Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ezeekyeri 16-17

16 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (A)“Omwana w’omuntu manyisa Yerusaalemi ebikolwa bye eby’ekivve, (B)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri Yerusaalemi: Wasibuka era n’ozaalibwa mu nsi ey’Abakanani; Kitaawo yali Mwamoli, ne nnyoko nga Mukiiti. (C)Ku lunaku kwe wazaalirwa, tewasalibwa kkundi, so tewanaazibwa na mazzi kutukula, newaakubadde okusiigibwa omunnyo, newaakubadde okubikkibwa mu ngoye. Tewali yakusaasira so tewali yakukwatirwa kisa kukukolera ebintu ebyo byonna, naye wasuulibwa ebweru ku ttale, kubanga wanyoomebwa okuva ku lunaku kwe wazaalirwa.

(D)“ ‘Bwe nnali nga mpitaayita ne nkulaba ng’osambagala mu musaayi gwo, ne nkugamba nti, “Ba mulamu!” (E)Ne nkukuza ne nkulabirira ng’ekimuli mu nnimiro. N’okula n’owanvuwa n’olabika bulungi nnyo mu maaso ng’amayinja ag’omuwendo omungi; n’osuna amabeere, n’enviiri zo ne zikula, ggwe eyali obwereere nga tobikkiddwako.

(F)“ ‘Oluvannyuma lwa bbanga, bwe nnali nga mpitaayita, ne nkulengera ne ndaba ng’okuze era ng’otuuse okufumbirwa, ne nkwaliirako ekirenge kyange ne mbikka ku bwereere bwo; ne nkulayirira ne nkola naawe endagaano, bw’ayogera Mukama Katonda, n’ofuuka wange.

(G)“ ‘Ne nkunaaza n’amazzi, ne nkunaazaako omusaayi, ne nkusiigako amafuta. 10 (H)Ne nkwambaza olugoye oluliko omudalizo, ne nkuwa n’engatto ez’amaliba; ne nkwambaza olugoye olwa linena ne nkubikkako engoye ez’omuwendo omungi. 11 (I)Ne kunaanika amayinja ag’omuwendo omungi; ne nkuteeka ebikomo ku mukono, n’omukuufu mu bulago, 12 (J)ne nkuteeka empeta mu nnyindo, n’eby’omu matu ku matu, ne nkutikkira n’engule ku mutwe. 13 (K)Wayonjebwa ne zaabu n’effeeza, n’engoye zo zaali za linena, n’ebyambalo byo byali byamuwendo mungi era nga biriko omudalizo. Walyanga emmere ey’obutta obulungi, n’omubisi gw’enjuki n’omuzigo ogw’omuzeyituuni. Walungiwa nnyo n’otuuka ku mwaliiro ery’obwa kabaka omukazi. 14 (L)Ettutumu lyo lyabuna mu mawanga olw’obulungi bwo, kubanga nakuwa ekitiibwa kyange, bw’ayogera Mukama Katonda.

15 (M)“ ‘Naye weesiga obulungi bwo, n’okozesa ettutumu lyo okukola obwenzi, n’ofuka obukaba bwo ku buli eyayitangawo obulungi bwo ne bufuuka bubwe. 16 (N)Waddira ebimu ku byambalo byo ne weekolera ebifo ebigulumivu nga byamabala mangi, gye wakoleranga obwenzi bwo. Ebintu bwe bityo tebikolebwa, era tebikolebwanga. 17 (O)Ate era waddira emikuufu emirungi gye nnali nkuwadde, egyakolebwa mu zaabu n’effeeza bye nakuwa, ne weekolera bakatonda abalala abali mu bifaananyi eby’ekisajja, bw’otyo n’okola eby’obwenzi nabyo, 18 n’oddira ebyambalo byo ebiriko emidalizo n’obibikkako, n’oteeka omuzigo gwange n’obubaane bwange mu maaso gaabyo. 19 (P)N’emmere gye nnali nkuwadde, obuwunga obw’obutta, n’omuzigo ogw’omuzeyituuni n’omubisi gw’enjuki bye nnali nkuwadde okulya, wabiwaayo okuba ebiweebwayo eby’evvumbe eddungi eri bbyo. Era bw’otyo bwe wakola, bw’ayogera Mukama Katonda.

