Old/New Testament
Obunnabbi ku Edomu
35 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu, tunuulira olusozi Seyiri owe obunnabbi, 3 (A)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga, olusozi Seyiri, era ndikugolererako omukono gwange ne nkufuula amatongo. 4 (B)Ndifuula ebibuga byo okuba ebifulukwa era olifuuka matongo, omanye nga nze Mukama.’
5 (C)“ ‘Kubanga wasiba ekiruyi eky’edda n’owaayo Abayisirayiri okuttibwa mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby’okubonerezebwa kwabwe okwenkomerero, 6 (D)nga bwe ndi omulamu, kyendiva mbawaayo muttiŋŋane era okuttiŋŋana kulibalondoola, bw’ayogera Mukama Katonda. Kubanga temwakyawa kuyiwa musaayi, okuyiwa omusaayi kyekuliva kubalondoola. 7 Ndifuula olusozi Seyiri okuba amatongo, ne nsalako abo bonna abajja n’abagenda. 8 (E)Ndijjuza ensozi zo abafu, n’abattiddwa ekitala baligwa ku busozi bwo, ne mu biwonvu byo, ne mu migga gyo. 9 (F)Ndikufuula matongo emirembe gyonna, so tewaliba alibeera mu bibuga byo, olyoke omanye nga nze Mukama.
10 (G)“ ‘Mwalowooza nga amawanga ga Yuda ne Isirayiri gammwe, era ne mulowooza okugeetwalira. Naye nze ndi Mukama waabwe, 11 (H)era nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda nti, ndibabonereza olw’obusungu n’obuggya bye mwabalaga nga mubakyawa, balyoke bammanye, mmwe bwe ndibasalira omusango. 12 (I)Oluvannyuma olimanya nga nze Mukama mpulidde byonna eby’obunyoomi bye wayogera eri ensozi za Isirayiri. Nagamba nti, “Bafuuse matongo, era baweereddwayo gye tuli okubamalawo.” 13 (J)Wanneewanirako, n’oteekuma, kyokka ne nkuwulira. 14 (K)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ensi yonna bw’eriba esanyuka, gwe ndikufuula matongo. 15 (L)Olw’okuba nga wasanyuka, omugabo gw’ennyumba ya Isirayiri bwe gwafuuka amatongo nange bwe ntyo bwe ndikukola. Ggwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna mulifuuka matongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.’ ”
Obunnabbi eri Ensozi za Isirayiri
36 “Omwana w’omuntu, yogera obunnabbi eri ensozi za Isirayiri, ogambe nti, Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama. 2 (M)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, omulabe yayogera nti, ‘Otyo, ensozi ez’edda kaakano zaffe.’ 3 (N)Kyemwava muwa obunnabbi ne mwogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga baabacocca ne babayigganya enjuuyi zonna amawanga amalala ne gabeetwalira, era ne mufuuka eky’okwogerwako era ne baboogerako eby’obulimba, 4 (O)kyemunaava muwulira ekigambo kya Mukama Katonda mmwe ensozi za Isirayiri: Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti eri ensozi n’obusozi, n’eri enzizi n’ebiwonvu, n’eri ebifulukwa n’ebibuga ebyafuuka amatongo ebyanyagibwa ne bifuuka eby’okusekererwa eri amawanga gonna okwetooloola 5 (P)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Njogerera mu busungu bwange obungi eri amawanga amalala n’eri Edomu yonna, abajjula okusanyuka n’ettima mu mitima gyabwe, ne baddira ensi yange ne bagifuula eyaabwe banyage obugagga bwayo.’ 6 (Q)Kyonoova owa obunnabbi eri ensi ya Isirayiri n’oyogera eri ensozi n’obusozi, n’eri enzizi n’ebiwonvu nti, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Njogera nga nzijudde obuggya n’obusungu kubanga mwasekererwa nnyo amawanga. 7 Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndayira nti amawanga agabeetoolodde nago galisekererwa.
