n’azimba.
11 (K)Olw’okukkiriza ne Saala yennyini, omukazi omugumba yaweebwa amaanyi okuba olubuto newaakubadde nga yali ayise ku myaka egy’okuzaalirako; yakkiriza nti oyo amusuubizza mwesigwa. 12 (L)Bwe kityo bangi ne bava mu muntu omu eyali omukadde ennyo ne baba bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era ng’omusenyu oguli ku nnyanja ogutabalika.
13 (M)Abo bonna baafiira mu kukkiriza. Baafa nga Katonda bye yabasuubiza tebannabifuna, naye nga basanyufu nga bamanyi nti bibalindiridde, kubanga baategeera nti ku nsi kuno baali bagenyi bugenyi abatambuze. 14 Aboogera bwe batyo balaga nti bayolekedde obutaka bwabwe obw’omu nsi endala. 15 (N)Abantu abo singa baalowooza ku birungi eby’ensi eno bandisobodde okudda emabega. 16 (O)Naye kaakano beegomba ensi esingako, ye y’omu ggulu. Katonda kyava aba Katonda waabwe, nga tekimuswaza kuyitibwa bw’atyo, kubanga abateekeddeteekedde ekibuga.
17 (P)Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yagezesebwa, n’awaayo Isaaka omwana we omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa, 18 (Q)gwe kyayogerwako nti, “Mu Isaaka mw’olifunira abazzukulu,” 19 (R)gwe yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era n’ayaniriza Isaaka, nga Isaaka ali ng’azuukidde mu bafu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.