20 (Q)“ ‘Waddira batabani bo ne bawala bo be wanzaalira, n’obawaayo ng’ebiweebwayo eby’emmere eri bakatonda abalala. Obwenzi bwe wakola bwali tebumala? 21 (R)Watta abaana bange n’obawaayo ng’ebiweebwayo eri bakatonda abalala. 22 (S)Mu bikolwa byo byonna eby’ekivve n’obwenzi bwo, tewajjukira biseera eby’obuvubuka bwo, bwe wali obwereere nga toliiko bw’oli, era ng’osambagala mu musaayi gwo.

23 “ ‘Zikusanze! Zikusanze, bw’ayogera Mukama Katonda. Mu bikolwa byo ebibi byonna, 24 (T)weezimbira ekifo ekigulumivu ne weekolera n’essabo mu buli kibangirizi ekigazi eky’ekibuga. 25 (U)Buli luguudo we lusibuka, wazimbawo essabo lyo, n’okolerawo obwenzi, ng’owaayo omubiri gwo mu bukaba obungi eri buli eyayitangawo. 26 (V)Weetaba mu bwenzi ne baliraanwa bo abakaba Abamisiri, n’oyongera ku bukaba bwo n’onsunguwaza. 27 (W)Kyenava nkugololerako omukono gwange ne nkendeeza ku nsalo yo, ne nkuwaayo eri omululu gw’abalabe bo abawala b’Abafirisuuti, abeekanga olw’obukaba bwo. 28 (X)Weetaba mu bikolwa eby’obwenzi n’Abasuuli, kubanga tewamalibwa, ate n’oluvannyuma lw’ekyo n’otamatira. 29 (Y)N’oluvannyuma n’oyongerayo ebikolwa byo eby’obukaba mu Bakaludaaya, ensi ey’ebyamaguzi, naye era n’otamalibwa.

30 (Z)“ ‘Omutima gwo nga munafu, n’okwewaayo ne weewaayo okukola ebintu ebyo byonna, ne weeyisa ng’omwenzi ow’amawaggali ateefiirayo. 31 (AA)Bwe wazimba ebifo byo ebigulumivu buli luguudo we lusibuka, n’oteeka amasabo go mu buli kibangirizi ekigazi, tewafaanana ng’omwenzi kubanga wanyoomanga empeera.

32 “ ‘Ggwe omukazi omwenzi eyeegomba abatambuze okusinga balo! 33 (AB)Buli mwenzi afuna empeera, naye ggwe owa baganzi bo bonna ebirabo, ng’obagulirira okujja gy’oli okuva buli wamu olw’obwenzi bwo. 34 Era mu bikolwa byo eby’obwenzi tofaanana ng’abalala; tewali akusindika kukola bwenzi. Oli wanjawulo okuva ku balala kubanga osasula empeera, naye ate nga tewali akusasula.

35 “ ‘Kale nno, wulira ekigambo kya Mukama ggwe omwenzi. 36 (AC)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Olw’obugagga bwo bwe walaga, n’oyanika obwereere bwo wakati mu baganzi bo ng’okola ebikolwa eby’obwenzi, n’olwa bakatonda bo abalala ab’ekivve, n’okuwaayo omusaayi gw’abaana bo, 37 (AD)kyendiva nkuŋŋaanya baganzi bo bonna, be wasinza, bonna be wayagala ne be wakyawa, gy’oli ne bakwetooloola, ne nkufungulirira mu maaso gaabwe, balabe obwereere bwo. 38 (AE)Ndikusalira omusango ne nkuwa ekibonerezo ng’eky’abakazi abenzi n’abo abayiwa omusaayi, ne nkuleetako omusaayi ogw’ekiruyi n’obuggya. 39 (AF)N’oluvannyuma ndikuwaayo mu mukono gw’abaganzi bo; balimenyaamenya ebifo byo ebigulumivu, ne bazikiriza amasabo go. Era balikwambula ebyambalo byo, ne batwala eby’omuwendo byo, ne bakuleka ng’oli bukunya. 40 (AG)Balisendasenda enkuyanja y’abantu, ne bakukuba amayinja, ne bakutemaatema obufiififi n’ebitala byabwe. 41 (AH)Balyokya amayumba go ne bakubonereza mu maaso g’abakyala abangi, era ndikulesaayo ebikolwa byo eby’obwenzi so tolisasula baganzi bo mpeera. 42 (AI)N’oluvannyuma obusungu bwange bulikendeera, n’obuggya bwange bulikuvaako, era ndiba mukkakkamu, nga sirina busungu.