8 (R)“ ‘Naye mmwe ensozi za Isirayiri mulireeta amatabi gammwe ne mubalira abantu bange Isirayiri ebibala byammwe kubanga banaatera okudda ewaabwe. 9 Mbalumirwa era ndibatunuulira n’ekisa, era abalimi balikabala ettaka lyammwe ne basigamu ensigo, 10 (S)era ndibaaza mmwe, ennyumba yonna eya Isirayiri. Ebibuga birituulwamu, n’ebyali ebifulukwa biriddaabirizibwa. 11 (T)Ndyaza abantu n’ensolo, era abantu balyeyongera n’ensolo ne zeeyongera. Ndibazzaayo mu bifo byammwe eby’edda, era ndibakolera ebirungi ebisingawo ku bye nabakolera, mulyoke mumanye nga nze Mukama. 12 (U)Ndikkiriza abantu bange, Isirayiri babatambulireko, era balibeddiza, nammwe muliba mugabo gwabwe nga temukyaddamu kubaggyako baana baabwe.
13 (V)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga abantu baboogerako nti, “Musaanyaawo abantu ne mumalawo ezzadde lye ggwanga lyammwe,” 14 kyemuliva mutaddayo kusaanyaawo bantu newaakubadde okubamalako ezzadde ly’eggwanga lyo, bw’ayogera Mukama Katonda. 15 (W)Toliwulira nate okusekererwa kw’amawanga newaakubadde okunyoomebwa wadde eggwanga lyo okugwa, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
16 Nate ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 17 (X)“Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bwe baaberanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe, era n’ebikolwa byabwe byali ng’obutali bulongoofu obw’omukazi mu biseera bye. 18 (Y)Olw’omusaayi gwe baayiwa mu nsi, ate n’olw’okusinza bakatonda abalala kwe beeyonoonyesa, kyennava mbayiwako ekiruyi kyange. 19 (Z)Naye mbasaasaanyiza mu mawanga, ne basaasaana mu nsi. Era nabasalira omusango ng’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali. 20 (AA)Buli gye baagendanga mu mawanga baaswazanga erinnya lyange ettukuvu, kubanga kyayogerwanga nti, ‘Bano bantu ba Mukama, naye baagobebwa mu nsi ye.’ 21 (AB)Nafaayo ku linnya lyange ettukuvu, ennyumba ya Isirayiri lye yaswaza mu mawanga gye baagenda.
22 (AC)“Kale nno gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ggwe ennyumba ya Isirayiri bino sibikola ku lulwo, naye ku lw’erinnya lyange ettukuvu lye mwavumisa mu mawanga gye mwagenda. 23 (AD)Ndiraga obutukuvu bw’erinnya lyange ekkulu, eryavumisibwa mu mawanga, erinnya lye mwavumisa mu bo, era amawanga galimanya nga nze Mukama, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe ndyolesa obutukuvu bwange mu mmwe mu maaso gaabwe.
24 (AE)“ ‘Ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi zonna ne mbakomyawo mu nsi yammwe. 25 (AF)Ndibamaansirako amazzi amayonjo, era ndibaggyako obutali bulongoofu bwammwe bwonna n’okuva ku bakatonda abalala bonna, ne mbafuula abalongoofu. 26 (AG)Ndibawa omutima omuggya era ne nteeka n’omwoyo omuggya mu mmwe. Ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja ne mbawa omutima ogw’ennyama. 27 (AH)Era ndibawa Omwoyo wange alibakubiriza okugoberera ebiragiro byange n’okukuuma obulungi amateeka gange. 28 (AI)Mulibeera mu nsi gye nawa bajjajjammwe, nammwe mulibeera bantu bange, nange ne mbeera Katonda wammwe. 29 (AJ)Ndibalokola mu butali bulongoofu bwammwe bwonna, era nditumya emmere ey’empeke ne ngyaza nnyo muleme okulumwa enjala. 30 (AK)Ndyaza ebibala eby’oku miti n’ebimera eby’omu nnimiro, nga temukyasekererwa nate mu mawanga olw’enjala. 31 (AL)Olwo mulijjukira amakubo gammwe amabi n’ebikolwa byammwe ebitali birungi, era mulyetamwa olw’ebibi byammwe n’olw’ebikolwa byammwe eby’emizizo. 32 (AM)Mukimanye ng’ebyo sibikola ku lwammwe, bw’ayogera Mukama Katonda. Muswale olw’ebikolwa byammwe, mmwe ennyumba ya Isirayiri.
