Add parallel Print Page Options

31 (A)Bwe wazimba ebifo byo ebigulumivu buli luguudo we lusibuka, n’oteeka amasabo go mu buli kibangirizi ekigazi, tewafaanana ng’omwenzi kubanga wanyoomanga empeera.

Read full chapter

(A)Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwenda
    nga mugenze okuwaayo ssaddaaka.

Read full chapter

58 (A)Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
    ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.

Read full chapter

Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza bakatonda abalala

20 (A)Mukama ow’eggye agamba nti,

“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,
    n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’
Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde
    wakuba obwamalaaya
    ng’ovuunamira bakatonda abalala.

Read full chapter

(A)Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi.
    Waliwo ekifo we bateebakira naawe?
Ku mabbali g’ekkubo we watulanga
    n’olinda abasajja ng’oli nga Omuwalabu mu ddungu;
n’olyoka oyonoona ensi
    n’obwenzi bwo n’ekibi kyo.

Read full chapter

28 (A)Bwe nabaleeta mu nsi gye nabalayirira ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti ogwamera yo, ne baweerangayo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, ne banyookerezanga obubaane bwabwe, era ne baweerangayo n’ebiweebwayo ebyokunywa.

Read full chapter