43 (AJ)“ ‘Kubanga tojjukira biseera eby’obuvubuka bwo, n’onnyiiza n’ebintu ebyo byonna; kyendiva nkuleetako omusango olw’ebikolwa byo, bw’ayogera Mukama Katonda. Ku bukaba obwo bwonna si kwe wayongera ebikolwa ebyo byonna eby’ekivve?

44 “ ‘Buli agera engero anaakugereranga olugero luno nga boogera nti, “Nnyina ne muwala we batyo.” 45 (AK)Oli muwala wa nnyoko ddala, eyanyooma bba n’abaana be, era oli mwannyina ddala owa baganda bo abanyooma ba bbaabwe n’abaana baabwe. Nnyoko yali Mukiiti, kitaawo nga Mwamoli. 46 (AL)Mukulu wo yali Samaliya eyabeeranga ne bawala be ku luuyi lwo olw’Obukiikakkono, ne muto wo ne bawala be nga babeera ku luuyi lwo olw’Obukiikaddyo, era nga ye Sodomu. 47 (AM)Tewakoma ku kugoberera ngeri zaabwe kyokka, n’okukoppa ebikolwa byabwe eby’ekivve, naye waayitawo ebbanga ttono engeri zo zonna ne zisukka ku zaabwe obubi. 48 (AN)Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu ne bawala be tebaatuuka ku ssa, ggwe ne bawala bo kwe mwatuuka.

49 (AO)“ ‘Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza: ye ne bawala be baali baamalala, nga baamululu abatafaayo, wadde okuyamba abaavu abaali mu bwetaavu. 50 (AP)Baali baamalala, era baakola ebikolwa eby’ekivve mu maaso gange, kyennava mbaggyawo nga bwe nasiima. 51 (AQ)So ne Samaliya teyatuuka awo; wakola ebikolwa eby’ekivve okusinga ne bwe baakola, era n’oleetera baganda bo okulabika ng’abatuukirivu mu ebyo byonna by’okola. 52 Kaakano naawe k’ojjule ensonyi, kubanga owolereza baganda bo, ate n’ebibi bye wakola biswaza okusinga ebyabwe, kyebaliva balabika nga batuukirivu okukusinga. Kyonoova oswala, ne weetikka obuswavu bwo, kubanga oleetedde baganda bo okulabika ng’abatuukirivu.

53 (AR)“ ‘Wabula ndizzaawo obugagga bwa Sodomu ne bawala be, n’obwa Samaliya ne bawala be, ate ne nzizaawo n’obubwo, 54 (AS)olyoke weetikke obuswavu bwo, oswale mu maaso gaabwe olw’ebyo byonna bye wakola ng’obawooyawooya. 55 (AT)Baganda bo, Sodomu wamu ne bawala be, ne Samaliya wamu ne bawala be baliddayo nga bwe baali edda, ate naawe oliddayo n’obeera nga bwe wali edda. 56 Lwaki muganda wo Sodomu teyayogerwako ku lunaku olw’amalala go, 57 (AU)okwonoona kwo nga tekunnabikkulwa? Kaakano ofuuse kyakusekererwa eri abawala ab’e Busuuli ne baliraanwa be bonna, n’eri abawala aba Bufirisuuti, abo bonna abakwetoolodde abakunyooma. 58 (AV)Olibonerezebwa olw’obukaba bwo n’ebikolwa byo eby’ekivve, bw’ayogera Mukama Katonda.