33 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ku lunaku lwe ndibanaalizaako ebibi byammwe byonna, abantu balidda mu bibuga byammwe n’ebifulukwa biriddaabirizibwa. 34 Ensi eyazika eririmibwa, ereme kuba nga bwe yali mu maaso gaabo bonna abaagiyitangamu. 35 (AN)Balyogera nti, “Ensi eno eyali ezise, kaakano efuuse ng’ennimiro Adeni, n’ebifulukwa n’ebibuga ebyali bifuuse amatongo, kaakano mulimu ababibeeramu, era biriko ne bbugwe.” 36 (AO)Olwo n’amawanga agaasigalawo agabeetoolodde galimanya nga nze Mukama, naddaabiriza ebyayonoonebwa, n’ennimiro n’ebyali bizise. Nze Mukama nkyogedde, era ndikituukiriza.’
37 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Nate ndiwuliriza ennyumba ya Isirayiri ne mbakolera kino, era ndyaza abantu baabwe babeere bangi ng’ekisibo ky’endiga. 38 (AP)Balyala ng’ebisibo eby’endiga ez’okuweebwayo e Yerusaalemi ku mbaga ezaalagirwa, era n’ebibuga ebyali amatongo ndibijjuza ebibinja by’abantu. Kale balimanya nga nze Mukama.”
1 (A)Nze Simooni Peetero omuddu era omutume wa Yesu Kristo mpandiikira abo abaafuna okukkiriza okw’omuwendo nga ffe, mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, 2 (B)ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe nga mutegeera Katonda ne Yesu Mukama waffe.
Okuyita n’okulonda kwa Katonda
3 (C)Kubanga mu maanyi g’obwakatonda bwe, mwe twaweerwa ebintu byonna olw’obulamu buno n’okutya Katonda mu kumanya oyo eyatuyita olw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe ye. 4 (D)Ebyo bye byatuweesa ebisuubizo eby’omuwendo ebikulu, mu byo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bw’obwakatonda, muwone okuzikirira okuva mu kwegomba okubi okw’omu nsi.
5 (E)Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera, 6 (F)ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda, 7 (G)ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga. 8 (H)Kubanga bwe muba n’ebyo ne byeyongera obungi, bibafuula ba mugaso era ababala ebibala olw’okutegeera Mukama waffe Yesu Kristo. 9 (I)Oyo atalina ebyo muzibe wa maaso era awunaawuna, era yeerabidde bwe yanaazibwako ebibi bye eby’edda.
10 (J)Kale, abooluganda mweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwammwe ne mu kuyitibwa kwammwe. Kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temulyesittala n’omulundi n’ogumu. 11 Era mulyanirizibwa n’essanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
12 (K)Noolwekyo, ebyo nzija kubibajjukizanga buli kiseera, newaakubadde nga mubimanyi, era nga ddala munyweredde mu mazima ge mwategeera. 13 (L)Era ndowooza nti kiŋŋwanira nga nkyali mu mubiri guno, okubakubirizanga nga nneeyongera okubibajjukiza. 14 (M)Kubanga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza. 15 (N)Kyenva nfuba ennyo okukola kyonna kye nsobola, ne bwe ndivaawo mube ng’ebyo byonna mubijjukira.
16 (O)Kubanga tetwagoberera ngero bugero ezaagunjibwa wabula twabategeeza ebyo bye twalabirako ddala, eby’amaanyi n’okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era n’obukulu bwe. 17 (P)Kubanga Katonda Kitaffe yamuwa ekitiibwa n’ettendo, eddoboozi bwe lyawulikika okuva mu ggulu mu kitiibwa ekingi ekimasamasa nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.” 18 (Q)Ffe bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu, twawulirira ddala eddoboozi eryo eryava mu ggulu.
19 (R)Kyetuvudde tweyongera okukakasa ebyo bannabbi bye baategeeza, era bwe munaabigonderanga munaabanga mukoze bulungi. Kubanga biri ng’ettaala eyaka mu kizikiza okutuusa obudde lwe bukya, emunyeenye ey’enkya n’eryoka eyaka mu mitima gyammwe. 20 Okusooka mukimanye nga buli bunnabbi obuli mu byawandiikibwa, tewali ayinza kubunnyonnyola ku bubwe yekka. 21 (S)Kubanga bannabbi tebaayogeranga byabwe ku bwabwe, wabula baategeezanga ebyo Katonda bye yabalagiranga nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabibawanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.