Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okukungubaga 3-5

(A)Nze muntu eyakangavvulwa
    n’omuggo ogw’obusungu bwe.
(B)Angobye mu maaso ge n’antambuliza
    mu kizikiza, awatali kitangaala;
(C)ddala, omukono gwe gunnwanyisizza
    emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.

(D)Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange
    era amenye n’amagumba gange.
(E)Antaayizza n’anzijuza
    obulumi n’okubonaabona.
(F)Antadde mu kizikiza
    ng’abafu abaafa edda.

(G)Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka,
    ansibye enjegere ezizitowa.
(H)Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe,
    okusaba kwange akuggalira bweru.
(I)Anteeredde amayinja mu kkubo lyange
    era akyamizza amakubo gange.

10 Ng’eddubu bwe liteega,
    n’empologoma bwe yeekweka
11 (J)yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula
    n’andeka awo nga sirina anyamba.
12 (K)Yanaanuula omutego gwe,
    n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe.

13 (L)Yafumita omutima gwange
    n’obusaale okuva mu mufuko gwe.
14 (M)Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna,
    era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.
15 (N)Anzijuzza ebikaawa
    era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe.

16 (O)Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka;
    anninnyiridde mu nfuufu.
17 Emmeeme yange terina mirembe,
    n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.
18 (P)Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,
    n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”

19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
    n’obulumi n’obubalagaze.
20 (Q)Mbijjukira bulungi
    era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
21 Ebyo byonna mbijjukira,
    kyenvudde mbeera n’essuubi.

22 (R)Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
    tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23 (S)Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
    n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
24 (T)Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,
    kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”

25 (U)Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,
    eri oyo amunoonya.
26 (V)Kirungi omuntu okulindirira
    obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
27 Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye
    mu buvubuka bwe.

28 (W)Atuulenga yekka mu kasirise
    kubanga Mukama y’akimwambiseemu.
29 (X)Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.
30 (Y)Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa,
    era amalibwe n’okuvumibwa.

31 (Z)Kubanga Mukama taligobera bantu bweru
    ebbanga lyonna.
32 (AA)Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa
    kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.
33 (AB)Tagenderera kuleeta bulumi
    newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.

34 Mukama akkiriziganya
    n’okulinnyirira abasibe,
35 n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe
    mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo,
36 (AC)oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?

37 (AD)Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira,
    Mukama nga takiragidde?
38 (AE)Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo,
    si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?
39 (AF)Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya,
    bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?

40 (AG)Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,
    tudde eri Mukama.
41 (AH)Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe
    eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
42 (AI)“Twayonoona ne tujeema,
    tokyerabiranga era tonatusonyiwa.

43 (AJ)“Ojjudde obusungu n’otugobaganya,
    n’otutta awatali kutusaasira.
44 (AK)Weebisseeko ekire,
    waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.
45 (AL)Otufudde obusa n’ebisasiro
    mu mawanga.

46 (AM)“Abalabe baffe bonna batwogerako
    ebigambo ebibi.
47 (AN)Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego
    n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”
48 (AO)Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga
    olw’okuzikirira kw’abantu bange.

49 (AP)Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga
    awatali kusirika,
50 (AQ)okutuusa Mukama lw’alisinzira
    mu ggulu n’alaba.
51 Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,
    olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.

52 (AR)Abalabe bange banjigganya olutata
    ne baba ng’abayigga ennyonyi.
53 (AS)Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,
    ne bankasuukirira amayinja;
54 (AT)amazzi gaabikka omutwe gwange,
    ne ndowooza nti, nsanyeewo.

55 (AU)“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,
    nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
56 (AV)wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go
    eri okukaaba kwange.”
57 (AW)Bwe nakukoowoola wansemberera
    n’oyogera nti, “Totya!”

58 (AX)Mukama watunula mu nsonga yange,
    era n’onunula obulamu bwange.
59 (AY)Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola,
    obasalire omusango nga bwe kibagwanira.
60 (AZ)Walaba bwe bampalana,
    n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.

61 Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda,
    n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,
62 (BA)obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange
    bye bantesaako obudde okuziba.
63 Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;
    bannyooma nga bwe bannyimbirira.

64 (BB)Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda,
    olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe.
65 (BC)Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe,
    n’ekikolimo kyo kibabeereko.
66 Obayigganye mu busungu bwo obazikirize
    ng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.
(BD)Zaabu ng’ettalazze!
    Zaabu ennungi ng’efuuse!
Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye
    buli luguudo we lutandikira.

Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo
    abaali beenkana nga zaabu ennungi,
kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba,
    omulimu gw’emikono gy’omubumbi.

(BE)Ebibe biyonsa
    abaana baabyo,
naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa,
    bafaanana nga bammaaya mu ddungu.

(BF)Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina,
    olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke;
abaana basaba emmere
    naye tewali n’omu agibawa.

(BG)Abaalyanga ebiwoomerera
    basabiriza ku nguudo;
n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka
    bali ku ntuumu ez’ebisasiro.

(BH)Ekibonerezo ky’abantu bange
    kisinga ekya Sodomu,
ekyawambibwa mu kaseera akatono,
    nga tewali n’omu azze kukibeera.

Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira,
    nga beeru okusinga amata;
n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu,
    era banyirivu nga safiro.

(BI)Naye kaakano badduggala okusinga enziro,
    era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo.
Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe;
    lukaze ng’ekiti ekikalu.

(BJ)Abafa ekitala bafa bulungi
    okusinga abafa enjala,
kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo
    olw’obutaba na mmere mu nnimiro.

10 (BK)Abakazi ab’ekisa abaagala abaana
    bafumbye abaana baabwe;
abaana abaafuuka emmere
    abantu bange bwe baazikirizibwa.

11 (BL)Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi,
    era abayiyeeko obusungu bwe obungi.
Yakoleeza omuliro mu Sayuuni
    ogwayokya emisingi gyakyo.

12 (BM)Bakabaka b’ensi
    n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza,
nti abalabe n’ababakyawa baliyingira
    mu wankaaki wa Yerusaalemi.

13 (BN)Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be,
    n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be,
abaayiwa omusaayi
    gw’abatuukirivu abaababeerangamu.

14 (BO)Badoobera mu nguudo
    nga bamuzibe;
bajjudde omusaayi
    so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe.

15 (BP)Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu!
    Muviireewo ddala, so temutukwatako!”
Bwe baafuuka emmombooze,
    amawanga gabagobaganya nga boogera nti,
    “Tebakyasaana kubeera wano.”

16 (BQ)Mukama yennyini abasaasaanyizza,
    takyabafaako.
Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa,
    newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo.

17 (BR)Amaaso gaffe gakooye
    olw’okulindirira okubeerwa okutajja;
nga tulindirira
    eggwanga eriyinza okutulokola.

18 (BS)Baatucocca
    ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe;
enkomerero yaffe n’eba kumpi,
    n’ennaku zaffe ne ziggwaayo.

19 (BT)Abaatuyiganyanga baatusinga embiro
    okusinga n’empungu ez’omu bbanga.
Baatugobera mu nsozi
    ne batuteegera mu ddungu.

20 (BU)Oyo Mukama gwe yafukako amafuta
    yagwa mu mitego gyabwe.
Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye
    ne tubeeranga mu mawanga.

21 (BV)Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu,
    abeera mu nsi ya Uzi;
naye lumu olinywa ku kikompe
    n’otamiira ne weeyambula.

22 (BW)Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo,
    talikwongerayo mu busibe.
Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza,
    n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde.
(BX)Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko.
    Tunula olabe ennaku yaffe.
(BY)Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga,
    n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
(BZ)Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe,
    ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.
(CA)Tusasulira amazzi ge tunywa;
    n’enku tuteekwa okuzigula.
(CB)Abatucocca batugobaganya;
    tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.
(CC)Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli
    okutufuniranga ku mmere.
(CD)Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa,
    naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.
(CE)Abaddu be batufuga,
    tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.
Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere,
    olw’ekitala ekiri mu ddungu.
10 (CF)Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro
    olw’enjala ennyingi.
11 (CG)Abakyala ba Sayuuni,
    n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.
12 (CH)Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe
    n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.
13 Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo,
    n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.
14 (CI)Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga,
    n’abavubuka tebakyayimba.
15 (CJ)Emitima gyaffe tegikyasanyuka,
    n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.
16 (CK)Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe.
    Zitusanze kubanga twonoonye!
17 (CL)Emitima gyaffe kyegivudde gizirika,
    era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.
18 (CM)Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere,
    ebibe kyebivudde bitambulirako.

19 (CN)Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna;
    entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.
20 (CO)Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna?
    Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.
21 (CP)Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama,
    otuzze buggya ng’edda;
22 (CQ)wabula ng’otusuulidde ddala,
    era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.

Abaebbulaniya 10:19-39

Obugumiikiriza

19 (A)Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu olw’omusaayi gwa Yesu, 20 (B)eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe, 21 (C)kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga y’afuga ennyumba ya Katonda, 22 (D)tusembere awali Katonda n’omwoyo ogw’amazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga n’emibiri gyaffe ginaazibbwa n’amazzi amatukuvu. 23 (E)Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa, 24 era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. 25 (F)Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.

26 (G)Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw’ekibi. 27 (H)Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogw’ekibonerezo eky’omuliro ogw’amaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda. 28 (I)Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza. 29 (J)Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era n’omusaayi gw’endagaano ogunaazaako ebibi n’aguyisa ng’ogwa bulijjo, era n’anyoomoola Omwoyo ow’ekisa, talibonerezebwa n’obukambwe obusingawo? 30 (K)Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama y’aliramula abantu be.” 31 (L)Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!

32 (M)Mujjukire ennaku ez’edda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw’amaanyi. 33 (N)Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu n’abo abaabonaabona nga mmwe. 34 Mwalumirwa wamu n’abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti mulina ebisinga obulungi era eby’olubeerera ebibalindiridde.

35 Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene. 36 (O)Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.

37 (P)Wasigadde akaseera katono nnyo,
    oyo ow’okujja ajje era talirwa.
38 (Q)Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza,
    kyokka bw’adda emabega simusanyukira.

39 Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.