59 (AW)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndikukola nga bwe kikusaanira, kubanga wanyooma ekirayiro kyange, bwe wamenya endagaano. 60 (AX)Naye ndijjukira endagaano gye nakola naawe mu biseera eby’obuvubuka bwo, era ndissaawo endagaano ey’emirembe n’emirembe. 61 (AY)Olwo olijjukira engeri zo, n’oswala bw’olitwala baganda bo abakusinga obukulu ne bato bo, ne mbankuwa babeere bawala bo, naye si lwa ndagaano yange naawe. 62 (AZ)Ndinyweza endagaano yange naawe, era olimanya nga nze Mukama Katonda, 63 (BA)n’oluvannyuma olw’okutangiririrwa, olijjukira ne wejjusa n’otaddayo kwasamya nate kamwa ko, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Empungu Ebbiri n’Omuzabbibu

17 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (BB)“Omwana w’omuntu, gerera ennyumba ya Isirayiri olugero; (BC)obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Waaliwo empungu ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, ng’erina ebyoya bingi, nga by’amabala agatali gamu, eyajja mu Lebanooni. N’eddira obusongenzo bw’omuvule n’emenyako amasanso gaagwo agasooka waggulu amato, n’egwetikka n’egutwala mu nsi ey’abasuubuzi n’egusimba mu kibuga ky’abatunda ebyamaguzi.’

(BD)“ ‘N’etwala emu ku nsigo ez’ensi eyo, n’egisimba mu ttaka eggimu; n’egisimba okumpi n’amazzi amangi, n’emera n’eba ng’omusafusafu, n’ebala n’efuuka omuzabbibu, ne gulanda wansi; amatabi gaagwo ne gakula nga gadda ewaayo, naye emirandira gyagwo ne gisigala wansi waagwo. Ne gufuuka omuzabbibu ne guleeta amatabi n’ebikoola byagwo.’

(BE)“ ‘Naye ne wabaawo empungu endala ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, n’ebyoya ebingi. Omuzabbibu ne gukuza emirandira gyagwo eri empungu eyo okuva mu kifo we gwasimbibwa, ate ne gwanjuluza n’amatabi gaagwo gy’eri egifukirire. Gwali gusimbiddwa mu ttaka eddungi awali amazzi amangi, guleete amatabi era gubale ebibala gubeere omuzabbibu ogwegombesa.’

“Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Gulibeerera? Tegulisigulwa n’amatabi gaakwo ne gatemebwa ne gukala? Tekiryetagisa omukono ogw’amaanyi oba abantu abangi okugusigulayo. 10 (BF)Ne bwe baligusimbuliza, gulirama? Tegulikalira ddala embuyaga ez’Ebuvanjuba bwe zirigufuuwa, ne gukalira mu kifo we gwakulira?’ ”

11 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 12 (BG)“Gamba ennyumba enjeemu eyo nti, ‘Temumanyi bintu ebyo kye bitegeeza?’ Bategeeze nti, ‘Kabaka w’e Babulooni yagenda e Yerusaalemi, n’awamba kabaka waayo n’abakungu be n’abatwala e Babulooni. 13 (BH)N’oluvannyuma n’addira omu ku balangira n’akola naye endagaano, ng’amulayiza. Yatwala n’abasajja abalwanyi abazira ab’omu nsi, 14 (BI)obwakabaka bukkakkane buleme kwegulumiza, era nga mu kukwata endagaano ye mwe balinywerera. 15 (BJ)Naye kabaka yamujeemera, n’aweereza ababaka e Misiri okufunayo embalaasi n’eggye eddene. Aliraba omukisa? Omuntu akola ebyo ayinza okuba omulamu? Alimenya endagaano n’awona?’

