Add parallel Print Page Options

24 (A)Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Olw’ebikolwa byammwe ebyo, erinnya lya Katonda kyelivudde livvoolebwa mu mawanga.”

Read full chapter

(A)“Kaakano kiki ate kye ndaba wano?

“Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere
    era abo ababafuga babasekerera,”
    bw’ayogera Mukama.
“Erinnya lyange
    livvoolebwa olunaku lwonna.

Read full chapter

24 (A)Tonategeera nti abantu bano bagamba nti, “Mukama agaanye obwakabaka obubiri bwe yalonda? Kale banyooma abantu bange era tebakyababala ng’eggwanga.

Read full chapter

16 (A)Kyokka ndirekawo batono ku bo abaliwona ekitala, n’abaliwona enjala n’abaliwona kawumpuli, balyoke bejjuse olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo, nga bali eyo mu mawanga. Olwo balitegeera nga nze Mukama.”

Read full chapter