Add parallel Print Page Options

(A)“Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’ (B)Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”

Read full chapter

(A)“ ‘Naye ndirekawo abamu ku mmwe, era muliba bakaawonawo nga musaasaanye mu nsi ne mu mawanga. (B)Era eyo mu mawanga bakaawonawo gye mwatwalibwa mu busibe, mulinzijukira, kubanga nnumwa olw’emitima gyabwe eginjeemedde egyegomba era egisinza bakatonda abalala. Balikyama olw’obutali butuukirivu bwabwe, n’olwebikolwa byabwe byonna ebigwenyufu. 10 Era balimanya nga nze Mukama; saabatiisiza bwereere okubaleetako akabi kano.

Read full chapter

22 (A)Naye ate nga walibaawo abamu abaliwona, abaana aboobulenzi n’aboobuwala abaliggibwamu. Balijja gy’oli, era bw’oliraba enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe, olikkiriza akabi ke ndeese ku Yerusaalemi, buli kabi ke mmuleeseeko.

Read full chapter