16 (BK)“ ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, alifiira mu Babulooni, mu nsi eya kabaka eyamufuula kabaka, gwe yanyooma mu kirayiro kye n’amenya n’endagaano gye baakola. 17 (BL)Falaawo n’eggye lye eddene, n’ekibiina kye ekinene, tebalibaako kye bamuyamba mu lutalo, bwe balizimba ebifunvu n’ebisenge okuzikiriza obulamu bw’abangi. 18 (BM)Olw’okunyooma ekirayiro kye, n’amenya endagaano, n’akola ebintu ebyo byonna ate nga yeewaayo, kyaliva tawona.

19 (BN)“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti, Nga bwe ndi omulamu, ndireeta ku mutwe gwe ekirayiro kye yanyooma, n’endagaano yange gye yamenya. 20 (BO)Ndimutegera akatimba kange, n’agwa mu mutego gwange, era ndimuleeta e Babulooni ne musalira omusango olw’obutali bwesigwa bwe gye ndi. 21 (BP)Abaserikale be bonna abaliba badduka, balifa ekitala, n’abaliwonawo balisaasaanyizibwa empewo; olwo olitegeera nga nze Mukama, nze nkyogedde.

22 (BQ)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndiddira ettabi okuva ku busongezo bw’omuvule ne ndisimba; era ndimenya amasanso okuva ku matabi gaagwo amato ne ndisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu. 23 (BR)Ku ntikko ey’olusozi lwa Isirayiri kwe ndirisimba era lirireeta amatabi ne libala ebibala, ne gaba omuvule ogwegombesa. Ennyonyi eza buli kika ziriwummulira ku gwo, era zirifuna we zituula mu bisiikirize eby’amatabi gaagwo. 24 (BS)Era emiti gyonna egy’omu ttale giritegeera nga nze Mukama ayimpaya omuti omuwanvu, ate ne mpanvuya omuti omumpi. Nkaza omuti ogwakamera, ne mmerusa n’omuti ogubadde gukaze.

“ ‘Nze Mukama Katonda nze nkyogedde, era ndikikola.’ ”

Yakobo 3

Okufuga olulimi

Abooluganda, abayigiriza tebasaanye kubeera bangi mu mmwe, kubanga mukimanyi nga ffe tulisalirwa omusango munene okusinga abalala. (A)Ffenna tusobya mu ngeri nnyingi. Omuntu yenna atasobya mu kwogera, aba muntu eyatuukirira, asobola okufuga omubiri gwe gwonna.

(B)Tuyinza okufuga embalaasi ne tugikozesa kye twagala olw’ebyuma bye tuba tutadde mu kamwa kaayo. Era n’enkasi entono esobola okukyusa ekyombo ekinene ennyo n’ekiraza omugoba waakyo gy’ayagala, newaakubadde ng’empewo ekisindika ebeera ya maanyi mangi. (C)N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya. (D)Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira.

Abantu, ebisolo ebya buli ngeri n’ennyonyi, n’ebyekulula, era n’eby’omu nnyanja basobola okubiyigiriza ne babifuga, (E)naye tewali muntu n’omu asobola kufuga lulimi. Terufugika era lubi nnyo, lujjudde obutwa obuttirawo.

(F)Olulimi tulukozesa okutendereza Mukama era Kitaffe, ate era lwe tukolimiza abantu abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. 10 Mu kamwa ke kamu ne muvaamu okutendereza n’okukolima. Abooluganda, kino si bwe kyandibadde bwe kityo! 11 Ensulo y’emu eyinza okuvaamu amazzi agawoomerera n’agakaawa? 12 (G)Abooluganda omutiini guyinza okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? Bw’etyo n’ensulo y’emu teyinza kuvaamu mazzi ga munnyo na gawoomerera.

Amagezi agava mu ggulu

13 (H)Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ng’akola ebikolwa eby’obwetoowaze eby’amagezi. 14 (I)Bwe muba n’omutima omukyayi ogujjudde n’obuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana n’amazima. 15 (J)Kubanga amagezi ng’ago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani. 16 Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.

17 (K)Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi. 18 (L)Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.